Amawulire
Leero Uganda yegasse kunsi yonna okukuza olunaku lwéddembe lyóbuntu
Bya Nalwooga Juliet, Prossy Kisakye, ne Rita Kemigisa, Uganda olwaleero yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’eddembe ly’obuntu mu nsi yonna wansi w’omulamwa “Ekitiibwa, Eddembe, n’Obwenkanya eri Bonna”. Okusinziira ku kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu mu Uganda aka UHRC ebikujjuko by’eggwanga byakubeera mu Disitulikiti y’e […]
Omutembeyi asindikibwa e Luzira lwa bubbi
Bya Ruth Anderah, Omutembeeyi agambibwa okuba nti abadde atembeyeeza ebintu bye mumaduuka g’omukibuga n’ekigenderwa ekyokubba avunaniddwa. Birungi Rashid myaka 25 nga mutuuze we Salama Makindye, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Siena Owomugisha abasomedde omusango gw’obubbi nagwegaana. Wabula amangu ddala oluvanyuma […]
Enkola mu kubunyisa amawulire mu gavt ewedde okulambikibwa
Bya Rita Kemigisa, Akakiiko ka gavumenti akavunanyizibwa ku byamawulire nokulungamya eggwanga kafulumiza ebinagobererwa mu kulungamya ku byamawulire. Ebinagobererwa bino biweereddwa omuwandiisi owenkalakalira mu minisitule eye byamawulire, okulungamya eggwanga ne bya technologia, Dr. Aminah Zawedde. Enkola eno etandika okukola mu mwaka ogujja. Enkola eno egenderedde okwanguyaako […]
Mayiga akubiriza abavuzi bébidduka obutavuga ndiima mu biseera bino
Bya Prossy Kisakye, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubiriza abakozesa enguudo obutavuga sipiidi n’okuvuga nga batamidde kibayambe obutakola bubenje mu budde buno obwennaku enkulu. Bino abyogedde enkya ya leero bwabadde akwasa abaddukanya eddwaliro lya Nkozi Rotary Hospital ceeke ya bukadde bwa shs 138 nga […]
Muyingo akubiriza amatendekero ku buyiiya
Bya Moses Ndaye, Minisita ow’ebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysostom Muyingo asomoozezza amatendekero ag’obwannannyini okwettanira Obuyiiya mu Sayansi ne Tekinologiya olw’okukulaakulanya eggwanga. Agamba nti Yunivasite z’obwannannyini zirina okukola okunoonyereza kungi mu bya Sayansi ne tekinologiya okusobola okusikiriza bamusiga nsimbi. Alabudde nti amatendekero aga waggulu mu ggwanga […]
Abakubi b’ebikonde bagala gavt ekkirize omuzannyo guno mumasomero
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekifuga omuzannyo gw’ebikonde mu ggwanga ekya Uganda Boxing Federation kisabye gavumenti eggyewo envumbo ku kuzannya ebikonde mu masomero. Omulanga guno gukubiddwa pulezidenti w’ekibiina kino Moses Muhangi bwabadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti aka ahdoc committee. Ategeezezza ababaka nti okumala emyaka 30 […]
Abakulembeze e Bunyoro bavudeyo ku by’okusiba Kabuleta
Bya Mike Sebalu, Ekitundu ky’abakulembeze, abakadde n’abantu b’e Bunyoro bavumiridde eky’okuwamba, okukwata n’okusibibwa mu ngeri emenya amateeka senkagale w’ekibiina kye byobufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue, Joseph Kabuleta. Kabuleta yakwatibwa okuva mu ofiisi z’ekibiina kye e Bugolobi mu Kampala ku Mmande nga 28th era yatwalibwa […]
KCCA etongoza kawefube ow’okutumbula obukuumi bw’okunguudo
Bya Prossy Kisakye Ekitongole ekidukanya ekibuga Kampala ki Kampala Capital City Authority- KCCA kitongozza kaweefube w’okuteekawo obukuumi kunguudo okuyita mu kukendeeza sipiidi nga bannansi beetegekera okuyingira sizoni y’ennaku enkulu. Kaweefube ono agenderera okulaga obulabe obw’amaanyi obuva mukuvuga endiima era kawefube ono yasoose okubawo wansi wobuvugirizi […]
Uganda efunye Doozi z’eddagala ery’okugezesa mu kugema Ebola
Bya Juliet Nalwooga, Uganda efunye ddoozi ze ddagala 1200 bannansayansi zebagenda okugezeserezaako mu okugema ekirwadde kye Ebola. Eggwanga lyakakakasa abantu 142 abakakwatibwa obulwadde bw’e Ebola akawuka akaava e Sudan, nga 55 be bafudde, okuva obulwadde lwebwalangirirwa muggwanga mu mwezi ogwo 9 Bwabadde awaayo eddagala lino, […]
Abatikiddwa baweereddwa amagezi
Bya Barbara Anyait, Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza ebya waggulu Dr John Chrizostom Muyingo akubiriza abayizi abatikkirwa mu matendekero aga waggulu mu kuyiga okubeera abayiiya nga bwe beetondera emirimu nga bakozesa obukugu bwe bafuna mu kutendekebwa. Okusinziira ku Muyingo, abayizi bangi bava mu matendekero nga tebalina […]