Amawulire
Uganda essuubira okwongera okufuna ensimbi eziwera mu bitundibwa ebweru
Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko akavunanyizibwa ku bitundibwa emitala wa Mayanja aka Uganda export promotions Board kalian essuubi nti wagenda kubaawo okweyongera kwebyamaguzi ebifuluma eggwanga wetunamalirako omwaka gwe byensimbi gwe tulimu. Wadde nga ekitongole ky’okutunda ebweru w’eggwanga kyakosebwa ekirwadde kya COVID 19 ng’ebirala byonna, abakakiiko kano […]
Omulabirizi wé Mukono akubiriza abavubuka okukola enyo
Bya Kiguli Diphas, Omulabirizzi we Mukono James William Ssebaggala alabudde abavubuuka okwenyigira mu kukola naddala mu biseera bino ng’enkuuba effuddemba okusinga okwemalira mu betting n’ebintu ebikyamu. Omulabirizzi agamba nti abavubuuka bangi balekedde abakadde okulima ate nga tebasobola kulisa ggwanga kubanga amannyi gagenze gakeewa. Ssebaggala era […]
Gavt yakuwandiisa abasomesa abagya e 2000
Bya Jane Nafula, Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo eyolekedde okuwandiika abasomesa ba siniya nga 2000 mu mwaka omuggya. Bino byogeddwa omwogezi wa minisitule eno Dr Dennis Mugimba ategeezeza nti abateekayo okusaba kwabwe ne bayita yintaviyu mu July bafuna ebbaluwa ezibakkakasa ku mirimu. Dr Mugimba wabula agamba nti […]
Omusajja asse gwatebereza okwagala muganziwe
Bya Abubaker Kirunda, Abatuuze mu Kabuga ké Buwongo mu gombolola y’e Makuutu e Bugweri bibawedeko oluvannyuma lw’omusajja okutema munne n’amuttirawo ng’alumiriza nti abadde ali mumukwano ne muganzi we. Omugenzi ategerekese nga Charles Balidawa nga omutuuze ku kyalo Kasoxi B mu gombolola ye Makuutu. Omwogezi wa […]
Bannauganda basabiddwa okukolaganira awamu ku lwémirembe
Bya Benjamin Jumbe, Bannauganda basabiddwa okubaawo mu mirembe n’okukwatagana ne bannaabwe era bakole ku kukuuma n’okutumbula ekitiibwa ky’obuntu ekya buli omu Bino byogeddwa kamisona okuva mu kakiiko akalwaniriira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission Crispin Kaheru. Mu kwogerako ne Dembe FM, asabye […]
FDC yeyamye okwongera okutumbula Kampeyini yaayo mu kukuuma Obutonde
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Change-FDC, kyeyamye okugenda mu maaso n’okutumbula kampeyini waakyo ew’okukuuma obutonde bw’ensi eyatuumibwa ‘’Greening Uganda’’ mu mwaka gwa 2023. Okusinziira ku pulezidenti w’ekibiina kino, Patrick Amuriat, ekibiina kino mu mwaka ogufundikira 2022 kisimbye emiti egisoba mu 500,000 okwetoloola […]
Bannaddiini basabye baweewo okwegatta okumalawo abaana bókunguudo
Bya Prossy Kisakye, Abakulembeze b’eddiini basabye wabeewo kaweefube ow’amaanyi okusobola okukola ku kizibu ky’abaana b’oku nguudo mu Kampala. Okusinziira ku Rev John Awodi, omuwandiisi w’essaza ly’e Kampala, beeraliikirivu olw’omuwendo gw’abaana okweyongera ku nguudo z’omu Kampala okusinga okuva e Karamoja. Avumiridde abamu ku bantu ssekinnoomu b’agamba […]
Sipiika yenyamidde ku bubenje bwókunguudo obumalawo abantu
Bya Ben Jumbe ne Nalwooga Juliet, Sipiika wa palamenti Anita Among alaze obweraliikirivu olw’abantu abagenda mu maaso n’okufiirwa abantu ku nguudo z’eggwanga. Bwabadde aggulawo olutuula olw’enjawulo okusiima omugenzi omubaka wa Palamenti e Serere Patrick Okabe, sipiika agambye nti kya nnaku nti eggwanga likyagenda mu maaso […]
MOH efunye eddagala ery’okugezesa mu kugema ekiradde kye Ebola
Bya Prossy Kisakye, Minisitule y’eby’obulamu efunye ekitundu eky’okubiri ekyeddagala erigenda okugezesebwa mu kugema Ebola. Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) kinnyonnyola nti mu kiseera kino tewali ddagala lirina layisinsi erigema ekika ky’akawuka ka Ebola akava e Sudan akalumba Uganda Era okugezesa kuno bagala kuzuula oba […]
Kkooti eragidde Dr. Oledo asigale nga ye Pulezidenti wa UMA
Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu mu kampala esazizaamu ekiragiro ekigya Dr. Samuel Oledo Odongo ku bwa pulezidenti bwe kibiina omwegatira abasawo mu ggwanga ekya Uganda Medical Association (UMA) Okusinziira ku mulamuzi Ssekaana, ekiragiro kino kyakuyimirira okutuusa ng’omusango gwa Dr. Oledo omukulu guwedde okugonjoolwa mw’abuusabuusiza emitendera […]