Olwali
Ekyaalo kiwunnya pupu wa kkapa
Mu kibuga Newcastle ekisangibwa mu ssaza lya Penyslvania mu America, abatuuze batandise okwaamuka ekyaalo lwa kuwumya bubi bwa kkapa n’omusulo Tekinnategerekeka lwaki ekyaalo kyonna kiwunya kyokka nga buli omu enyindo atambula azibinudde Kati abakola ku butonde bwe’nsi batandise okunonyereza wwa awava olusu.
Omukka omusunsule
Waliwo omuzungu akoze amakerenda ng’omuntu bw’agamira abadde ow’okuyisa omukka omubi aba avaamu kawoowo. Omukka guno guyinza okuwunya ng’ekimuli kya roosa oba choclate Christian ow’emyaka 65 agamba nti amakerenda gano aga capiso gawagiddwa dda ab’ebyobulamu mu bufaransa era nga gayamba n’okusumulula olubuto.
bano hockey bamuzannye bali buswa
Kati bw’oba olowooza nti abatalina nsonyi baweddeyo, ate n’owulira bino. Mu kitundu kya Nottingham mu Bungereza, tiimu nnamba ey’omuzannyo gwa Hockey eyingidde mu kisaawe ng’ri bukunya Eno era ekwataganye n’endala nga nayo eri buswa Bano basoose kwekubisa bifananyi era nebasimbula nga teri yadde eyebwaalabwaala. Abavubuka […]
Ekikulekule e Buyindi
Mu ggwanga lya Buyindi, waliwo omwana azaaliddwa ng’alina embiriizi munaana Omwana ono alina emikono ena, n’amagulu ana Abantu batandise okwekulungulula okugenda okulaba ku mwana w’ekika kino abangi gwebagambye nti akakasa nti mu butuufu katonda atonda Embeera eno kigambibwa okuba ng’eva ku balongo okwegattira mu lubuto […]
Abakadde enjaga ebakubye
Akatambi akalaga bannamukadde basatu nga banywa enjaga mu bubba katunda nga keeki eyokya Abantu abasoba mu bukadde 11 beebakalaba akatambi kano akakwatiddwa mu Washington ekya America. Abakadde bano abasatu nga bonna bakyala balabwaakko nga bagabana omusokoto gw’enjaga nga bwebazannya ne matatu Wabula oluvanyuma lw’eddakiika nga […]
Baasi za kazambi yiino
Baasi esoose obutakozesa mafuta ng’ekozesa kazambi olwaleero etandise okutambuza abantu Baasi eno etuuza abantu 40 ekoleddwa ba yingiya okuva mu Bungereza Abagikoze kyebagaala kwekukendeeza ku mafuta agakozesebwa mu byentambula n’okukendeeza ku motoka ezifulumya erikka
Ono tatya biduduma
Kubamu akafananyi ng’obadde onywa akatunda ko , abasajja abampadde obukokoolo nebayingirawo nga tobamanyi ate mu kiro. Manyi bangi bafukamira ate abalala banoonya awalala aw’okuddukira. Ssi bwegubadde ku musajja enzaalwa ye Russia asigadde ng’anywa akatunda ke yadde alumbiddwa ka bakanyama 35 Omusajja ono abadde mu kafo […]
Babulidde mu misooli
Ekibinja ky’ab’oluganda ababadde balambula omusiri gwa kasooli mu America bayise poliisi lubaluba oluvanyuma lw’okubulira mu musiri Bano babadde balambula omusiri oguweza yiika 63 nga batandise okwebulako mpola okukkakkana nga basobeddwa Poliisi ekirungi etuuse mu budde n’ebakwataganya wakati mu ssanyu
Omumpi n’omuwanvu- Basisinkanye
Omusajja asinga omuwanvu mu nsi yonna asisinkanye munne asinga obumpi mu nsi yonna omulundi ogusookedde ddala mu kibuga London Sultan Kosen, alina ft munaana ne yinki ssatu agambye nti balina engeri nyingi gyebayinza okukwataganamu n’omumpi eno owa fiiti emu ne yinki mwenda yadde nga tebenkana […]
Azuukidde akaaba mpewo
Omukyala enzaalwa ye Poland eyalangirira nti afudde azuukidde akaaba mpewo. Janina ow’emyaka 91 amaze essaawa 11 mu ggwanika oluvanyuma lw’abasawo okukakasa nti afudde Wabula ababadde mu ggwanika kibaweddeko okulaba omusajja ono ng’atandise okwekyuusa Ababadde ewaka nga bali ku bibakuli bya buugi ne kabalagala kibaweddeko okulaba […]