Amawulire
Abayizi ku ddaala lya A-level bakusomera emyaka 5
Bya Damali Mukhaye, Abayizi okwetoloola eggwanga abagenda ku mutendera gwa A-level bakusomera ebbanaga lya myaka 5 singa kaliculamu empya erimu bubage gavumenti egiyisa. Mu kusooka abayizi babadde basoma A’level nga ye siniya eyokutaano ne yomukaaga okumala ebbanga lya myaka 2 noluvanyuma ne bagenda ku university. […]
Ssaabalabirizi Kaziimba asabye wabeewo okukyusa endowooza eri abakaramoja
Bya Prossy Kisakye, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Rev Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu asabye wabeewo pulogulaamu ezigendereddwamu okuleeta enkyukakyuka mu ndowooza zábantu mu kitundu ky’e Karamoja. Ssaabalabirizi abadde mu kitundu kino okujjukira olunaku lwa Janani Luwum, wiiki eno, yalambudde ebifo ebiwerako n’akizuula nti abantu b’e […]
Okugema Poliyo mu Kampala kutandise
Bya Moses Ndaye, Omulimo gwókugema abaana endwadde eya polio mugombolola 5 eza kampala kutandise leero Okusinziira ku minisitule y’ebyobulamu abaana nga abasoba mu mitwalo 35 mu 6000 bebasuubira okugema abali wansi wemyaka 5. Wabula minisitule y’ebyobulamu erabudde abantu abatagoberera mateeka abagaana abaana mu bugenderevu okugemebwa. […]
Kkooti eyimiriza okulonda kwábannamawulire
Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu mu Kampala efulumizza ekiragiro eky’ekiseera ekiremesa ekibiina omwegatira bannamawulire mu ggwanga ki Uganda Journalists Association okutegeka okulonda abakulembeze abagya okubadde kulina okubaawo nga February 25th 2023. Ekiragiro kino kifulumiziddwa omulamuzi wa kkooti enkulu, Musa Ssekaana enkya ya leero. Okusinzira ku […]
Muyingo alabudde abayizi ku Bisiyaga mu masomero
Bya Prossy Kisakye, Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebyawagulu, Dr John Chrysostom Muyingo alabudde abayizi okwewalira ddala okwetaba mu mukwano ogw’abantu abeekikula ekimu. Muyingo agamba nti abali emabega w’okuleeta omuzze gwóbuli bwebisiyaga amaaso gaabwe gatunulidde nyo abaana bamasomero. Ono okwogera bino abadde asisinkanye abayizi abasoba mu 150 […]
Omulabirizi Ssebagala yekkokkodde abavubuka abatagala kola
Bya Kiguli Diphas, Omulabirizzi we Mukono, James William Ssebaggala yekokodde abavubuuka abongedde okufuuka ba ssemugayavvu ensangi zino nga bangi tebakyagala kukakalukana wabula banyumirwa nnyo okuleera engaalo. SSebaggala okwogera bino abadde ku kitebe kye ssaaza Kyaggwe wali mu Ggulu e Mukono, bwabadde agenze okusibuula mu butongole […]
Abazadde abamu ku matikkira gábayizi e Makerere batudde ku ttaka
Bya Damali Mukhaye, Abakulira yunivasite y’e Makerere bannyonnyodde akavuyo akabadewo kumukolo gw’okutikkirwa gaabwe age 73, ekyawalirizza abazadde okulaba ng’abaana baabwe nga batikkirwa naye nga bbo tebalina wakutuula okugyako okutuula ku ttaka. Olunaku lw’eggulo abayizi kigambibwa nti baleese abagenyi abasuka mu babiri ababalagibwa ekyaviriddeko abazadde abamu […]
Museveni atendereza Bannaddiini okuvaayo ne bagaana Ebisiyaga
Bya Juliet Nalwooga, Pulezidenti Museveni ayozaayozezza bannaddiini ne Bannayuganda okutwaliza awamu olw’okugaana era mu ddoboozi limu ne bagamba nti kikafuuwe okukkiriza ebisiyaga mu Uganda. Bwabadde ku mukolo gw’okujjukira omugenzi eyaliko Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Janani Luwum e Mucwini mu disitulikiti y’e Kitgum, pulezidenti agambye nti […]
Ggoobi asabye ekirongole ekiwooza kyómusolo mu kuwandiisa bizinensi
Bya Prossy Kisakye, Omuwandiisi w’enkalakalira mu Minisitule y’ebyensimbi n’okutekeratekera eggwanga Ramathan Ggoobi asabye ekitongole ekivunanyizibwa okukuganya Omusolo gwe eggwanga ki Uganda Revenue Authority okusikiriza abantu bonna abali mubu Business obutonotono buwandikibwe nabo batandike okuwa omusolo, bw’eba nga gavumenti yakugenda mumaso nokugonjoola ebyetaago by’eggwanga. Bino Ggoobi […]
Gavt essomozebbwa okukulakulanya ekifo Janani Luwum weyaziikibwa
Bya Rita Kemigisa, Gavumenti esoomoozeddwa okukulaakulanya ekifo kya Wii Gweng, munnaddiini Janani Luwum weyagalamizibwa mu gomobolola ye Mucwini mu Kitgum District okufuuka ekifo ekisaanira era eky’ekitiibwa eky’ekijjukizo n’okulamaga. Omulanga guno gukubiddwa, eyaliko senkagale wa UPC, ambasada Olara Otunnu nga ye ssentebe w’akakiiko akategesi kólunaku olwokujjukira […]