Ebyobusuubuzi
Muwandiise amasimu
Abantu abatannawandiisa masimu gaabwe bazzeemu okujjukizibw aokukikola Omulanga gukubiddwa omukungu mu kkampunia MTN Mazen Mroue abadde ayogerako eri bannamawulire ku palamenti Okusinziira ku kakiiko akakola kubyempuliziganya, abantu bonna abatannaba kwewandiisa balina okuba nga bakikoze ng’ennaku z’omwezi 21 tezinnatuuka kubanga bakusalwaako Mazen agambye nti kawefube w’okuwandiisa […]
Akatale kagenda kuggwa
Nga ebula mbale akatele ke Wandegeya katandike okukola mu butongole , nate abakatwalwa batandise okusaba banna Uganda bonna okubakwatizaako mu ntekateeka wenungi ayakatale kano . Kano akatale kasuubirwa okugulwawo mu ntandikwa yomwezi ogwe kkumi ,nga kawemense obuwumbi 22 bulamba. Muwejje muteesasira nga ono yye ssentebe […]
Okugaggawala kutuuse
Abakulembeze ba district ye Wakiso, balina enteekateka gyebaleeta okuyamba abantu bamufuna mpola ,okwefunira enyumba ez’omulembe ng’ate bazitegese bulungi. Okusinziira ku akulira eby’emirimu n’abakozi David Kigenyi Naluwayiro, District eyagala abantu abo nga balina bu poloti obutono ebayambe bayige okubukulakulanya n’okubawa zi pulani. District enkola eno egenda […]
Tetujja kuzizza
Abasuubuzi b’omukatale ka St Balikuddembe basekeredde gavumenti ku ky’okuzzaayo obuwumbi 10 obwabaweebwa mu bibiina byaabwe eby’okwekulakulanya. Kino kiddiridde omuwabuzi wa president ku by’obufuzi Moses Byaruhanga, okulabula abasuubuzi bonna n’abavuzi ba bodaboda abazifuna okuzisasula mangu. Ssentebe w’ekibiina kya St. Balikkudembe saving and credit society, John Baptist […]
Teri magoba ku mabanja
Gavumenti ekkirizza enkola ya banka ezikolera ku mateeka g’obuyisiramu okutandika okukola mu ggwanga. Minister w’ebyamawulire n’okulungamya eggwanga Rose Namayanja ategezezza nga ministry y’ebyenfuna bw’egenda okuddamu okwekenenya eteeka erikwata ku zi banka, enkola eno etambule bulungi. Agamba enkola eno yakuyamba abantu okwewola sente okutali magoba .
Amasimu gagyiddwa ku mpewo
Amasimu g’abantu abatannawandiisa masimu gaabwe gasalidwaako. Omwogezi w’akakiiko akakola ku byempuliziganya, Fred Otunnu agamba nti bakkiriza kkampuni z’amasimu okuggyako amasimu gano okuzuukusa ababadde beebase. Otunnu agamba nti nsalessale eyaweebwa abantu okuwandiisa amasimu gaabwe eggwaako nga 31st omwezi guno era nga abanaaba tebannaba kwewandiisa bakugyibwa […]
Oluguudo lwakulya buwumbi
Kampala capital city authority yakusasaanya obuwumbi munaana mu kuddabiriza oluguudo lwe jjinja Yakutandikira ku kizimbe kya Kitgum house okuddabiriza okutuuka eNakawa Okusinziira ku plan erabiddwaako, oluguudo luno lwakuyisa emmotoka ssatu omulundi gumu Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti balinze lukusa okuva eri omuwi […]
Baasi za awakula ennume zikyalina olugendo
Baasi za awakula ennume zikyaalina ebizibu bingi eby’okukolako nga tezinadda ku makubo Aba KCCA bakyagaanye okukkiriza baasi zino eziri mu 20 okusabaaza abantu . Baasi zino zagyibwaayo aba pioneer nga bagaddwa kyokka nga zamala neziva ku makubo nga KCCA egamba nti tezayiise mu mitendera mituufu […]
Abaggagga balwnaira ttaka
Aba Kampala capital city authority basabiddwa okuvaayo batangaaze ku nnanyini paaka ya baasi z’abaganda omutuufu. Kiddiridde olutalo okubalukawo wakati w’abaggagga Charles Muhangi ne Drake lubega nga buli omu agamba paaka eno yiye Ssentebe w’akakiiko ke by’ettaka mu kampala, Yusuf Nsibambi agamba nti ekyapa okuli […]
Abaalya eza Park yaadi batuyaana zikala
Abagambibwa okulya ensimbi z’akatale ka Paaka yaadi batuyaana bwezikala Babiri ku bbo bawereddwaayo eri poliisi lwakulemererwa okulaga embalirira ya bukadde 680. Ensimbi zino zeezimu ku kawumbi akaweebwa abasuubuzi nga akatale kano kakutte omuliro Abawereddwaayo eri poliisi kuliko Moses Esseriati Ne Charles Lubega Akakiiko ka […]