File Photo: Abakiise mu Lukiiko lwa East Africa
Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya olw’endoliito mu kusubulagana sukaali wakati wa Uganda ne Kenya.
Kino kijidde mu kiseera nga waliwo bannabyabufuzi abaagala okulinya eggere mu ndagaano eyatekebwako emikono omukulembze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta n’owa Uganda Yoweri Museveni okukkiriza sukaali wa Uganda okutundibwa e Kenya.
Omu ku…
File Photo: Abatuuze nga balaba omuntu atiidwa
Abatuuze mu disitulikiti ye Isingiro bakkakanye ku musajja gwebatabereza okutemako ssengawe omutwe n’okutta omwana wa mugandawe omulala nebamutta.
Omusajja ono ategerekese nga Turyahabwa nga bamulumiriza okutta ssenga we Namatanza Susan ow’emyaka 55.
Abatuuze bagamba nti Namatanze y’atiddwa agezaako kutaasa muzzukulu we ow’emyaka 13 ategerekese nga Agasha abadde asoma ekyokusatu ku ssomero…
File Photo: Amyuka akulira etendekero ye Kyambogo
Nga abayizi mu matendekero ga gavumenti kyebaggye baddemu mu lusoma olupya, bbo abakulira ettendekero ly’e Kyambogo bandilowooza ku ky’okwongezaayo olusoma luno.
Abayizi bakafiirwa ssabbiiti 2 nga tebasoma olw’abakozi abatali basomesa okwediima nga baagala okwongezebwa omusaala naye nga kati bazze mulimu.
Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Prof Elly Katunguka agamba abakulira ettendekeo lino…
File Photo: Muluri mukasa nga yogeera
Minisita w’ekikula ky’abantu Muruli Mukasa awadde abakadde amagezi obutatunda kalulu kaabwe eri bannabyabufuzi bannakigwanyizi.
Mukasa agamba nga okulonda kwa 2016 kukubye kkoodi, bannabyabufuzi bangi batandise okugulirira abantu nga abakadde abakyala n’abavubuka okubawagira.
Wabula awadde abakadde amagezi bawagire abo bebalabamu omulamwa.
File Photo: Tanka ya North Korea emwanyi
Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea gombi.
Omukulembeze w’eggwanga lya North Korea Kim Jong-un alagidde amagye ge ku nsalo eyawula eggwanga lye n’erya South Korea okwetegekera olutalo n’eggwanga lya South Korea.
Kim agamba okugyako nga South Korea ekomezza okubaketta ku nsalo yaabwe bakubasesebbula.
Bbo abantu abali okumpi baatandise dda okwetegula nga era…
File Photo: Ekereziya ye Rubaga
Faaza mu kigo kye Soroti agezezaako okweta lwamusajja azzenga akubira muganzi we amassimu agatatadde nga amukwana.
Musajja wakatonda ono Fr. Deogracious Opio, addusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Soroti nga ali mu mbeera mbi n’akambe akagambibwa nti keyakozesezza okwesalasala.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Juma Hassan Nyene ategezezza nti faaza ono nga yakadda…
File Photo: Otafire nga yogeera
Ye minisita w’ensonga za ssemateeka Kahinda Otafire alabudde ekibiina okwewalira ddala obusosoze mu kulonda abaddukanaya ekibiina.
Otafire agamba buli Muntu Alina okuyisibwa obulungi awatali kusosola mu myaka.
Agamba abamu ku bannakibiina abakadde bakyalina kinene kyebasobola okugasa ekibiina kale nga basanye okuweebwa omukisa okugenda mu maaso n’okuwereza ekibiina kyabwe
Otafire okwogera bino nga abamu ku…
File Photo: A member ba NRM
Ekibiina kya NRM olwaleero lwekitimbye enkalala z’abanakibiina kyayo ku byalo byonna okwetolola eggwanga.
Omuwanika w’ekibiina Rose Namayanja ategezezza nga bwebagenda n’okuwandiisa abayizi mu masomero abalina emyaka 18 n’okudda waggulu.
Namayanja agamba okutimba enkalala kigendereddwamu kuzilongoosa okugyamu abaafa n’abo abatali bannakibiina ssaako n’abo abayabulira ekibiina nebegatta ku birala.
Mukiseera kino ekitabo ky’ekibiina kirimu bannakibiina…
File Photo: Bana FDC nga bogereko eri abamawulire
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance kyadaaki bafulumizza enteekateka egenda okugobererwa mu kulonda anabakwatira omukgo guno bendera mu kulonda kwamwaka ogugya , nga bino birangirudwa omwogezi w’omukago guno Wafula Oguttu
Okusinziira ku nteekateka zino, bano baakulangirira agenda okubakwatira bendera nga 14 September, era mangu dala bayungule bakakuyege…
File Photo: Muyingo nga seeka
Minisitule ekola ku byenjigiriza eyisiza ekiragiro eri amasomero gonna okukoma okusomesa abaana okusuka esaawa 11 ezolwegulo
Twogedeko ne minister omubeezi akola ku by’enjigiriza ebyawansi John Christom Miyingo natutegeeza kino ekiragiro kitandika lusoma luno olugya
Ono atutegeezeza nti baludde nga balaba omuze guno nga gukula, wabula nga balina okugukomya kuba gukonya abaana
Ono atuytegeezeza nti…