Amawulire
Bannaddiini basabye Gavt aleete alipoota ku bantu abazze bawambibwa
Bya Prossy Kisakye, Bannaddiiini wansi w’ekibiina kyabwe ekya ‘Inter-religious council of Uganda, basabye gavumenti okufulumya alipoota ekwata ku Bannayuganda ababuze. Wabaddewo okwemulugunya mu lujjudde olw’abantu abagambibwa nti baawambibwa n’abamu bakwatibwa nga okulonda kwa bonna tekunnabaawo, n’oluvannyuma lw’okulonda abakyabuze n’okutuusa kati. Bano kigambibwa nti okusinga bawagizi […]
Bannamateeka baddukidde mu Kkooti bawakanya etteeka kunkozesa ya Komputa
Bya Ruth Anderah, Ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law society kidukidde mu kkooti ya Ssemateeka nga bawakanya etteeka empya kunkozeza ya komputa erya Computa misuse manangement Act, bagamba nti lityoboola eddembe lyobuntu. Okusaba kw’ekibiina kino wekugidde nga waliwo ne bibiina byobwannakyewa ebirala ebyaddukira mu kkooti […]
Poliisi esse abayekera ba ADF 2 e Matugga
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi e Matugga, mu disitulikiti y’e Wakiso, esse abateeberezebwa okuba abayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF) babiri. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi, e Naguru, omwogezi wa Poliisi ategeezezza nti abasajja ababiri battiddwa ku kyalo Kito mu Matugga mu disitulikiti […]
Amuriat asabye gavt ku ndagaano ya Maputo mu kutumbula ebyóbulimi
Bya Prossy Kisakye, Senkagale w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change-FDC, Patrick Amuriat asabye gavumenti okutuukiriza endagaano ya Maputo protocal eya 2003 okusobola okukola ku bbeeyi y’emmere erekanamma ensangi zino. Mu ndagaano ya Maputo gavumenti za mawanga zeeyamye okuwaayo ensimbi ebitundu 10% ku mbalirira […]
UPDF esse abayekera ba ADF 20, 15 bakwatibwa e Ntoroko
Bya Ben Jumbe, Eggye lye ggwanga erya UPDF likakasiza nti abayekera ba ADF 20 bebattiddwa mu bulumbaganyi bwe bakola mu disitulikiti yé Ntoroko. Kino kyadirira ku lwokubiri lwa ssabiiti eno abayekera ba ADF abasoba mu 40 okulumba ebyalo mu Ntoroko ne batandika okutigomya abatuuze. Bwabadde […]
Bakontulakita ku ddwaliro lya Mpogo balabuddwa
Bya Prossy Kisakye, Amyuka Omubaka wa pulezidenti atuula mu disitulikiti y’e Mityana John Bosco Lubyaayi Sseguya, alabudde kontulakita abaaweeredwa omulimu gwokuzimba eddwaliro lya Mpongo health center III okufuba okulaba nga tebaleeta buvuyo mu kitundu ekintu ekiyinza okuvirako okuyimiriza sente ezavudde mu banka yensi yonna okuzimba […]
Bannakyewa basabye gavt ku mabanja agatatadde
Bya Moses Ndaye, Bannakyewa abalwanyisa enguzi basabye gavumenti okukomya okufuna looni ezisikiriza amagoba amangi. Okusinziira kwakulira ebyémirimu mu kibiina kya Uganda Debt Network, Christine Byingiro, mu kifo kyokulya amabbanja amangi gavumenti yandibadde eddukira mu kwewola ssente ezijja námagoba amatono ate nga tekuli misoso gyamaanyi. Agamba […]
Abalwanirizi béddembe bagala abakyala abatyoboolwa ku mitimbagano bataasibwe
Bya Mike Sebalu, Bannakyewa abalwanirira eddembe lyoku mutimbagano basabye gavt okubagawo amateeka amakakali okutaasa abakyala ku kutulugunyizibwa kwebayitamu ku mutimbagano. Bano bagala okutulugunya abakyala, n’abasajja abateeka ebifananyi bya bakyala eby’obusegu ku yintaneti oluvanyuma lwokufuna obutakanya okwagala okubaswaza gube musango gwamaanyi. Dorothy Mukasa, akulira ekibiina ki […]
Minisita Nabakooba ayimiriza ebyókugobaganya abatuuze 2000 ku ttaka e Gomba
Bya Mike Sebalu, Minisita w’eby’ettaka amayumba n’ebibuga Judith Nabakooba ayimirizza okugobebwa ku ttaka okw’abantu abali eyo mu 2000 okuva ku byaalo 5 mu bitundu by’e Kabulasoke mu district eye Gomba. Ebyaalo ebyogerwako kuliko ekye Kabulasoke A, Kabulasoke B, Bukundugulu, Lubaale wamu ne Nkandwa nga byonna […]
Embeera egenze edda munteeko mu disitulikiti yé Ntoroko
Bya Mike Sebalu, Embeera eze mu nteeko mu district y’e Ntoroko, oluvanyuma lw’okulwanagana okwabaluseewo wakati w’eggye ly’eggwanga li UPDF n’abagambibwa okubeera abajambula ba ADF. Bano baabadde basaze okugga Semliki nebesogga Uganda nga bayitira mu bitundu bya District y’e Ntoroko erina ensalo neggwanga elya DRC. Omubaka […]