Amawulire
Ssababalirizi wéitabo bya Gavt akubye ebituli munkola ya PDM
Bya Rita Kemigisa, Ssababalirizi w’ebitabo bya Gavumenti, ayanjiza alipoota eyomwaka ogwa 2021/22 eri Parliament nga aliko ebituli byalengedde mu nkola eya Parish Development Model. John Muwanga bw’abadde akwasa Speaker Anita Among alipoota eno enkya ya leero, ategeezezza nti wadde nga gavumenti yalowooza bulungi okuteekawo enkola […]
Obulabirizi bwé Mukono bufunye Omulabirizi omuggya
Bya Prossy Kisakye, Rev. Canon Enos Kitto Kagodo alondeddwa okubeera Omulabirizi ow’okutaano mu bulabirizi bw’e Mukono ng’adda mu bigere by’Omulabirizi James William Ssebagala. Ekanisa ya Uganda yakakasa okuwummula kwa Ssebagala mu March, omwaka oguwedde, oluvannyuma lw’okuweza emyaka 65 egy’ekiragiro kye kanisa abaweereza kwebalina okuwummulira. Okusinziira […]
Polisi esabiddwa okuyingira munsonga zókutulugunya abalwadde e Butabika
Bya Mike Sebalu, Omukago gw’abalwanirizi b’ebyobulamu bw’obwongo gusabye poliisi mu bbanga lya myezi 2 okunoonyereza n’okukola alipoota ku kutyoboola eddembe ly’obuntu ku bantu abaliko obulemu ku bwongo ebigenda mu maaso munda mu ddwaaliro e Butabika. Kino kiddiridde amawulire okulaga nti abateberezebwa okuba abalina obuzibu ku […]
Abasuubuzi basabye gavt okulongoosa obuweereza kunsalo e Malaba
Bya Tom Angulin Abasuubuzi abasuubula eby’amaguzi emitala w’amayanja nga babiyisa ku mwala e Mombasa basabye gavumenti okulongoosa obuweereza ku nsalo eby’amaguzi webiyingilira e Malaba ne Busia okwewala okukeerewa kw’eby’amaguzi mu bifo ebyo. Wetwogerera nga oluseregende lwa motoka lutuuka mu buwanvu bwa kilo miter nga 30 […]
Embalirira ya 1.400m eyákakiiko akakola kunsonga za EAC egobeddwa
Bya Rita Kemigisa, Akakiiko ka Parliament akakola ku nsonga z’embalirira kagaanye embalirira y’akawumbi akamu n’obukadde 400 obubadde bwasabiddwa akakiiko ka Parliament ya East Africa nga zigenda kukozesebwa kumanyisa bantu ku bikolebwa Ministry ekola ku nsonga za East Africa mu mwaka ogw’eby’ensimbi 2023/24. Mu nsisinkano bano […]
Okuwulira omusango gwa Besigye ne Mukaaku gw’ongezedwayo
Bya Ruth Anderah, Omusango gw’okukuma mu bantu omuliro oguvunanibwa eyali president wa FDC Dr Kiiza Besigye wamu ne munywanyi we Lubega mukaaku ogubadde ogw’okuddamu okuwulirwa enkya ya leero tegugenze mu maaso nga bwekyabade kisuubirwa. Kidiiridde abantu abali mu musango guno okuba nga tebasobodde kubeerawo ate […]
Sipiika akangudde eddoboozi ku bisiyaga mu masomero
Bya Rita Kemigisa, Sipiika wa palamenti Anita Among alagidde akakiiko k’ebyenjigiriza okunoonyereza ku bikolwa by’ebisiyaga mu masomero era baveeyo ne alipoota mu palmenti. Kino kiddiridde omubaka wa Kazo county, Dan Kimosho okutegeeza ababaka ku mawulire agafulumira ku mikutu gya yintaneeti agakwata ku bantu ssekinnoomu n’abasomesa […]
Poliisi yetaaga obuwumbi 121 okukuuma omuddumu gwámafuta ogwa EA
Bya Prossy Kisakye, Poliisi ya Uganda enoonya obuwumbi bwa Shs121 okukuuma payipu y’omuddumu gwámafuta ezimbibwa okuva e Hoima okutuuka e Mutukula. Bino byogeddwa Aggrey Wunyi, amyuka omuwandiisi mu kitongole kya Uganda Police mu lukiiko olutudde wakati w’abakungu ba Poliisi ab’oku ntikko n’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa […]
Lukwago ayagala amalwaliro ga Health center 111 gagibwe mu Kampala
Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ayagala amalwaliro agali ku omutendera gwa health centre III gajjibwewo naddala mu kibuga Kampala, agatandikirwako gabe ga Health center 1V. Lukwago agamba nti olw’okuba amalwaliro ago tegalina musawo mukugu asobola kukola ku ndwadde ziluma banna kibuga, talaba nsonga lwaki […]
UNEB ewabudde abazadde okukubiriza abayizi okufuna NIN namba
Bya Damali Mukhaye, Ekitongole ekivunanyiizbwa ku bigezo mu gwanga ekya uneb kiwadde bazadde b’abaana abali mu siniro ey’okusatu n’okudda wansi okufuba okuwandiisa abaana babwe okufuna enamba elabikira ku ndaga muntu ye emanyiddwa nga NIN number okwewala okutataganyizibwa ng’ekiseera ekikola ebigezo ebisemba ebya siniya ey’okuna nga […]