Amawulire
Ssabasajja asiimye okulabikako eri obuganda mu kwaniriza omwaka 2023
Bya Prossy Kisakye, Ssabasajja Kabaka asiimye okulabikako eri obuganda olunaku lwa leero mu kusibula omwaka 2022 n’okuggulawo omwaka ogujja mu lubiri lwe e Mengo. Nga bwekizze kibeera obwakabaka bwa Buganda bubeera ne ntujjo eyé Nkuuka mwe bayita okwaniriza omwaka omujja mu lubiri e Mengo, ne […]
Museveni agenda kwogerako eri eggwanga olunaku lw’enkya
Bya Ben Jumbe, Pulezidenti Museveni agenda kwogerako eri bannauganda mu bubakabwe obufundikira omwaka olunaku lwenkya. Kino kikakasiddwa munnamawulire wa pulezidenti omukulu Sandor Walusimbi, atubuulidde nti pulezidenti agenda kwogera nga asinzira mu makage agali e Rwakitura. Wakwogera ku ssaawa bbiri ezekiro era wakulagibwa nokuwulirizibwa ku TV […]
Poliisi eremeseza okusaba kwábali ku ludda oluvuganya
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi mu Kampala eremesezza okusaba okumalako omwaka okubadde kutegekeddwa aboludda oluvuganya gavt bannakyukyuka aba United Forces of Change e Nsambya ku sharing hall. Omwogezi wa poliisi mu KMP, Patrick Onyango agamba nti okusaba kuno yadde bannyikwo babadde bazze wabula poliisi teyakukkiriza Olw’okutiisibwatiisibwa […]
Agambibwa okubba amasimu asindikiddwa e Luzira
Bya Ruth Anderah, Omusajja agambibwa okuba nti abadde anyakula amassimu g’abantu mu biseera bino ebyegandaalo kyadaki avunaniddwa. Kasacca Ashiraf asibiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Asuman Muhumuza amusomedde emisango gw’obubbi nagwegaana. Wabula amangu ddala oluvanyuma lw’okwegaana emisango omulamuzi amusindiise ku meere e […]
Akabenje kasse abantu 6 e Ntungamo
Bya Kankiriho Obed, Abasaabaze mukaaga bafiiridde mu kabenje dekabusa akagudde ku luguudo oluva e Rukiga -Mbarara. Elly Maate Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Kigezi agamba nti akabenje kaguddewo nkya ya leero ku ssaawa nga 04:00 ez’oku makya ku Satellite Hotel 2kms okuva mu katawuni […]
Aba United Forces of Change bategese okusaba okumalako omwaka
Bya Prossy Kisakye, Ab’oludda oluvuganya gavumenti abalwanirira enkyukyuka mu byobukulembeze mu ggwanga lino, aba United Forces of Change, bategese okusaba kw’eggwanga okumalako omwaka nga banoonya okulungamizibwa okuva eri katonda mu mwaka omujja 2023. Okusaba okutegekeddwa abakulembeze mu kibiina ekiri ludda oluvuganya gavumenti aba Forum for […]
Abakulembeze bakalatiddwa okufaayo okutumbula embeera zábantu mu mwaka omujja
Bya Prossy Kisakye, Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11, akubiriza abakulembeze b’ebyobufuzi okussa essira ku kusitula embeera z’abalonzi mu byenfuna mu mwaka ogujja 2023. Bino biri mu bubaka bwe obufundikira omwaka. agambye nti essira lisinge kuteekebwa ku nteekateeka ezigenda okuyamba okumalawo obwavu mu bannansi […]
Abantu 9 bafiiridde mu kabenje akagudde e Kinoni
Bya Juliet Nalwooga, Abantu mwenda bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo okuva e masaka okudda e Mbarara. Akabenje kano kagudde Kaganda okwolekera olutobazzi lw’e Kyojja e Kinoni mu disitulikiti yé Lwengo. Kigambibwa nti mmotoka ekika kya Mercedes Benz Actros trailer reg no RAF 168S/RL 1426 […]
Abantu 55 bebafiiridde mu bubenje bw’okunguudo mu nnaku za Ssekukulu
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi etegeezezza nga omugatte gw’abantu 55 bebafiiridde mu bubenje bw’okunguudo okwetoloola eggwanga mu nnaku nnya zokka mu sizoni ya ssekukkulu okuva nga 23rd -26th December. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru, omwogezi wa Poliisi y’ebidduka, Faridah Nampiima ategeezezza […]
Poliisi efulumiza ebiragiro ebikkakali eri abagenda okutulisa ebiriroliro mu kumalako omwaka
Bya Prossy Kisakye, Nga bannaUganda beetegekera okujaguza okumalako omwaka 2022 ekitongole kya poliisi kifulumizza ebiragiro ebikambwe eri abasirikale baayo awamu n’abaddigize. Ebifo byonna ebigenda okutulisa ebiriroliro biteekeddwa okulondoolebwa okuva ku ntandikwa nga bateekateeka ebifo webagenda okubikubira, era nga biteekeddwa okuba nga bikubwa bigenda waggulu sossi […]