Amawulire

Omuyimbi Chameleon akyaliddeko Katikkiro Mayiga

Omuyimbi Chameleon akyaliddeko Katikkiro Mayiga

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omuyimbi owélinnya Joseph Mayanja aka Chameleon, leero akyaddeko e Mbuga mu nsisinkano ne Kamala byonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga. Katikkiro wano wasinzidde nakubiriza abayimbi obutenyooma kuba bakola omulimo munene okubudabuda nókuwummuza abantu okuyita munyimba zabwe. Abasabye bakitwale nti okuyimba nagwo mulimo […]

Abavuganya baganye okukkiriza alipoota ya Gavt ku kiwamba bantu

Abavuganya baganye okukkiriza alipoota ya Gavt ku kiwamba bantu

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa ne Prossy Kisakye, Ab’oludda oluvuganya gavumenti bagaanye ekiwandiiko kya gavumenti ekyanjuddwa Ssaabaminisita Robina Nabbanja ku bikolwa eby’okuwambibwa n’okubula kw’abantu ebitaggwaawo mu ggwanga. Mu nsisinkano gyeyali wakati wa baminisita n’oludda oluvuganya wiiki eno, Nabbanja yategeeza nga gavumenti bwerina abantu bataano bokka kwabo 25 […]

Ssaabalamuzi avudemu omwasi ku musango gwábabaka abali ku Alimanda

Ssaabalamuzi avudemu omwasi ku musango gwábabaka abali ku Alimanda

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo, ategeezeza Gavumenti nti ekitongole ekiramuzi kyetegefu okuwulira omusango gw’ababaka ababiri abali  mu kkomera muobutasuka myezi ena awatali kwekwasa nsonga yonna. Omubaka wa Kawempe north, Mohamad Ssegirinya ne munne makindye west ne Allan Sewanyana bamaze omwaka mulamba kati ku […]

Palamenti esindikibwa mu Luwummula enonyereza kunsimbi za PDM

Palamenti esindikibwa mu Luwummula enonyereza kunsimbi za PDM

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Sipiika wa palamenti Anita Among asindise ababaka ba palamenti mu luwummula lwa wiiki bbiri okwekenneenya enkola y’ensimbi za Parish Development Model-PDM. Kino kiddiridde gavumenti okusaasaanya akatabalika kamu nobuwumbi 49 mu nteekateeka eno ey’okuyamba emiruka 1594 okwetoloola eggwanga mu kaweefube wa gavumenti okukendeeza […]

Gavt yakuzaawo ekitongole ekitambuza eby’amaguzi mu Nnyonyo

Gavt yakuzaawo ekitongole ekitambuza eby’amaguzi mu Nnyonyo

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye, Gavumenti erimuntekateeka ezókuzaawo ekitongole ekikola kukutambuza emigugu okuyita mu nyonyi ekya Uganda Air Cargo Corporation Company. Kino kiddiridde kabineti okukkiriza bammemba bakyo abapya ku lukiiko olufuzi. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku media centre, minisita wa ICT n’okulungamya eggwanga, Godfrey Kabyanga agamba nti […]

Minisita atangaziza ku buwumbi bwénsimbi 6 zeyasaba NSSF

Minisita atangaziza ku buwumbi bwénsimbi 6 zeyasaba NSSF

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa, Minister akola ku nsonga z’abakozi n’okusitula embeera zabwe Betty Amongi avuddeyo natangaaza ku buwumbi bw’ensimbi 6 bwagambibwa okusaba okuva eri ekittavvu ky’abakozi. Ensimbi zino kigambibwa nti akakiiko ka NSSF kagaana okuziyisa nga tebafunye kumatira ku mirimu ki egyaali gigenda okusasanyizibwako ensimbi ezo. […]

Omuvuzi wa Booda attiddwa mu bukambwe e Mpigi

Omuvuzi wa Booda attiddwa mu bukambwe e Mpigi

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu, Abatuuze ku kyalo kyeyitabaya mu ggombolola ye kirigente mu disitulikiti ye Mpigi bagudemu ekyekango oluvannyuma lwómutuuze munaabwe omuvuzi wa boda okusangibwa nga attiddwa nasuulibwa ku kkubo bodabodaye netwalibwa. Kiteberezebwa nti Kasaka Charles okutemulwa, abatemu bamukubidde ssimu nga beefudde abasabaze nga ali waka […]

Ekitundu kyámasekati kyékisingamu abalwadde ba Kookolo mu Uganda

Ekitundu kyámasekati kyékisingamu abalwadde ba Kookolo mu Uganda

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye, Ekitundu eky’omu masekkati géggwanga kinokodwayo okuba ekitundu ekisingamu abalwadde abatawanyizibwa endwadde ezeekuusa ku kookolo bw’ogeraageranya n’ebitundu ebirala. Akulira ekitongole kya Uganda Cancer Institute Dr. Jackson Orem agamba nti ekitundu ekyamasekati kigobererwa ekitundu ky’obukiikakkono n’eky’amaserengeta. Agamba nti ekitundu ky’amasekkati kye kisinga okubeera n’abalwadde […]

Abakikirira abakozi bagala KKampuni eggwiira enonyereze ku mivuyo egiri mu NSSF

Abakikirira abakozi bagala KKampuni eggwiira enonyereze ku mivuyo egiri mu NSSF

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa, Abakiikirira abakozi basabye palamenti okufuna kkampuni y’ensi yonna emanyiddwa ennyo mu kubala okunonyereza kungeri ekitongole kya National Social Security Fund (NSSF) gyekikwatamu ensimbi. Ababaka ba Palamenti okuli; Arinaitwe Rwakajara, Agnes Kunihira, Margaret Rwabushaija ne Abdul Byakatonda ekiteeso kino bakikoze nga balabiseeko mu […]

Amyuka Sipiika simusanyufu kungeri abayizi abaliko obulemu gyebakolamu

Amyuka Sipiika simusanyufu kungeri abayizi abaliko obulemu gyebakolamu

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omumyuka wa sipiika wa palamenti, Thomas Tayebwa asabye minisitule y’ebyenjigiriza okunnyonnyola ensonga lwaki abayizi abalina obuzibu bw’okulaba tebaakola bulungi mu bigezo bya PLE ebyafulumizibbwa gyebuvuddeko. Mu lutuula lwa leero, Tayebwa ategeezeza ne bikozesebwa okulaba nti abayizi bano bakola bulungi tebabifuna. Abaliko obulemu […]