Amawulire
Abantu ab’amaanyi mu ggwanga basabiddwa okwenyigira mu kulwanyisa okutulugunya abakyala
Bya Prossy Kisakye, Abantu ab’amaanyi mu ggwanga lino basabye okusoosowaza kawefube owokuvumirira okutulugunyizibwa okukolebwa ku bakyala na baana abawala olwekikula kyabwe. Bino byogeddwa, Andrew Moses Awayi omumyuka wa pulezidenti wa Uganda Local Government Association-ULGA bwe yabadde ayogerako ne Dembe FM munsisinkano abakulembeze be bitundu gye […]
Palamenti esabye Minisita aleete alipoota ku Masanyalaze agavavaako mu ggwanga
Bya Rita Kemigisa, Palamenti esabye Minisita w’amasannyalaze n’eby’obugagga eby’omu ttaka mu ssabiiti ejja ayanjule ekiwandiiko ekijjuvu ku kuvaako kw’amasannyalaze okuli mu ggwanga awatali kulemererwa. Wabaddewo okuvavaako kw’amasannyalaze okutaggwa mu ggwanga ng’amasannyalaze gavuddeko mu ggwanga lyonna mu kiro ekyakeesa olunaku olwokusatu. Songa mu bitundu bya Kampala […]
Amaka agasinga gakyalemereddwa okweyunga ku Masanyalaze
Bya Ndaye Moses, Amaka agasukka mu bukadde buna mwemitwalo 70 mu Uganda tegasobola kukozesa mpeereza ya masannyalaze ga mulembe mu kufumba era nga kino kikola ebitundu 66 ku buli 100 ku bantu bonna. Akulira ebibalo by’abantu n’embeera z’abantu mu kitongole kya Uganda National Bureau of […]
Museveni agenda kwogerako eri eggwanga akawungeezi ka leero
Bya Rita Kemigisa, Pulezidenti Museveni olwaleero asuubirwa okwogerako eri eggwanga. Abómu makage baategeezezza nti okwogera kwa pulezidenti kugenda okulagibwa butereevu ku ttivvi zonna ne leediyo okutandika ku ssaawa 2 ez’olweggulo era kugenda kukwata ku nsonga z’ebyobulamu. Mu kwogera kwe okusembyeyo mu bubaka bweyatiika omumyukawe Jessica […]
Museveni asabye wabeewo okukyusa enneeyisa mu kulwanyisa siriimu
Bya Rita Kemigisa, PULEZIDENTI Museveni asabye wabeewo enkyukakyuka mu nneeyisa bwekiba nti okulwanyisa akawuka ka siriimu kunalaba obuwanguzi. Bino abyogeredde ku mukolo gw’okujjukira olunaku lwa mukenenya mu nsi yonna ngemikolo emikulu wano muggwanga gibadde Rukungiri. Museveni agamba nti okukwatibwa akawuka ka siriimu tekukyali kwa butanwa […]
Museveni asabye abasomesa okulekeeraawo okumuteeka ku Puleesa némisaala
Bya Damali Mukhaye, PULEZIDENTI Museveni alabudde abasomesa okukomya okumuteeka ku puleesa olw’okubongeza emisaala. Kino kiddiridde ekibiina ekigatta abasomesa mu ggwanga ekya Uganda National teachers Union okusaba gavumenti erowooze ku ky’okwongeza emisaala gy’abasomesa aba-arts mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja. Bwabadde ayanukula okusaba kwabwe, Museveni agamba nti abasomesa […]
Ababba ebintu bya UMEME 13 bakwatibwa
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi ezudde ebyuuma ebikola wire ezitambuza amasanyalaze ezisoba mu ttani 40 oluvannyuma lw’ekikwekweto ekikulembeddwamu abakessi mu bitundu bisatu eby’enjawulo mu Kampala. Okusinziira ku Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala Metropolitan, ebikwekweto bibadde mu bifo okuli, Social center scrap yard e Mengo, […]
Kabuleeta asindikibwa mu Komera e Luzira
Bya Ruth Andearah, Eyali yeesimbyewo ku bwa pulezidenti eranga ye senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya NEED-Joseph Kabuleta asimbiddwa mu kkooti ye Nakawa lwa kutumbula busosoze mu mawanga. Kabuleta alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Ritah Neumbe Kidasa ngóno amusindise ku mmeere e Luzira. Kabuleeta ne Munnamateekaawe Remmy […]
Tayebwa alagidde ekisulo kyábayizi ku UCI kisengulwe-Abayizi bali mu bulabe
Bya Ndaye Moses, Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alagidde abaddukanya eddwaliro lya Uganda Cancer Institute okunoonyereza ku mawulire agalaga nti abakozi basindika abalwadde okugula eddagala okuva mu maduuka g’eddagala ag’obwannannyini songa balina kulifuna kuddwaliro ku bwerere. Tayebwa abadde mu kulambula ddwaliro lino enkya […]
Burora ayimirizza okugaba ensimbi za PDM e Rubaga
Bya Prossy Kisakye, Amyuka omubaka wa gavumenti atuula mugombolola yé Rubaga, Anderson Burora, ayimirizza enteekateeka eyókugaba ensimbi za Parish Development Model (PDM) mugombolola eno lwakubatabaawo bwerufu. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu ofiisi ye e Lubaga RCC, Burora anenyezza ekitongole ekifuga ekibuga, ekya Kampala Capital City […]