Mu ggwanga lya Japan , abakyala bongedde okugejja amabeere n’obuleega obutono teri agula
Abatunda obuleega bagamba nti ennaku zino obuleega bwebasuubula bubadibako yadde nga luli obutono bwebubadde butunda
Aba japan beebabadde basinza obuleega obutono .
Ab’ekitongole kya Kampala Capital City Authority bakutongoza enkola ekwata ku byobuzimbi nemirimu mu kibuga.
Minisita wa kampala Frank Tumwebaze agamba nti baluddewo okuleeta enkola eno olw’ensimbi kyokka nga omwezi ogujja ebintu bijja kuba mulaala
Tumwebazei agambye nti ng’enkola eno ewedde, kampala ajja kuba agaziyizibwa okutwaliramu ebibuga ebimuliraanye
File Photo : Kakooza ngali ne bukenya
Omulabirizi we ssaza lye Lugazi omugya Bishop Christopher Kakooza owaleero atandise okulambula essaza n’emirimu egy’enjawulo egikolebwa.
Atandikidde ku ddwaliro lya gavumenti erya Mukono Health Centre 4 ng’ali wamu n’abawereza ba ekereziya, atuuseeko ku kitebe kya Munisipaali ye Mukono, ku disitulikiti n’awalala.
Ku mbuga ye ssaza lye Kyaggwe yeetabye mu lukiiko lw’essaza…
Kkooti ejulirwaamu eremezzaawo ekibonerezo ky’emyaka 25 egyaweebwa abasajja 2 abatta omutunzi wa Waragi mu mwaka gwa 2009.
Abalamuzi ba kkooti ejulirwamaua basatu nga bakulembeddwamu Remmy Kasule bagambye nti tebajja kusazaamu nsala y’omulamuzi Andrew Bashaija eyabasiba emyaka 25
Bagambye nti bazzeemu nebekeneenya obujuliz obwaleetebwa nga mu butuufu abasajja bano batta omutunzi wa waragi
Bano era bagambye…
Eddwaliro lye Mulago lifunye kamera ezimanyiddwa nga CCTV 11 nga zakussibwa mu waadi y’abakyala abazadde
Kino kyakuyamba okukendeeza omuze gw’okubba abaana ogweyongedde mu ddwaliro lino.
Kkampuni y’aba china eta ZTE y’egenda okussamu kkamera zino
Kamera zino ziwereddwaayo sipiika wa palamenti Omukyala Rebecca Kadaga agambye nti essanyu ly’omukyala kuzaala ng’ababbibbwaako abaana baba bajjiddwaako essanyu lyaabwe.
Akulira eddwaliro lino Dr. Baterana…
Buli lukya okusika omuguwa kweyongera ku ky'eyali ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi okwesimbawo ku bukulembeze w’eggwanga.
Kati akulira akakiiko k’eby'okulonda Eng. Badru Kiggundu agambye nti tawangaka lukusa Mbabazi okugenda okwebuuza ku bantu.
Bw'abadde ayogerera mu lukiiko lw’ebibiina by’ebyobufuzi ebyenjawulo e Hoima, Kiggundu agambye nti ebbaluwa Mbabazi gyeyawandikira akakiiko ky’ebyokulonda yalimu ebirumira bingi kale nga yali tasobola kukirizibwa.
Kiggundu…
Ekitongole ky’emisolo ekya Uganda Revenue Authority kigadde Top Radio ne Top TV lwabutasasula misolo.
Bano bagaddwa oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula ensimbi obukadde 200.
Akulira okukunganya amabanja mu kitongole kino Abdul Salam Waiswa agambye nti bamaze ebbanga ng'alabula abakulira TV ne leediyo okusasula emisolo gino naye nga butereere.
Bano bwebatasasula baakukubibwa mu mbuga z’amateeka era balangirirwe mu balunkupe
File Photo: Akubidwa bomu
Mu ggwanga lya Somalia abantu abali eyo mu 30 bebafudde oluvanyuma lwabamukwata mmundu okulumba ekitebe ky;amagye g’omukago gwa Africa mu bukiika ddyo bw’eggwanga lino.
Lumira mwoyo avuze emmotoka n’agiyingiza ku wankaaki w’ekitebe kino mu kitundu kye Leego mu kibuga ekikulu ekya Mogadishu.
Abakwambwe ba Al shabab bategezezza nga bwebedizza ekitebe kino wabula nga…
Abakungubazi bagaanye omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mukono Peace Kusaasira Mubiru okwogerera ku lumbe nga bamulumiriza obutabakikirira bulungi.
Bakombye kw'erima nga bagamba azze gyebali lwa kalulu akasembedde ssonga ebbanga lyonna talabikako mu bantu nebwebaba mu buzibu, atenga nemu palament tebamuwulira nti alina kyayogedde.
Bino bibadde wali ku kyalo Kavunza mu muluka gwe Kawolo mu Buikwe bwebabadde baziika…
File Photo : Omusajja nga anya enjaga
Bannayuganda okwongera okukozesa ebiragalaragala kitunuuliddwa ng'ebimu ku kusoomozebwa okwamanyi okwolekedde eby’enfuna by’eggwanga.
Okutya kuno kulagiddwa abakugu mu kujanjaba abalwadde b’emitwe nga eggwanga likuza olunaku lw’okulwanyisa okukozesa ebiragalaragala.
Ng'ayogerako nebannamawulire wano mu kampala, akulira eddwaliro ly’abatabufu b’emitwe erye Butabika David Basangwa agambye ku buli balwadde 800 bebafuna, 250 kiba kivudde ku kukozesa…