Amawulire
Ekanisa yábalokole endala ekkumiddwako omuliro e Iganga
Bya Abubaker Kirunda, Waliwo abantu abatanategerekeka akateekede ekkanisa omuliro nesirikka mu disitulikiti eye Iganga mu kiro ekikeesezza leero. Ekkanisa y’abalokole eno emanyiddwa nga Ebenezer Community Church esangibwa ku kyaalo Bulubandi- Nandekula mu gombomola y’e Nakigo. Eno esangiddwa nga muyonga obudde webukeeredde wabula ng’ababadde amabega w’ekirwa […]
Poliisi eyongedde obukuumi kunsalo e Mpondwe
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi egamba nti etaddewo enkola eziwerako okutangira abantu okwesogga Uganda n’obulumbaganyi bwonna obuyinza okubaawo ku nsalo e Mpondwe eyawula Uganda ne DRC. Kino kiddiridde obulumbaganyi obwekitujju obwabadewo olunaku lweggulo mu buvanjuba bwa congo ku kkanisa ya balokole e Lhubirira, esangibwa mu kiromita […]
Kkooti egobye okusaba kwa Prof. Kanyeihamba
Bya Ruth Anderah, Kkooti egobye okusaba okwawaabiddwa omulamuzi wa kkooti ensukkulumu eyawummula Pulofeesa George Kanyeihamba nga baagala okulemesa pulezidenti Museveni okukola sitatimenti ezitiisa abantu abagala okufuna okweyimirirwa mu kkooti. Abalamuzi ba kkooti ya Ssemateeka bataano okuli Fredrick Egonda-Ntende, Elizabeth Musoke, Christopher Madrama, Monica Mugenyi ne […]
IGG atandise okunonyereza ku buwumbi 4 ezaweebwa KCCA mu Covid
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole kya Gavumenti ekilondoola emirimu ekya IGG kitandise okunoonyereza ku nsimbi ezigambibwa okukozesebwa obubi eziwera shs4bn ezaali ezokulwanyisa ekirwadde kya covid-19 ezaweebwa ekitongole ekiddukanya e kibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority. Kino kiddiridde Kansala mu lukiiko lwa KCCA owa Rubaga 111, […]
Abaliko ababaka mu palamenti baddukiriddwa
Bya Mike Sebalu, Office y’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga ng’eri wamu ne Officie ya Nampala wa Gavumenti ziduukiridde ekibiina ekigatta abaaliko ababaka mu Parliament y’omwenda n’obukadde bwezakuno 35 zibayambeko okwekulakulanya. Ekibiina ekino kikulemberwa eyali Omubaka wa Tororo Municipality u Parliament Sanjay Tanna ng’amyukibwa eyali owa Bubuulo East […]
Abavuganya bakukola embalirira yéggwanga eyabwe
Bya Rita Kemigisa, Akulira oludda oluwabua Gavumenti mu Parliament Mathias Mpuuga ayagala oludda oluvuganya lukyuse mu ngeri gyelukola mu ebintu byalyo naddala bwekituuka ku kuwa engeri endala gyelulowooza nti entambuza y’emilimu gyeggwanga bwegyandibadde gikwatibwa. Mpuuga agamba nti ng’aboludda oluvuganya, tekyandibadde kyabuvunanyizibwa okudda mu kulongoosa abali […]
KCCA efunye ambyulensi 7 okutumbula eby’empeereza
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole kya Kampala capital City Authority-KCCA olwaleero efunye ambyulensi musanvu okutumbula empeereza y’ebyobulamu mu divizoni z’ekibuga ettaano. Zino zaguliddwa ku kawumbi kamu n’obukadde 600 nga buli emu yaguliddwa obukadde 230. Bwabadde asimbula ambyulensi zino okugenda mu magombolola gomu kampala, ku City Hall […]
Omukazi wólubuto afiiridde ewa Mulerwa
Bya Abubaker Kirunda, Omusajja mu disitulikiti y’e Kamuli ali mu maziga oluvannyuma lw’okufa kwa mukyala we eyawalirizibwa okuzaala nga talina bissa bisindika omwana. Godfrey Teki omutuuze ku kyalo Buwula A mugombolola ye Bugulumbya agamba nti mukyala we Fatuma Kafuuko yagenze ew’omusawo omuzaalisa owokukyalo okukebera olubuto […]
Agambibwa okutta Mukyalawe agombedwamu obwala e Mpigi
Bya Mike Sebalu, Poliisi e Mpigi daaki ekutte omusajja agambibwa okukkira mukazi we namukuba omuggo ku mutwe ogwamusse n’oluvanyuma omulambo nagusibira mu nyumba. Poliisi kigitwalidde ennaku 3 okukwata ono okukola omuyiggo, ng’ono bamusanze yekukumye mu ttale. Frank Kiragga nga mutuuze we Bukabi mu ggombolola ye […]
Burora asabye minisitule elemese abakungu abanonyerezebwako okuva mu ggwanga
Bya Prossy Kisakye, Omubaka wa gavumenti atuula mu gombolola yé , Anderson Burora asabye minisitule y’ensonga z’omunda okulemesa abakungu abali mu kunoonyereza ku mivuyo gy’okuzimba emwala gy’e Lubigi obutafuna Visa kuva mu ggwanga. Banka y’ensi yonna yawaayo obukadde bwa doola 183.7 eri ekitongole kya Kampala […]