Bya Juliet Nalwooga,
Poliisi egamba nti etaddewo enkola eziwerako okutangira abantu okwesogga Uganda n’obulumbaganyi bwonna obuyinza okubaawo ku nsalo e Mpondwe eyawula Uganda ne DRC.
Kino kiddiridde obulumbaganyi obwekitujju obwabadewo olunaku lweggulo mu buvanjuba bwa congo ku kkanisa ya balokole e Lhubirira, esangibwa mu kiromita nga 4 okuva nsalo y’e Mpondwe, abantu 10 bebafudde n’abalala 47 ne…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti egobye okusaba okwawaabiddwa omulamuzi wa kkooti ensukkulumu eyawummula Pulofeesa George Kanyeihamba nga baagala okulemesa pulezidenti Museveni okukola sitatimenti ezitiisa abantu abagala okufuna okweyimirirwa mu kkooti.
Abalamuzi ba kkooti ya Ssemateeka bataano okuli Fredrick Egonda-Ntende, Elizabeth Musoke, Christopher Madrama, Monica Mugenyi ne Christopher Gashirabake basazeewo awatali kweyawulamu okugoba okusaba kwa Prof. Kanyeihamba.
Kkooti esazeewo nti…
Bya Prossy Kisakye,
Ekitongole kya Gavumenti ekilondoola emirimu ekya IGG kitandise okunoonyereza ku nsimbi ezigambibwa okukozesebwa obubi eziwera shs4bn ezaali ezokulwanyisa ekirwadde kya covid-19 ezaweebwa ekitongole ekiddukanya e kibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority.
Kino kiddiridde Kansala mu lukiiko lwa KCCA owa Rubaga 111, James Mubiri, okusaba Kaliisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya anonyereze kungeri ensimbi zino…
Bya Mike Sebalu,
Office y’omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga ng’eri wamu ne Officie ya Nampala wa Gavumenti ziduukiridde ekibiina ekigatta abaaliko ababaka mu Parliament y’omwenda n’obukadde bwezakuno 35 zibayambeko okwekulakulanya.
Ekibiina ekino kikulemberwa eyali Omubaka wa Tororo Municipality u Parliament Sanjay Tanna ng’amyukibwa eyali owa Bubuulo East Simon Mulongo.
Kyatondebwawo oluvanyuma lw’ababaka okukitegeera nga bwebaatalina nvujjilira ndala yonna kavuna bawanduka…
Bya Rita Kemigisa,
Akulira oludda oluwabua Gavumenti mu Parliament Mathias Mpuuga ayagala oludda oluvuganya lukyuse mu ngeri gyelukola mu ebintu byalyo naddala bwekituuka ku kuwa engeri endala gyelulowooza nti entambuza y’emilimu gyeggwanga bwegyandibadde gikwatibwa.
Mpuuga agamba nti ng’aboludda oluvuganya, tekyandibadde kyabuvunanyizibwa okudda mu kulongoosa abali mu bukulembeze byebadibaze wabula basaanidde okulowooza ku ngeri ezo zennyini zebayiza okuteekesa…
Bya Prossy Kisakye,
Ekitongole kya Kampala capital City Authority-KCCA olwaleero efunye ambyulensi musanvu okutumbula empeereza y’ebyobulamu mu divizoni z’ekibuga ettaano.
Zino zaguliddwa ku kawumbi kamu n’obukadde 600 nga buli emu yaguliddwa obukadde 230.
Bwabadde asimbula ambyulensi zino okugenda mu magombolola gomu kampala, ku City Hall loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago, asabye gavumenti ebongere ensimbi basobole okugula ambyulensi…
Bya Abubaker Kirunda,
Omusajja mu disitulikiti y’e Kamuli ali mu maziga oluvannyuma lw’okufa kwa mukyala we eyawalirizibwa okuzaala nga talina bissa bisindika omwana.
Godfrey Teki omutuuze ku kyalo Buwula A mugombolola ye Bugulumbya agamba nti mukyala we Fatuma Kafuuko yagenze ew’omusawo omuzaalisa owokukyalo okukebera olubuto lwe olwe myezi 8 ne bamutegeeza nti omwana yafiiridde munda.
Oluvanyuma omukyala yakakibwa…
Bya Mike Sebalu,
Poliisi e Mpigi daaki ekutte omusajja agambibwa okukkira mukazi we namukuba omuggo ku mutwe ogwamusse n’oluvanyuma omulambo nagusibira mu nyumba.
Poliisi kigitwalidde ennaku 3 okukwata ono okukola omuyiggo, ng’ono bamusanze yekukumye mu ttale.
Frank Kiragga nga mutuuze we Bukabi mu ggombolola ye Kammengo yakukunuddwa gyabadde yekwese ku bigambibwa nti yatta mukazi we Nabagulannyi Winnie 20…
Bya Prossy Kisakye,
Omubaka wa gavumenti atuula mu gombolola yé , Anderson Burora asabye minisitule y’ensonga z’omunda okulemesa abakungu abali mu kunoonyereza ku mivuyo gy’okuzimba emwala gy’e Lubigi obutafuna Visa kuva mu ggwanga.
Banka y’ensi yonna yawaayo obukadde bwa doola 183.7 eri ekitongole kya Kampala Capital City Authority okukola okunoonyereza, n’okuzimba omwala gwéLubigi oluvannyuma lw’okuliyirira abaakosebwa ettaka…
Bya Rita Kemigisa,
Palamenti akawungeezi ka leero ekungubagidde Bannayuganda abafiiridde mu bubenje bwóku nguudo mu biseera by’ennaku enkulu.
Ng’akubiriza olutuula lwa leero omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa asabye ababaka bonna okusirikiriramu wakati mu kukkungubagira abagenzi.
Era alagidde Minisita w’emirimu n’entambula okwanjula alipoota enzijuvu ku bubenje obuzze bubaawo mu ggwanga mu bbanga lya wiiki bbiri.
Tayebwa alaze obweraliikirivu nti singa…