Amawulire
Ebigezo bya siniya eyókuna bikomyewo, abayizi bakoze bulungi
Bya Damali Mukhaye, Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu gwanga ki UNEB kitegeezeza ng’omuwendo gw’abayizi abagwa ebigezo ku mutendera gwa siniya ey’okuna bwegukendedde oluvanyuma lw’abo abayise omwaka oguwedde okusinga kw’abo abomwaka gwa 2020. Daniel Odongo, ssabawandiisi wa UNEB ategeezezza nga omugatte gw’abayizi emitwalo 34 mu 5, […]
Abalwanirizi béddembe bogedde ku kya Gavt okugoba Ekitongole kya UN
Bya Rita Kemigisa, Abalwanirira eddembe ly’obuntu bagamba nti gavumenti yawubisiddwa okukomekereza emirimu egibadde gikolebwa ekitongole kyékibiina kyámawanga amagatte ekikola kukulwanirira eddembe lyóbuntu,ekya United Nations High Commissioner for Human Rights Yyo Gavumenti egamba nti eggwanga lino lirina ebitongole byalyo ebimala okulondoola eddembe lyobuntu nga ekya Uganda […]
bannauganda basabiddwa okuyambako Gavt mu kawefube wókulwanyisa omuzze ogwókukkomola abakyala
Bya Prossy Kisakye, Minisitule eyekikula kyábantu ekubiriza abakwatibwako ensonga okuwagira kaweefube wa gavumenti okumalawo omuzze gwókukekejula abakyala mu mbugo. Omulanga guno gujjidde mu kiseera nga Uganda olwaleero yeegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ensi yonna olw’okulwanyisa omuzze gwókukomola abakyala mu bifo ebyekyama. Olunaku lutambula wansi […]
Aba DP basabye Gavt eyanguyirizeeko okuyisa ensengeka yébisale byámasomero
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Democratic Party kisabye gavumenti okwanguyirwa okuyisa enkola y’okulungamya ku bisaale byámasomero kitaase abazadde ku musimbi omungi ogubagerekerwa. Gavumenti yassaawo enkola y’okulungamya ebisale by’amasomero, eno ekyalowoozebwako olukiiko lwa baminisita oluvannyuma lw’okukaaba kw’abantu olw’ebisale by’amasomero ebipaarusibwa buli taamu. Okusinziira ku nkola […]
Aba NUP bakuwagira kandidenti wa ANT mu kulonda kwe Serere
Bya Rita Kemigisa, Ekibiina kyébyóbufuzi ekya National Unity Platform (NUP) kikkirizza okuwagira kandidenti w’ekibiina kya Alliance for National Transformation, ekikulemberwa Maj. Gen. Mugisha Muntu, Alice Alaso mu kuddamu okulonda omubaka wa palamenti akikirira abé Serere County. Bino bikakasiddwa omwogezi w’ekibiina kya NUP, Joel Ssenyonyi ne […]
Poliisi erabudde abazadde ku Bafere
Bya Mike Sebalu, Poliisi elabudde abakulembeze b’amasomero ku bufere obw’okukusa abaana obubaluseewo okwetoloola ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo. Olunaku lwa ggyo, amasomero gazzeemu mu butongole okusoma okwetoloola wonna wabula nga abazadde emitima gibali ku mutwe olw’ebikorwa eby’obusiwuufu bw’empisa ebiteeka obulamu bw’abaana mu matigga. Wabula ayogerera Poliisi mu […]
Abazadde abatayanguwe kuzza baana kumasomero bakwatibwa
Bya Abubaker Kirunda, Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Buyende, Dison Bwire asabye abaami b’amasaza okutambula mu byalo bakwate abazadde abasangiddwa nga bakuumira abaana babwe awaka ng’olusoma olusooka olwa taamu eno lutandise. Agamba nti alagidde bassentebe b’amagombolola okukwatagana ne bassentebe b’ebyalo bamuyambeko okukwata abazadde abatafudeeyo ku […]
Eggye lya UPDF lisiimiddwa olwénneyisa ennungi
Bya Rita Kemigisa, Minisita avunaanyizibwa ku bya technologia, n’okulungamya eggwanga, Dr Chris Baryomunsi asiimye eggye lya UPDF olw’okukula kwerituuseko nga ne munneyisa beeyisa mu ngeri ey’ekikugu bw’ogeraageranya n’amagye ga gavumenti ez’asooka. Okwogera bino sinzidde ku kisaawe e Kakyeka mu bikujjuko bya maggye ebya Tarehe Sita […]
Abakulu b’amasomero basabiddwa ku by’ensoma y’abaana
Bya Ndaye Moses ne Prossy Kisakye, Minisitule y’ebyenjigiriza esabye abakulira amasomero okufunira abayizi embeera ennungi mu kuggulawo olusoma lwa ttaamu empya etandika ku Mmande ya wiiki ejja. Minisita ow’ebyenjigiriza ebya waggulu John Chrysostom Muyingo agamba nti agamu ku masomero galemereddwa okumalawo empisa y’okutulugunya abayizi abapya, […]
Abaana 2 bafiiridde mu Muliro e Bukomansimbi
Bya Malik Fahad, Poliisi e bukomansimbi etandise okunoonyereza ku nfa y’abaana babiri abasirikidde mu nnabambula w’omuliro mu nnyumba. Bino bigudde mu katawuni ke Butenga mu disitulikiti y’e Bukomansimbi omuliro bwe gwakutte ennyumba ne gutta abaana babiri n’okusaanyaawo ebintu. abagenzi bategerekese nga Phiona ow’emyaka 3 n’omulenzi […]