Amawulire
Abantu 77 baferebwako obukadde bwénsimbi 11 e Jinja
Bya Abubaker Kirunda, Abantu 77 e Jinja bakaaba twawa nga ntulege oluvanyuma lw’okusasula sente okufuna emirimu gy’empewo. Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Kiira, James Mubi agambye nti abaakosebwa bebatute okwemulugunya kwabwe ku poliisi. Anyonyodde nti abaakosebwa buli omu yali yasasula Shs150,000 nga ssente z’okwewandiisa […]
Minisita asabye abakulembeze okulwanyisa obufumbo bwa bato
Bya Prossy Kisakye, Minisita ow’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulakulana y’embeera z’abantu, Betty Amongi asabye abakulembeze b’ebyobuwangwa n’eddiini okwongera okwenyigira mu kaweefube w’okumalawo obufumbo bw’abaana abato n’embuto zebafuna nga tebanetuuka. Minisita ategeezezza nti obubi obuli mu kufumbiza abaana n’okubafunyisa embuto byongera okusajjuka wakati mu kwerimbika mu kawefube […]
Ababaka bagala baminisita bé Karamoja balekulire ebifo byabwe
Bya Prossy Kisakye, Ababaka ba palamenti abava mu bitundu bye Karamoja baagala baminisita bombi avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja balekulire nga babalumiriza okukwata bubi ebintu ebyali ebigendereddwamu okuganyula abantu b’e Karamoja abaakosebwa okuggyibwako emmundu. Bwabadde boogera eri bannamawulire ku palamenti, ababaka bano nga bakulembeddwaamu ssentebe […]
Bannaddiini basabye abaana bakuumibwe okuva ku bisiyaga
Bya Rita Kemigisa, Ekibiina pmwegatira enzikkiriza mu ggwanga ki IRCU, kisabye wabeewo obukuumi eri abaana n’amaka wakati mu kweyongera kwómuzze gwóbuli bwebisiyaga mu ggwanga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire enkya ya leero, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Anglican, Stephen Kaziimba Mugalu alaze obweraliikirivu nti bangi ku bavubuka basendasendebwa […]
Amaggye gegaanye ebyókutulugunya omuwagizi wa NUP
Bya Rita Kemigisa, Aggye lye ggwanga erya UPDF lisambazze ebigambibwa nti lyawamba n’okutulugunya omuwagizi w’oludda oluvuganya gavumenti. Kino kiddiridde ebifaananyi okuvaayo nga biraga omusajja alina obubonero obuteeberezebwa okuba nga yatulugunyizibwa mu kifubakye. Ebifaananyi bino byasoose kufulumizibwa mukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi […]
Gavt esabbiddwa okukyusa okusalawo kwayo ku balwanirizi béddembe
Bya Juliet Nalwoga, Ekibiina kya Human Rights Watch kisabye gavt ya Uganda okukyusa okusalawo kwayo ku kyókugoba ekitongole kye kibiina kya mawanga amagatte ekirwanirira eddembe lyobuntu mu ggwanga lino. Ngennaku zómwezi 6th February 2023, Minisitule ya Uganda ey’ensonga z’ebweru yategeeza ofiisi yékitongole kino mu Uganda […]
Ssaabawolereza wa Gavt ayagala ebbago ery’obuyambi mu by’amateeka lisuulibwe mu Kaseero
Bya Prossy Kisakye, Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ayagala ebbago ly’etteeka ery’obuyambi mu by’amateeka erya National Legal Aid Bill, 2022, liggyibwewo ng’alaga nti liyinza okukosa gavumenti mu by’ensimbi. Bino abyogedde ng’ali mu maaso g’akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka enkya ya leero, n’agambye nti gavumenti yakukozesa ensimbi […]
Abasibe 6 batolose mu Kaddukulu e Bunyangabu
Bya Juliet Nalwooga, Poliisi mu disitulikiti y’e Bunyangabu eri mu kuyigga abasajja mukaaga abateeberezebwa okudduka mu kaduukulu ka poliisi. Vincent Twesigye, omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Rwenzori agamba nti abakwate baatolose mu kaduukulu k’abakazi ku poliisi enkulu e Bunyangabu gye babadde batwaliddwa okumala akaseera […]
Abantu 10 bavunanibwa lwa Nvuba mbi
Bya Ruth Anderah, Waliwo abantu 10 abasimbiddwa mu kooti nebavunaanibwa emisango egyekuusa ku nvuba embi. Abavubi bano nga bakulembeddamu Ronald Odur basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Sanula Namboozo , kyoka emisango gyonna ne bagyegaana Obujulizi obuleeteddwa bulaga nti mu February 1st 2023 ku Nyanja Kyoga e […]
Aba NEED bawabudde gavt kungereka yébisale byámasomero
Bya Prossy Kisakye, Abavuganya gavumenti okuva mu kibiina ki National Economic Empowerment Dialogue balabudde gavumenti okwewalira ddala okulowooza ku byokulagira amasomero ebisale bye balina okusasuza abayizi. Kinajjukirwa nti mu kaweefube w’okukoma ku masomero ageefudde amasuubuzi gavumenti yali eteesa nti ebisale byebasasuza abayizi ebiteeko ekkomo, kitaase […]