Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza obuganda ng’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bw’agenda okuddiza obwakabaka bwa Buganda ebyapa 80 nga bwekyakkiriganyizibwako mu ndagaano eyatuukibwako mu mwaka gwa 2013.
Kinajjukirwa nti gavumenti yakakomyawo ebyapa 213 eri obwakabaka bwa buganda.
Mayiga era agambye nti Ssabawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi yamaze dda okuwandiikira minisitule y’eby’okwerinda, minisitule ekola ku nsonga…
File Photo : Stacia ne bba Mu kadaali
Ba wa Stecia Mayanja nga ye Abbas Mubiru azzeemu okukwatibwa mu ttuntu lyaleero.
Mubiru akwatiddwa ku kkooti ya Buganda Road gyawerenemba n’emisango emirala egy’okuwuwuttanya obukadde bw’ensimbi obusukka mu makumi ana
Mubiru akwatiddwa ba wanyondo ba kkooti ababadde bakulembeddwamu Ismail Magumba wamu ne poliisi.
Mubiru abanjibwa obukadde kumi na busatu nga bunno …
Okunonyereza okukoleddwa ku ttaka ly’oku lusozi Elgon kulaga nti enjatika zikyatambula
Bano abasinze okutunuulira disitulikiti ye Buduuda agambye nti bakizudde nti ettaka, ensozi byonna byetoloola nga mu biseera bitono wajja kubaawo okubumbulukuka kw’ensozi
Mu march wa 2010, ettaka lyabumbulukuka abantu 350 nebabikkibwa ng’abasigalawo abasinga basengulwa okutwalibwa e Kiryandongo
Mu mwaka 2011, era ettaka lyaddamu okubumbulukuka neribikka abantu 28…
Abayisiraamu basabiddwa bulijjo okwongera okusoma ekitabo ekitukuvu ekya quran mu mwezi guno omutukuvu ogwa Ramadhan
Kinnajjukirwa mu mwezi guno Quran mweyakkira era nga ne nabbi Muhammed yanyiikiranga okugisoma
Imam w’omuzikiti gwe Najjanankumbi Ahmed Kyeyune agambye nti okusoma Quran kabonero kalungi ak’obwetowaze kale nga buli omu asaanye okugyekwata
File Photo: Abalwadde Mu dwaliro
Abatwala eddwaliro lya gavumenti erya Mukono Health Centre 4 bagamba balina essuubi nti eddwaliro lino lyakulongooka. Omukulembeze w’eggwanga yasuubiza okuyambako mu kuzimba ebizimbe by’eddwaliro lino kisobozese minisitule y’ebyobulamu okulisuumusa okudda ku ddaala ly’eddwaliro eddene wabula kati kitutte ebbanga. Akulira eddwaliro lino Dr. Godfrey Kasirye ategezezza nti wadde Munisipaali ye Mukono eriko…
File Photo : Abakaramoja
Minisita w’ensonga za Karamoja era mukomukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni alabudde abavuzi ba taxi n’abagoba ba bodaboda okwewala okwewola ensimbi buli kiseera wabula beterekere okusobola okwetandikirirawo emirimu emirala.
Nga ayogerako eri abantu bano, mukyala Museveni y’ategezezza nga basajja battu bu bizinesi bwabwe bwebutwalibwa abawozi b’ensimbi oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula amabanja agabayitirirako.
Mungeri yeemu abawadde amagezi…
File Photo : Omukulembeze wa Uganda Museveni
Ababaka b’akabondo k’ekibiina kya NRM ssibakuteesa ku nsonga z’eyali ssabaminisita w’eggwanga wabula ensonga z’ekibiina endala ez’etagisa okukolebwko amangu ddala.
Kino kiddiridde ssentebe w’ekibiina kya NRM era omukulembeze w’eggwanga okuyita abababaka b’akabondo ka NRM okuteesa ku ku nsonga ez’enjawulo mu kibiina.
Omwogezi w’akabondo k’ababaka bano Hamson Obua ategezezza nga bwebagenda okuteesa mabago…
File Photo: Katikiiro wa Buganda
Ssabasajja Kabaka wa Buganda alagidde Katikiro w’amasiro ge Kasubi agobe abatundirayo eddagala wamu n’abo abasamirira mu kifo kino.
Okiragiro kino akitisse Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu lukiiko lwa Buganda olugenda mu maaso wali e Bulange Mengo.
Beene era ayingidde mu kusika omuguwa wakati wa Nalinya w’amasiro g’e Kasubi n’akulira okusereka amasiro…
File Photo: Abantu nga bekalakasa
Eggwanga lya Israel likkirizza okuyimbula omusibe omufirisuuti asiibye enjala kati ennaku 55.
Israel etegezezza nga embeera ya Khader Adnan, 37 bweyeralikiriza wabula nga wakutandika okulya n’okunywa era ayimbulwe mu wiiki 2.
Wabula Israel etegezezza nti yadde nga ono bagenda kumuyimbula, wattabu nyo eri ensi yonna.
Adnan azze akwatibwa Israel enfunda eziwerako nga…
Gavumenti eweze okutagyawo kkoligo lyeyateeka ku balimi baakuno okutatunda ebirime byabwe mu katale k’amawanga ga Bulaaya okutuusa nga balinyisizza omutindo ogwetagisa.
Omwezi oguwedde amawanga ga bulaaya ag’enjawulo gemulugunya ku mutindo gw’ebirime bya Uganda omubi nokukozesa enyo eddagala ku birime bino.
File Photo: Omukyala na baana munimilo
Okuwera okutunda ebirime bya Uganda kwalangirirwa minisita w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde nga kwatandika…