Amawulire
Minisita Namuganza agibwamu obwesige Palamenti
Bya Rita Kemigisa, Ababaka ba Palamenti bayisizza ekiteeso ekigyamu obwesige minisita omubeezi ow’ettaka amayumba n’ekukulaakulanya y’ebibuga Persis Namuganza. Ababaka 356 bawagidde akiteeso kino ate abalala bataano bakiwakanyiza ate abasatu tebalaze webagwa. Omumyuka wa sipiika abadde akubiriza olukiiko luno akawungeezi ka leero, Thomas Tayebwa, agamba nti […]
Omubaka Ssewanyana ali mumbeera mbi mu ddwaliro e Mulago
Bya Rita Kemigisa, Omubaka wa Makindye West mu lukiiko lweggwanga olukulu, Allan Ssewanyana mulwadde muyi era aweereddwa ekitanda mu ddwaaliro lya gavumenti e Mulago. Bino bikakasiddwa omubaka wa Nakawa West mu palamenti, era nga ye mwogezi w’ekibiina kya NUP Joel Ssenyonyi. Bwabadde ayogerako ne Dembe […]
Muntu asabye Wangadya yewale eby’obufuzi mu mirimu gy’akakiiko
Bya Prossy Kisakye, Pulezidenti w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Alliance for National Transformation-ANT, Rtd Major Gen Mugisha Muntu alabudde ssentebe w’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu mu Uganda obutabeera na kibiina kya byabufuzi ky’awagira ng’ali ku mulimu gwe. Kino kiddiridde akulira akakiiko kano, Mariam Wangadya, ng’ayita mu lukung’aana […]
Amadduka g’eddagala 260 gaggaddwa mu Kikwekweto
Bya Mike Sebalu, Ekitongole ekivunanyizibwa ku dagala ekya National Drug Authority kigadde ebifo awatundibwa edaggala nga tebiri mu mateeka ebiweze 260 mu kitundu ky’omumabuka g’eggwanga mu kikwekweto ekikulungudde ennaku 7 nga kiyinda mu bitundu ebyo. Ebifo bino babisanze nga n’abamu kubabikola tebalina butendeke era nga […]
Lukwago awera siwakuva ku ky’okulondoola ensimbi bwezikwatibwamu mu KCCA
Bya Prossy Kisakye, Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, agamba nti agenda kunywerera ku kusaba embalirira kunsimbi zonna eziweebwa ekitongole kya KCCA okukola emirimu yadde nga si kyangu. Ategeeza Dembe FM nti wadde nga waliwo okugezaako okumuziyiza, tagenda kukoma okutuusa nga waliwo obwerufu eri ssente […]
Museveni wakutongoza ekifo ekigenda okusimwamu Amafuta
Bya Rita Kemigisa, Minister wa’amafuta n’obugagga obw’ensibo Ruth Nankabirwa akakasizza nga President Museveni bwagenda okutongoza ekifo ekimu ku bifo ebigenda okusimwamu amafuta ekya Kingfisher n’ekigendererwa eky’ekifo kino okutandika okusima okuva mu ttaka. Omukolo guno gwakubeerawo nga 24 January 2023. Ng’ayogerako eri bannamawulire ku kisawe ky’amafuta […]
Omulabirizi w’eMukono omugya Kagodo alaze by’atandikirako
Bya Kiguli Diphas, Omulabirizzi we Mukono omulonde Rev. Can. Enos Kagodo Kitto asabye abakristaayo mu bulabirizzi buno okuyimirira naye mu nsonga ezisinga okusomooza ekkanisa naddala ekiseera kino ng’ekibba ttaka kiwanise amatanga. Kagodo agamba nti omulabirizzi agenda okuwumula Rt. Rev. James William Ssebaggala amaze ebanga ddene […]
Aba UHRC bafulumiza alipoota ku bawagizi ba NUP 25 ababuzibwawo
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission olwaleero kafulumizza byebazuudde ku bantu 25 abawagizi bekibiina kye byobufuzi ekya nup abagambibwa okuwambibwa abakuuma ddembe. Bano baakwatibwa ne baggalirwa mu kulonda nóluvanyuma lwokulonda kwa bonna okwa 2021. Bwabadde ayogerako ne bannamawulire […]
Minisita Katumba alagidde aba Tulafiki bongera okumyumyuula mu mateeka
Bya Mike Sebalu, Minisita w’eby’entambula Edward Katumba Wamala alagidde abasirikale b’ebidduka ku makubo okwongera okubeera abakambwe nga bakwasisa amateeka g’okumakubo awatali kuttira muntu yenna ku liiso. Minister agamba nti omuwendo gw’abantu 250 abafiiridde mu biseera by’ebikujjuko gwayitiridde nga kyetaagisa okugangula ku doboozi. Agamba nti neby’okwekwasa […]
Aba UPC bawagidde okusazibwamu kwa kontulakita ya ba-china mu kuzimba SGR
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ky’eby’obufuzi ki Uganda People’s Congress kiwagidde okusalawo kwa President Museveni, bweyasazizzaamu endagaano eyali yakolebwa ne Kampuni y’aba China ey’okuzimba oluguudo lwe’ggaali y’omukka. Endagaanao eno ebadde yakumalawo obuwumbi bwa Uganda 2 n’obukadde 200. Sabiiti ewedde, emikutu gy’amawulire gyategeeza nti Gavumenti yali esazizzaamu […]