Amawulire
Abantu 35 bebaafiiridde mu bubenje bwókunguudo mu kumalako omwaka
Bya Nalwooga Juliet, Abantu 35 beebafiiridde mu bubenje bwokunguudo nga tuyingira omwaka omuppya okwetoloola eggwanga lyonna. Omwogezi wa poliisi ye bidduka, Faridah Nampiima agambye nti okuva nga 30th dec -1st jan obubenje obusoba mu 100 bwebwagudewo. 35 beebo abaali mu bubenje 149 obwagwawo mu bitundu […]
Omuliro gusanyizaawo emmali yábasuubuzi eKalungu
Bya Malik Fahad, Abasuubuzi e Kabaale –Bugonzi e Kalungu bali balajana oluvannyuma lw’omuliro okwokya emmali yabwe ebibalirirwamu obukadde n’obukadde ne saanawo. Enjege eno egudde mu katawuni ke Kabale Bugonzi ku luguudo oluva e Kampala- Masaka mu disitulikiti y’e Kalungu omuliro bwe gukutte kiosk omubadde omusiisi […]
Omwana owemyaka 7 asse kitaawe
Bya Santo Ojok Omulenzi ow’emyaka 17 asse kitaawe mu butategeeragana obubaluseewo nga bali mu ndogo wakati mu kwaniriza omwaka omuggya mu Disitulikiti y’e Kwania. Kigambibwa nti omuvubuka ono yasaze kitaawe Tonny Okwir 38, emirundi egiwera ng’akozesa ekiso. Bino bibaddewo oluvannyuma lw’omugenzi eyabadde atamidde okugezaako okutta […]
Aba DP banenyeza poliisi ku bantu abafiiridde ku Freedom City
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri kuludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party kigugumbudde poliisi olw’okunenya abategesi b’ekivvulu ku freedom City omwafiiridde abantu mu kumalako omwaka. Nga 31st December abantu 10 bebafudde ate abalala 12 nebalumizibwa wakati mu kavuvungano nga badduka okuva mu kizimbe badde ebweru basobole […]
Omwana eyawambiddwa attiddwa olwa bazadde okulemererwa okusasula abawambi
Bya Abubaker Kirunda, Omulenzi ow’emyaka 7 attiddwa omusajja eyamuwamba oluvanyuma lwa bazzade okulemererwa okumuwa obukadde 7 bweyasabye amubaddize nga mulamu. Bino biri ku kyalo Bulungu mu tawuni kanso y’e Namwendwa e Kamuli. Charles Musumba omutuuze mu kitundu kino agamba nti ateeberezebwa okuwamba omwana yalonzeyamututte lunaku […]
Abavuganya baweereddwa amagezi okuloopa poliisi mu Kkooti
Bya Prossy Kisakye, Abalwanirira eddembe ly’obuntu bawadde abakulembeze b’oludda oluvuganya gavumenti mu Uganda amagezi okuwawaabira poliisi olw’okugendanga mu maaso n’okutaataaganya emikolo gyabwe egy’ebyobufuzi. Kino kiddiridde poliisi nga 30th December okulemesa okusaba okwokumala omwaka okwategekebwa abómukago gwa United Forces of Change ekikulemberwa eyali pulezidenti wa FDC, […]
Abazadde basabiddwa okwegendereza abagala okuyamba ku baana fiizi
Bya Abubaker Kirunda, Omubaka wa gavt mu disitulikiti y’e Namutumba, Tomasi Matende asabye abazadde okwegendereza abantu abajja gyebali nga beefudde abagenda okuwa abaana babwe zi-sikaala nga bwe beetegekera okudda ku ssomero omwezi ogujja. Agambye nti abantu abamu beefula abagala okuwa abaana sikalaa kumbe bagala kubayingiza […]
KCCA essira elitadde kukukola ngudo, okutumbula obulamu, technologia mu 2023
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole kya Kampala Capital City Authority-KCCA essira balitadde ku byatekinologiya, okuzimba enguudo, n’obulamu bw’abantu mu kutumbula ekibuga ekiri ku mulembe mu mwaka omuggya. Akulira ekitongole kya KCCA, Dorothy Kisaka ategeezezza K/DembeFM nti ekitongole kino kyagala okutumbula embeera ennungi ey’obusuubuzi n’embeera ennungi ennyo […]
Poliisi ekutte Abitex ku bantu abafiiridde mu kivvulu
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi ekakasizza nga bwekutte omutegesi w’ebivvulu Abbey Misunguzi abangi gwebamanyi nga ABTEX abeeko byajinyonyola ku byabaddewo ku Freedom City, abantu 10 bamale baffe nga bayingira omwaka 2023. Ayogerera Poliisi mu gwanga Fred Enanga, abuulidde ab’amawulire ng’asinziira mu lukungaana lwa buli sabiiti e […]
Museveni asabye bannabyabufuzi
Bya Ben Jumbe, PULEZIDENTI Yoweri Museveni asabye bannabyabufuzi mu Uganda okukulembeza enteekateeka y’okufukirira ebirime mu mbalirira eddako n’okuzimba ekkolero ly’ebigimusa e Tororo okulaba ng’ebyobulimi byeyongera mu ggwanga. Pulezidenti okwogera bino yasinzidde mu bikujjuko bya ba- father 2 bannyina bamyuka oomuk weggwanga Jesica alupo, okuli Rev. […]