Amawulire
Kkooti ejjulirwamu enywezezza ekibonerezo eky’myaka 23 eri eyakwata abaana 4
Bya Ruth Anderah, Kkooti ejulirwamu enywezeza ekibonerezo ky’okusibwa emyaka 23 ekyaweebwa omusajja ow’emyaka 54 olw’okukabasanya abaana abalenzi bana. Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mubende mu kiseera ekyo Elizabeth Nahamya, yasingisa Wilfred Wamono emisango ena egyokukabasanya abaana mungeri ey’obukambwe era n’asibwa emyaka 23. Kyokka olw’obutamatira n’ekibonerezo […]
KIU ejjuludde ekiragiro ku bawala abasoma obwannansi nóbuzaalisa
Bya Prossy Kisakye ne Damali Mukhaye, Kampala international university ettabi eryobugwanjuba bweggwanga, esazizzaamu ekiragiro kyeyabadde eyisiza nga kiragira abayizi bonna abawala abasoma obwannansi nobuzaalisa okusooka okukeberebwa oba bali mbuto nga tebanakola bigezo byabwe ebisembayo. Kino bakijjuludde oluvanyuma lwokuteekebwa ku nninga ebibiina ebirwanirira eddembe lya bakyala […]
Okulonda kwábayizi e Makerere kwakubeera ku mutimbagano
Bya Damali Muhkaye, Abakulu ku university e Makerere bafulumizza ebiragiro ebikakali ebinagobererwa mu kulonda obukulembeze bwa bayizi. Okulonda kwakubeerawo mu February 2023 nga byonna byakukolebwa okuyita kunkola eyomutimbagano. Bano okuvaayo bwebati kyadirira omuyizi wa UCU okufa ku ntandikwa y’omwaka guno mu kulonda akulira abayizi e […]
Omusajja ateberezebwa okubba Muwogo attibbwa
Bya Abubaker Kirunda, Omusajja ateberezebwa okubba muwogo agajjambuddwa abatuuze mu ku kyalo Bwigula mugombola ye Buyanga mu disitulikiti eye Buyende. Difeensi we kyalo kino Steven Tenywa,agambye nti attibbwa abadde mutuuze ku kyalo Buyebe mu gombolola ye Ibulanku. Ono attibbwa oluvanyuma lwa batuuze okumukwata lubona ne […]
Besigye agamba bannauganda bali mukuwudisibwa kubyókulonda kwa 2026
Bya Prossy Kisakye, Eyali yeesimbyewo ku bwapulezidenti emirundi ena, Dr Kiiza Besigye agamba nti ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kiwugula Bannayuganda okuva ku buzibu bw’ebyenfuna obuliwo kati okudda ku pulezidenti addako mu mwaka 2026. Kino wekijjidde nga bannansi bangi basobeddwa ku ani pulezidenti addako […]
Omusango gwa Banubbi gwebaloopa Gavt gutandise okuwulirwa
Bya Ruth Anderah, Kkooti y’omukago gwa East Africa leero etandise okuwulira omusango gw’ab’eggwanga lya abanubbi gwe baloopa Gavumenti ebasasule ensimbi zabwe eziri eyo mu bukadde bwa doola 500 zebagamba nti zabawambibwako okuva ku zi account zaabwe ezaali mu zi bank mu mwaka gwa 1979 ku […]
Omwana afiiridde mu Muliro e Luuka
Bya Abubaker Kirunda, Poliisi mu distict ye Luuka etandise okunoonyereza ku kivuddeko omuliro oguvuddeko omwana ow’emyaka 4 okufa. Bino bibadde ku industria zone, mu muluka gw’e Kiyunga, Luuka Town Council mu disitulikiti y’e Luuka ku kizimbe ky’ebyobusuubuzi eky’omusuubuzi ategerekeseeko erya Mugume Nicholas. Micheal Kasadha omwogezi […]
Besigye ayogedde ku kya Gavt okulagira abayizi okudda eka amangu
Bya Prossy Kisakye, Ekisinde ekye byobufuzi ekya People’s Front for Transition (PFT) kigamba nti gavumenti okulagira amasomero gaggalewo mu bwangu kivudde ku mbeera ye byenfuna eri mu ggwanga so si kulwanyisa kirwadde kya Ebola nga minisita bwe yategeeza. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu Kampala eggulo […]
Basatu bakwatibwa mu kubba ebigezo
Bya Damali Mukhaye, Poliisi e Kibibi mu disitulikiti eye Butambala, ekutte abantu 3 abasangiddwa nga basala ebbaasa omubadde ebigezo bya UNEB omubadde ebibuuzo byabayizi ebyokubala. Omwogezi w’ekitongole kya Uneb, Jenipher Kalule ategeezeza nti abasatu abakwatibwa kuliko Nelson Mbayo Mamba, akulira essomero lya Namasuba Parents Primary […]
Sipiika alagidde minisita ku musaala gw’abasoma obusawo
Bya prossy Kisakye, Sipiika wa palamenti Anita Among, awadde minisita ow’ebyobulamu ebisookerwako Margaret Muhanga omulimu gw’okuleeta obujulizi olunaku lw’enkya ku palamenti obulaga nti baasasudde mu bujjuvu abasawo abatendekebwa ensako yaabwe gye babadde babanja. Ekiragiro kya sipiika kiddiridde minisita okulaga nti gavumenti yasasudde ensako y’abasawo abatendekebwa […]