Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Kaihura ayogedde ku kutibwa kwa sheik Kirya

File Photo: Sheik Kirya eyatidwa Ssabapoliisi wa uganda Gen Kale Kaihura bwategeezeza nga mukaseera kano naye bwaswala okutunula ku bayisiramu buli kaseera nga azze okukungubagira abatidwa. Bwabadde ayogerera mukusabira omulambo gwa Kirya e Kibuli kaihura agambye nti amazima gali nti police ne government eewulira amaloboozi, kko nokunyorwa kwabayisramu, wabula buli kisoboka kikolebwa okulaba nga abatemu bakwatibwa. Omugenzi amwogedeko…

Read More

Abagambibwa okutega bbomu ezatta abantu badda leero mu kkooti

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda Okuwulira omusango gw’abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 nezitta bannayuganda abasoba mu 70 kuddamu olwaleero. Bannamateeka b’enjuyi zombi basuubirwa okuwaayo okusaba kwabwe ku kya kkooti okukkiriza oba okugaana obujulizi obwawereddwayo omuserikale wa poliisi Moses Kato. Olunaku lw’eggulo Moses Kato y’awadde obujulizi nga bweyawandiika sitetimenti y’omu ku bakwate Mohammed Ali era n’awandiika ne mu…

Read More

Temuzibira muntu yenna- DP eri NRM

  File Photo: Mbabazi nga buza Museveni Ab’ekibiina kya DP bawadde ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM amagezi obutazibira kkubo Muntu yenna ayagala kwesimbawo ku bwapulezidenti munda mukibiina kyabwe. Omwogezi w’ekibiina kya DP Kenneth Kakande bino0 abyogedde ayanukula ebbaluwa y’ekibiina kya NRM nga yegaana eyali ssabaminisita Amama Mbabazi. Kakande agamba ebikolwa bino byabuswavu eri enkola ya demokulasiya. Wabula munnamawulire wa…

Read More

Okuwandiisa abagenda okukwata bendera ya FDC kutandika leero

File Phot :Besigye nga yogeerako eri abawagizi be Okuwandiisa abagenda okukwatira ekibiina kya FDC bendere mu kalulu ka 2016 kutandika  leero. Ku ssaawa mukaaga  eyali ssenkagale w’ekibiina kino Dr. Kiiza Besigye asuubirwa okuwandiisibwa  nga ye  ssenkaggale w’ekibiina Maj. Gen Mugisha Muntu asuubirwa lunaku lwankya. Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino Dan Mugarura ategezezza nga buli yesimbyewo bw'alina okutuukiriza…

Read More

Sheikh Hassan Kiirya atemuddwa

Ennaku ezzemu okuzingako abayisiraamu b’eggwanga oluvanyuma lw’okuttibwa kwa sheikh Hassn Kirya. Sheik Hassan Kiirya y’abadde omwogezi w’ekibuli era y’atiddwa ekiro ekikeesezza olwaleero. Okusinziira ku akola nga supreme Mufti  Sheik Mahmood Kibaate, sheikh Kirya y’abadde ava kusaala talawuya wali mu Ndeeba kumpi n’akayanja ka Kabaka nebamuttira e Kireka. Imam w’omuzikiti gwe Kibuli sheikh Abdulsalam Mutyaba ayongera okunyonyola ku nteekateeka…

Read More

Buganda efunye ebyapa ebirala

Pulezidenti Museveni mu butongole ekwasizza Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ebyapa 82 ebiddiziddwa Obwakabaka bwa Buganda. Omukolo guno gubadde mu maka g’obwa pulezidenti Entebbe era nga gwetabiddwako omulangira David Wasajja, omwogezi wa Buganda Denis Walusimbi n’abalala. Gavumenti ekiikiriddwa omuwolereza wa gavumenti Fred Ruhindi. Ono y’omu ku kawefube agendereddwamu okussa mu nkola endagaano eyateekebwaako emikono mu mwaka gwa…

Read More

Olwokaano lw’anakwata bendera ya FDC lunyikidde

File Photo Muntu ne Besigye Olwokaano kw’okufuna anakwatira ekibiina kya FDC bendera lusigaddemu abantu kati babiri oluvanyuma lw’okusatu okupondoka Moses Byamugisha yeeyasooka okutandika kakuyege kyokka nga kati abivuddemu. Mu kaseera kano Dr. Kiiza Besigye  ne Maj Gen Mugisha Muntu beebasigadde mu lwokaano, era nga bano beebagenda okweriga nga okulonda kutuuse. Twogedeko ne ssentebe bwakakiiko kano Dan Mugarura, natutegeeza nti…

Read More

Amateeka ga palamenti gayisibwa mu butuufu

File Photo: Ababaka ba palamenti Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa awakanyizza ebigambibwa nti ensangi zino palamenti yegumbulidde omuze ogw’okuyisa amateeka ng’ababaka tebawera . Bw’abadde ayogerako ne bannamawulire, Nankabirwa  agambye nti palamenti  eyogerwako y’eyisa amateeka omuli n’agagifuga , kale nga ate teyinza kukulemberemu muze gwakugamenya. Nankabirwa agamba nti abantu basaana baawule wakati w’okuteesa n’okulonda,kubanga ebiseera ebisinga ababaka babeera batono…

Read More