Aba kkampuni ya baasi eya Kampala coaches ezzeemu okulabulwa ku kusasula ensimbi ezigyibanjibwa
Ssabiiti ewedde ab’ekitongole ekiwooza babow abaasi zonna eza kampala coaches lwa bbanja eliweza obuwumbi 2 n’ekitundu/
Ensimbi zino zaggya zeetuma okuva mu mwaka gwa 2007
Abawooza bagamba nti basuubira kkampuni eno okusasula wiiki eno oba ssi kkyo bakutunda baasi zaabwe munaana
Omukungu mu URA, Sarah Banage…
Sentebe w’akatale ka owino Geoffrey Kayongo wakunonyerezebwako ku bigambibwa nti yalagira abasuubuzi abamuwakanya okukubwa, n'okuwa aba police enguzi .
Bino by’ebimu ebiri mu alipoota y'akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z'obwa president akatekebwaawo okunonyereza ku mivuyo egiri mu katale ka S.t Balikudembe abangi ke bayita owino.
Akakiiko kano era kakizudde nga police bw'erimu kyekubira mu kugonjoola endoliito…
Abantu abeepena emisolo bakyaali bangi ddala
Kino kisinze kukosa nsawo za gavumenti ez’ebitundu.
Akulira ekibiina ekigatta bannekolera gyange,Gideon Badagawa ayagala gavumenti yekebejje bulungi okumanya bannaugana bameka abeepena emisolo.
Badagawa agamba nti abantu batono abwa emisolo gyebiggwera nga beebamenye bokka ate nga bangi abakozesa ebiva mu misolo gino.
Ono agamba nti mulimu gw agavumenti okulaba nti buli Muntu awa emisolo…
Gavumenti esimbye nakakongo nga bw’etagenda kujjawo mateeka mapya ku byentambula
Kino kiddiridde ba deeeeva ba taxi okwekalakaasa nga bagamba nti amateeka amapya gagendereddwaau kubalemesa kyakulya
Minister omubeezi akola ku byentambula, Stephen Chebrot agamba nti ebibonerezo ebiggya bigendereddwamukugolola ba dereeva ttumba era nga ssibyakukyuuka
Minister abadde addamu omubaka we Iganga Peter Mugema alaze owkenyamira olw’ebyentambula ebisanyaladde nga badereeva bagenda…
Abakozi b’amazzi n’abasogola juice bakusimbira ekuuli omusolo omupya ku mazzi.3
Bamu basisisnkanyeemu minister w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde bagambye nti ekikolw akya gavumenti kyabakuba wala n’okubalekera ebibuuzo ku mugaso gw’okwegatta ku mawnaga amalala.
Bakulembeddwaamu Gordon Wavamunno nga bagaala omusolo guno okukendeera okuva ku bitundu 15 wakiri gudde ku bitundu 5.
Wavamunno era ssimusnayufu ne gavumenti okusrika nga kkampuni ez’ebicupuli ezimerukawo…
Ekitongole ekiwooza kikangukidde abo bonna nadala banabyabufuzi abatandisse okwogerera embalirira ye gwanga amafuukule.
Akulira ekitongole kino Allen Kagina agamba embalirira eno siyakunyigiriza muntu yenna wabula yakubayamba okukungaanya omusolo gwebeetaga
Ono agamba nti amazima gali nti emisolo egimu gireteddwa kutaasa bantu baabulijjo, gamba nga omusolo ku sigala.
Agamba obuweerezza ku bantu bwakutabulira dala bukwaku .
Kkampuni bbiri ezikola obuveera zigaddwa lwakubeera mu mbeera mbi.
Abakozi mu kkampuni eno beebadde basing okubonaboona ng’abasinga bavunze engalo n’ebigere olwwedaggala lyebakwatamu n’okulinnyamu.
Kkampuni zino kuliko emanyiddwa nga Lida ne Eon nga zonna zikolala Mbalala mu district ye mukono.
Abalwanirira eddemeb ly’abakozi beebasooka okulambula kkampuni eno nebaloopera bekikwako abasitukiddemu olwaalero okuggala kkampuni zino.
Atwala ensonga z’abakozi mu district eno,…
Bannayuganda abakkakkalabiza egyaabwe mu ggwanga lya South Sudan basabiddwa okukuuma obukkakamu.
Bano batiisizzatiisiza nga bwebagenda owkekalakaasa mu ngeri y’okuwaknya eky’okuttibwa kwa bannaabwe 2.
Abasuubuzi bano bagamba nti nabob agenda kukyuukira abadinka ababatulugunya .
Ssenkaggale wa poliisi Maj Gen Kale Kaihur wabula agaba nti baliko enteseganya zebalimu n’;aba sudan nga basuubira okubaamu nekyebaziggyamu.
Kaihura era agamba nti batadde abasilikale baabwe…
Terukyaali lugambo nti kampuni ya airtel eguze ginaawo wyamasimu eya warid telekom.
Bharti Airtel kati yaakugatta ku bakistooma baaayo obukadde 4.6 , obulala 2.8 obwa warid okuweza obukadde 7.4 .
Akulira ebyemirimu mu Airtel mu Uganda , Manoj Kohli, agamba kino kyebatuuseko kyaamanyi dala era nasuuubiza empeereza enungi eri bakasitoma.
Obadde okimanyi nti mafuta agassbwa mu mmotok aagasinag tegawera
Ab’ekitongole ekikola ku mutindo mu ggwanga bagamba nti amasundiro g’amafuta agasinga galian ebyuuma ebifu ebibala omufuulo.
Akulira ekitongole kino, Ben Mayindo agtegeezezza ababaka ku kakiiko k’ebybosuubuzio nga abaddukanya ebyuuma bino bwebabitigiinya okukkakkana nga babbye abanywa amafuta
Ono wabula agamba nti bongedde ebikwekweto okuwamba ebyuuma byonan ebikyaamu.