File Photo:Stanley Ntagali nga ayogeera
Abagaba emirimu basabiddwa okuwa abayizi ababa bakatikiddwa omukisa okukolera mu makampuni gaabwe yadde nga tebalina bumanyirivu ku mulimu guno.
Okusaba kuno kukoleddwa ssabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda kitaffe mu katonda Stanley Ntagali mu kutikkira abayizi ku yunivasite ya Uganda Christian University e Mukono.
Ntagali ategezezza nti abavubuka bangi batikkiddwa zi diguli wabula baasigaza bikoofira…
File Photo : Bukenya nga bamusitudde
Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya agamba nti ssiwakwetaba mu kamyufu ka NRM
Bukenya bino abyogeredde mu Lukiiko lw’eokwebuuza ku ba memba b’ekibiina kye ekya National Transitional Party mu maka ge e Kakiri mu disitulikiti ye Wakiso.
Prof Bukenya agambye nti mu kaseera k’akamyufu ka NRM, wakuwandiikira ssabawandiisi w’ekibiina kyaabwe okumunyonyola…
File Photo: Ebisowani bya Tv
Minisita omubeezi avunanyizibwa ku by’empuliziganya ne tekinologiya Nyombi Tembo asabye abantu babulijjo obutagendera ku kiragiro kya kkooti okuyimiriza enkola ya Digito.
Olunaku lw’eggulo omulamuzi w’eddaala erisooka e mengo yayisiza ekiragiro ekiyimiriza akakiko akavunanyizibwa ku byempuliziganya, okujjako TV ezitali ku Digito.
Nyombi agambye nti bannamateeka okuva mu kakiiko k’ebyembuliziganya bamaaze dda okutwala okwemulugunya ku…
Akulira abakozi mu minisitule y’ekikula ky’abantu mwenyamivu olw’abakyala abeyongera okwekalakaasa nga beyambula.
Kino kiddiridde abakyala ab’enjawulo wano mu ggwanga okwegumbulira omuze okweyambula okulaga obutali bumativu bwabwe naddala ku nkaayana z’ettaka.
Jane Mpagi agamba kuno kutyobola kitiibwa ky’abakyala nga balaga emibiri gyabwe ekikyamu.
Ono olukongoolo alutadde ku bannabyabufuzi abakozesa abakyala bano okutuukiriza ebigendererwa byabwe.
File Photo: Bana FDC nga bogereko eri abamawulire
Ab’ekibiina kya FDC olwaleero bakusisinkana abesimbyewo ababiri abasunsuddwa ku ky’okukwatira ekibiina bendera mu kulonda kwa 2016.
Ababiri kuno kwekuli ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu negweyaddira mu bigere Dr. Kiiza Besigye nga era bano balina emyezi 2 okumatiza abakungu b’ekibiina okubalaonda.
Ssentebe w’akakiiko k’webyokulonda mu kibiina kino Dan…
Minisitule y’ebyemirimu n’enguudo esabiddwa okwanguya omulimu gw’okugogola emigga okuli Nyamwamba ne Nyamugashani nga tebanazimbako ntindo.
Emigga gino ku lwokusatu gyazzemu okubooga negiziba oluguudo oluva e Kasese okudda e Fortportal ssaako n’okwonona olutindo lwe Nyakasanga .
Omubaka wa palamenti omukyala akiikirira Kasese Winnie Kiiza agamba bazze bayimbirira gavumenti okugogola emigga gino okugyiggyamu ettossi naye nga mpaawo kikoleddwa.
Agamba okugyako…
Akakiiko k’ebyempuliziganya aka Uganda communications commision olwaleero kasuubirwa okusalawo ku kyakkooti okubalagira okuyimiriza enkola ya digito bazzeeko Tv zabannayuganda zebagyako.
Olunaku olw’eggulo omulamuzi wa kkooti e Mengo y’ayisizza ekiragiro TV z’abantu zonna bazizeeko mangu.
Wabula ye omwogezi w’akakiiko kano Fred Otunu ategezezza nga bwebatanafuna kiwandiiko kyonna kibaragira kukola kino.
Mungeri yeemu bbo ab’ekibiina ekigatta abaweereza ebiri ku mpewo…
Waliwo olukalala oluggya olufulumiziddwa nga lulaga amannya g’abayisiraamu abalindiridde okuttibwa akadde kano
Olukalala luno lwanjuddwa minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga mu gavumenti erinze obuyinza Mohammed Muwanga Kivumbi.
Ku bali ku lukalala luno kwekuli Jjajja w’obuyisiraamu Omulangira Kassim Nakibinge, Sheikh Obedi Kamulegeya, Haruna Jjemba, Sheikh Mohmood Kibaate ne Loodimeeya wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago.
Kivumbi asabye gavumenti…
Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu awandiisiddwa okuvuganya kw’ani anakwatira ekibiina kya FDC bendera mu kalulu ka 2016.
Muntu agenda kuvuganya ne Dr Kiiza Besigye eyasusuddwa olw'eggulo.
Muntu asembeddwa ababaka okuli Angelina Osege, Abdul Katuntu, ne Steven Ochola kko nabalala .
Amangu ddala nga yakawandiisibwa, Muntu asabye banakibina kya FDC okumulonda asobole okumalawo ebizibu by’eggwanga omuli,…
Emirimo ku ddwaliro lye Kasana mu Luweero gisanyaladde ,nga kino kiddiridde ekibinja ky’abantu okulumba eddwaliro lino, nga baagala okutta abavubuka ababadde batwaliddwaayo nga bateberezebwa okubeera abanyazi.
Agavaayo galaga ng’abavubuka 2 okuli Farouk Kafeero ne Musa Kayondo bwebaakwatiddwa ku kyalo Kattambwa mu gombolola ye kikyusa nga bakuulita n’ente enzibe okukkakkana nga bakubiddwa, nga kw’ogasse n’okwokyebwa.
Ayogerera poliisi mu…