Bya Rita Kemigisa,
Palamenti esabye Minisita w’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka mu ssabiiti ejja ayanjule ekiwandiiko ekijjuvu ku kuvaako kw’amasannyalaze okuli mu ggwanga awatali kulemererwa.
Wabaddewo okuvavaako kw’amasannyalaze okutaggwa mu ggwanga ng’amasannyalaze gavuddeko mu ggwanga lyonna mu kiro ekyakeesa olunaku olwokusatu.
Songa mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo enkeera era amasannyalaze gavaako.
Bweyabadde ayanjula ensonga ye mu ssetteserezo wa palamenti akawungeezi…
Bya Ndaye Moses,
Amaka agasukka mu bukadde buna mwemitwalo 70 mu Uganda tegasobola kukozesa mpeereza ya masannyalaze ga mulembe mu kufumba era nga kino kikola ebitundu 66 ku buli 100 ku bantu bonna.
Akulira ebibalo by’abantu n’embeera z’abantu mu kitongole kya Uganda National Bureau of Statistics Ssenono Vincent, agamba nti kino kyeyolekera mu maka.
Ssenono agamba nti okusobola…
Bya Rita Kemigisa,
Pulezidenti Museveni olwaleero asuubirwa okwogerako eri eggwanga.
Abómu makage baategeezezza nti okwogera kwa pulezidenti kugenda okulagibwa butereevu ku ttivvi zonna ne leediyo okutandika ku ssaawa 2 ez’olweggulo era kugenda kukwata ku nsonga z’ebyobulamu.
Mu kwogera kwe okusembyeyo mu bubaka bweyatiika omumyukawe Jessica Alupo, yayongezzaayo omuggalo gwa Ebola mu Mubende ne Kassanda.
Kati bannauganda balinzekulaba ebipya by’anaakola…
Bya Rita Kemigisa,
PULEZIDENTI Museveni asabye wabeewo enkyukakyuka mu nneeyisa bwekiba nti okulwanyisa akawuka ka siriimu kunalaba obuwanguzi.
Bino abyogeredde ku mukolo gw’okujjukira olunaku lwa mukenenya mu nsi yonna ngemikolo emikulu wano muggwanga gibadde Rukungiri.
Museveni agamba nti okukwatibwa akawuka ka siriimu tekukyali kwa butanwa nga bwe kyali edda era bwe kityo kisobola okwewalibwa.
Okusinziira ku Museveni, engeri yokka…
Bya Damali Mukhaye,
PULEZIDENTI Museveni alabudde abasomesa okukomya okumuteeka ku puleesa olw’okubongeza emisaala.
Kino kiddiridde ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ekya Uganda National teachers Union okusaba gavumenti erowooze ku ky’okwongeza emisaala gy’abasomesa aba-arts mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.
Bwabadde ayanukula okusaba kwabwe, Museveni agamba nti abasomesa balina okulekera awo okumutiisatiisa kubanga kiwugula gavumenti.
Agamba nti abasomesa bakomye okumutabula okusaasaanya eby’obugagga…
Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi ezudde ebyuuma ebikola wire ezitambuza amasanyalaze ezisoba mu ttani 40 oluvannyuma lw’ekikwekweto ekikulembeddwamu abakessi mu bitundu bisatu eby’enjawulo mu Kampala.
Okusinziira ku Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala Metropolitan, ebikwekweto bibadde mu bifo okuli, Social center scrap yard e Mengo, Kampala central division ne Nakitende scrap yard e Kisenyi.
Poliisi egamba yakakwata abantu…
Bya Ruth Andearah,
Eyali yeesimbyewo ku bwa pulezidenti eranga ye senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya NEED-Joseph Kabuleta asimbiddwa mu kkooti ye Nakawa lwa kutumbula busosoze mu mawanga.
Kabuleta alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa ngóno amusindise ku mmeere e Luzira.
Kabuleeta ne Munnamateekaawe Remmy Bagenda baweeredwa amagezi okusaba okweyimirirwa nga December 14th 2022 newankubadde bagezezaako okwegayirira omulamuzi…
Bya Ndaye Moses,
Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alagidde abaddukanya eddwaliro lya Uganda Cancer Institute okunoonyereza ku mawulire agalaga nti abakozi basindika abalwadde okugula eddagala okuva mu maduuka g’eddagala ag’obwannannyini songa balina kulifuna kuddwaliro ku bwerere.
Tayebwa abadde mu kulambula ddwaliro lino enkya ya leero, agamba nti afunye okweraliikirira nti abeeddwaliro nga baweebwa ensimbi eziriddukanya…
Bya Prossy Kisakye,
Amyuka omubaka wa gavumenti atuula mugombolola yé Rubaga, Anderson Burora, ayimirizza enteekateeka eyókugaba ensimbi za Parish Development Model (PDM) mugombolola eno lwakubatabaawo bwerufu.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu ofiisi ye e Lubaga RCC, Burora anenyezza ekitongole ekifuga ekibuga, ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) ekirabirira enteekateeka eno olw’okulemererwa okulondoola abalina okuganyulwa abatuufu kuba kizuuliddwa…
Bya Juliet Nalwooga,
Abaduumizi poliisi mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo basabiddwa okubeera obulindaala n’okwetegekera okwenganga obulumbaganyi obw’engeri yonna obugenderera okubalumya.
Kino kijjidde mu kiseera nga obulumbaganyi bweyongedde ku bifo eby’okwerinda.
Ku wiikendi, amagye ga UPDF gaakubye omu ku bateeberezebwa okuba omu kubalumbaganyi amasasi ne bamutta abaazinzeko ekifo ky’ebyokwerinda mu Disitulikiti y’e Jinja mu buvanjuba bwa Uganda ne batta omu…