Amawulire
Okuwulira omusango gwábavunanibwa obutujju kudamu leero
Bya Ruth Anderah, Abavubuka bana abagambibwa nti beetaba mu kulumba konvooyi y’omulamuzi omukulu Flavian Zeija, okutta abaserikale ba poliisi basatu ku poliisi y’e Busiika, okutta abantu baabulijjo abawerako n’okunyaga emmundu basuubirwa okweyanjula mu Kkooti enkya ya leero. Abana bano basuubira okulabikako mu maaso g’omulamuzi wa […]
Ettendekero lyé Makerere lyetaaga obuwumbi 105 okudabiriza ebizimbe
Bya Prossy Kisakye, Yunivasite y’e Makerere enoonya ssente obuwumbi 105 okuddaabiriza ebizimbe ebisuulwamu n’okussaamu ebikozesebwa mu laboratory za sayansi. Bino biri mu lupapula lw’embalirira y’eggwanga eyómwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 eyayanjuddwa mu akakiiko ka palamenti akakola ku byémbalirira. Bwabadde ayanjula embalirira yabwe mu kakiiko Ignatius Mudimi (Elgon […]
Gavt esabiddwa okwongera kunsimbi zésindika mu masomero ga bonna basome
Bya Damali Mukhaye, Ssentebe w’akakiiko akakola ku bigezo mu gwanga aka UNEB, Prof Mary Okwakol, agamba nti ebigezo bino byakolebwa wansi w’okwerinda okusaanidde nga n’ebikolwa eby’okubbira ebigezo byakendeera. Okuzinziira ku Prof Okwakol, abo bonna abagezaako okubba ebigezo baakwatibwa ne baggulwako emisango ate balala ne bayimbulwa […]
Omusajja owémyaka 35 afiiridde mu Kirombe
Bya Abubaker Kirunda, Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo Butebyi mugombolola yé Mutumba mu disitulikiti y’e Namayingo, omusajja ow’emyaka 35 bwafiiridde mu kirombe kya zaabu. Omugenzi ategerekese nga Justus Kanyankole omutuuze mu disitulikiti y’e Mubende. Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Ibra Deo agambye nti Kanyankole […]
Abasibe mukomera e Luzira bayise ebigezo
Bya Damali Mukhaye, Ate eri abayizi abaatuula ebigezo byabwe nga basinzira mukomera e Luzira, bano nabo bakoze bulungi ddala bwogerageranya nabémyaka egyayita. Okuzinziira ku akulira UNEB Daniel Odong omugatte gw’abayizi 68 bebeewandiisa okutuula ebigezo mu komera e Luzira. Ku bano 63 batuula nga 5 bayitidde […]
Ebigezo byábayizi abaatuula ekibiina ekyo 7 bifulumya, Bakoze bulungi
Bya Damali Mukhaye, Abayizi abaatuula ebigezo by’omwaka oguwedde eby’ekibiina eky’omusanvu bakoze bulungi ko okusinga ab’omwaka oguwedde. Akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga,ekya UNEB, Daniel Odong, ategeezezza nti omugatte gw’abayizi emitwalo 81 mu 1810 bebatuula ku mugatte gw’emitwalo 83 mu 2, 654 abewandiisa okukola ebigezo. […]
Museveni alabudde ku busosoze mu mawanga
Bya Rita Kemigisa, PULEZIDENTI Museveni aweerezza okulabula okw’amaanyi eri Bannayuganda n’abakulembeze ku kusosola mu mawanga. Ng’akulembeddemu ebikujjuko by’olunaku lwammenunula mu disitulikiti y’e Kakumiro akawungeezi ka leero, pulezidenti agambye nti ekibiina kya NRM kibadde kiwangula akalulu kubanga tekikolagana na byabufuzi ebyawulayawula, obusosoze mu mawanga ne ddiini. […]
Abalimi bémmwanyi bekokkodde embeeyi ey’awansi mu Katale
Bya Abubaker Kirunda, Abalimi bemmwannyi mu disitulikiti y’e Mayuge basabye gavumenti eyingire mu nsonga z’ebbeeyi yémmwanyi eyongedde okuggwa ku katale. Abalimi bagamba nti kkiro y’emmwanyi ezirongosebwamu kati egula Shs4500 okuva ku Shs6000. Abalimi bano nga bayita mu ssentebe wabwe mu bitundu by’e Baitambogwe, Tomusange Musobya […]
Abavubi 2 babbidde mu nyanja
Bya Malik Fahad, Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo lambu mugombolola yé bukakata mu disitulikiti y’e Masaka oluvannyuma lw’abavubi babiri eryato kwe babadde batambulira okubbira ne bafa Omu ku bafudde ye derrick Yiga nga mutuuze ku kyalo lambu ate omulala tanategerekeka bimukwatako. William Waswa omu ku […]
RDC alabudde abakulu b’amasomero obutaggula nga tebalina bisanyizo
Bya Abubaker Kirunda, Omubaka wa gavumenti atuula mu disitulikiti y’e Jinja Richard Gulume, asabye abaddukanya amasomero g’obwannannyini okutuukiriza ebisaanyizo byonna ebyetaagisa nga tebannaggulawo lusoma lwa ttaamu esooka omwezi ogujja. Ono agamba nti yeetegereza nti amasomero mangi tegalina bisaanyizo ebyetaagisa minisitule y’ebyenjigiriza era nga gaakolera mu […]