Bya Kiguli Diphas,
Omulabirizzi we Mukono James William Ssebaggala alabudde abavubuuka okwenyigira mu kukola naddala mu biseera bino ng’enkuuba effuddemba okusinga okwemalira mu betting n’ebintu ebikyamu.
Omulabirizzi agamba nti abavubuuka bangi balekedde abakadde okulima ate nga tebasobola kulisa ggwanga kubanga amannyi gagenze gakeewa.
Ssebaggala era asabye abakristaayo okusigala nga bakakamu ng’ekaniisa bwekola kukyokubawa omulabirizzo omuppya ku ntandikwa y’omwaka…
Bya Jane Nafula,
Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo eyolekedde okuwandiika abasomesa ba siniya nga 2000 mu mwaka omuggya.
Bino byogeddwa omwogezi wa minisitule eno Dr Dennis Mugimba ategeezeza nti abateekayo okusaba kwabwe ne bayita yintaviyu mu July bafuna ebbaluwa ezibakkakasa ku mirimu.
Dr Mugimba wabula agamba nti bano sibakutandika kukola mu January/ February wabula oluvanyuma lwokwekenenya obwetaavu webuli basindikibweyo.
Omuwandiisi omukulu…
Bya Abubaker Kirunda,
Abatuuze mu Kabuga ké Buwongo mu gombolola y’e Makuutu e Bugweri bibawedeko oluvannyuma lw’omusajja okutema munne n’amuttirawo ng’alumiriza nti abadde ali mumukwano ne muganzi we.
Omugenzi ategerekese nga Charles Balidawa nga omutuuze ku kyalo Kasoxi B mu gombolola ye Makuutu.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Diana Nandawula agamba nti Balidawa yakubiddwa ekikonde ku mutwe…
Bya Benjamin Jumbe,
Bannauganda basabiddwa okubaawo mu mirembe n’okukwatagana ne bannaabwe era bakole ku kukuuma n’okutumbula ekitiibwa ky’obuntu ekya buli omu
Bino byogeddwa kamisona okuva mu kakiiko akalwaniriira eddembe lyóbuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission Crispin Kaheru.
Mu kwogerako ne Dembe FM, asabye abantu wakati mu bikujjuko ebimalako omwaka okujjukira okuyimirira n’abo abatalina mu bitundu byabwe.
Kaminsona…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Change-FDC, kyeyamye okugenda mu maaso n’okutumbula kampeyini waakyo ew’okukuuma obutonde bw’ensi eyatuumibwa ‘’Greening Uganda’’ mu mwaka gwa 2023.
Okusinziira ku pulezidenti w’ekibiina kino, Patrick Amuriat, ekibiina kino mu mwaka ogufundikira 2022 kisimbye emiti egisoba mu 500,000 okwetoloola eggwanga lyonna mu kaweefube w’okukuuma obutonde bw’ensi.
Akubiriza buli Munnayuganda okwenyigira mu kaweefube…
Bya Prossy Kisakye,
Abakulembeze b’eddiini basabye wabeewo kaweefube ow’amaanyi okusobola okukola ku kizibu ky’abaana b’oku nguudo mu Kampala.
Okusinziira ku Rev John Awodi, omuwandiisi w’essaza ly’e Kampala, beeraliikirivu olw’omuwendo gw’abaana okweyongera ku nguudo z’omu Kampala okusinga okuva e Karamoja.
Avumiridde abamu ku bantu ssekinnoomu b’agamba nti baleeta abaana bano ku nguudo okubafunira ssente nga bayita mu kusabiriza n’asaba…
Bya Ben Jumbe ne Nalwooga Juliet,
Sipiika wa palamenti Anita Among alaze obweraliikirivu olw’abantu abagenda mu maaso n’okufiirwa abantu ku nguudo z’eggwanga.
Bwabadde aggulawo olutuula olw’enjawulo okusiima omugenzi omubaka wa Palamenti e Serere Patrick Okabe, sipiika agambye nti kya nnaku nti eggwanga likyagenda mu maaso n’okufiirwa bannansi buli lunaku olw’obubenje ku nguudo wadde nga waliwo okulaajana okuwerako.
Agamba…
Bya Prossy Kisakye,
Minisitule y’eby'obulamu efunye ekitundu eky'okubiri ekyeddagala erigenda okugezesebwa mu kugema Ebola.
Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) kinnyonnyola nti mu kiseera kino tewali ddagala lirina layisinsi erigema ekika ky’akawuka ka Ebola akava e Sudan akalumba Uganda
Era okugezesa kuno bagala kuzuula oba ddagala lino lisobola okukola obulungi mu kulwanyisa ekika ky’e Sudan.
Dr Yonas Tegegn, omukiise…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti enkulu mu kampala esazizaamu ekiragiro ekigya Dr. Samuel Oledo Odongo ku bwa pulezidenti bwe kibiina omwegatira abasawo mu ggwanga ekya Uganda Medical Association (UMA)
Okusinziira ku mulamuzi Ssekaana, ekiragiro kino kyakuyimirira okutuusa ng’omusango gwa Dr. Oledo omukulu guwedde okugonjoolwa mw’abuusabuusiza emitendera abakulu mu Uma mwebayita okumugyamu obwesige nga pulezidenti wabwe.
Kino kitegeeza nti Dr.…
Bya Prossy Kisakye,
Abaddukanya bbaasi ne takisi basazeewo okwongeza ebisale by’entambula mu biseera byennaku enkulu, olw’ebbeeyi y’amafuta okubeera waggulu.
Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Muhammad Ssempijja ddereeva era omukulembeze ku Namayiba Taxi Park, agambye nti baddereeva bongeddeko katono ku bisale eri abasabaze abagenda mu byalo okusobozesa baddereeva okubaako kye bafuna kuba emmotoka bwe zikomawo okuva mu byalo…
