Olwali
Asazeeko bba obusajja n’abuwa embwa
Mu ggwanga lya China,omukyala akutte bba ng’ayenda amusazeeko obusajja n’amuleka ng’ataawa Omukyala ono nno tasaaga kubanga yadde omusajja ono bafubye okumutaasa, amulumbye ne mu ddwaliro n’agezaako okubusalako ogw’okubiri Omukyala ono okutabuka agudde ku bubaka, bba bw’abadde yeweereza ne muganzi we . Omukyala ono okukola kino […]
Enyonta bagimalidde mu lujjudde
Ensi eno kituufu erimu abalalu Mu ggwanga lya Russia, waliwo abagalaana abayingidde mu kifo ekinywerwaamu ka chai nebatandika okusinda omukwano nga buli omu abegese amaaso. Bino babikoledde mu katebe akamu okutuulwa abanywa ka chai. Ekyewunyisa nti ababalabye bakubye enduulu n’okusakaanya n’okukwata buli kimu ku katambi […]
Embwa ebuliddwaako obutuuliro
Embwa eyazaalwa ng’erina amaaso agalina langi ez’enjawulo ebuliddwaako w’etuula nga buli omu agyesamba. Embwa eno emanyiddwa nga Molly nga ya mwaka gumu negyebuli kati terina w’ebeera Eriiso lya Molly ono erimu lya kitaka ate eddagala lya Blue
Omukadde assizza abantu enseko
Omukadde abadde ku kompyuta neyesiba, aleese kyuuma ekikaza enviiri n’atandika okugifuuyira yesumulule bwebamugambye nti ebadde yekutte. Omukadde ono alese ababadde mu wofiisi mu kibbo ky’enseko agambye nti enviiri ze bwezikwata akozesa drier kale ng’abadde agamba nti anayambako.
Omujoozi gubizadde
Abantu bangi beeyambaza emijoozi egiriko ebigambo ebisoomooza ate ebirala nga bisesa Kati yye ayambadde akajoozi okuli ekigambo nti “nnina Enjaga” akaabye agajulujulu, poliisi bw’emuzinzeeko. Naye nno ebigambo bino oluusi byandiba ebituufu kubanga era omusajja ono asangiddwa n’enjaga.
Enjala mu chips
Abantu bangi bekebejja byebalya era banyiga okugwa ku byebatategeera. Kati nno omuwala agenze mu restaurant okugula chips ne chicken bimuweddeko bw’asanzeemu enjala empanvu mukaaga Mollie Howe enjala zino azirabidde waka gy’abadde atutte emmere okuliira Nyina w’omuwala ono enzaalwa ye America agamba nti ekisinze okumunyiiza kwekuba […]
Kapa ebizadde
E sembabule omusajja atanzizza muliraanwa we 200,000 lwakulagajalira kappa ye n’efa. Paul Mugula omutuuze ku kyalo Matete y’atanzizza Everest Mukasa ensimbi zino oluvanyuma lw’okumusaba okumuyambako ne kappa ye emuliire emmese ezaabadde zisusse mu nyumba ye wabula n’atajirabirira bulunji n’efa. Mukasa olusanze kappa eno nga efiiridde […]
Essigiri ayita nayo mu motoka
Mu ggwanga lya China , waliwo omukyala asazeewo okussa sitoovu mu mmotoka ye ng’ayita nayo olw’obutiti obususse Omukyala ono agambye nti kino kijja na kumuyamba okwefumbira ku mmere obutafa njala Sitoovu eno essiddwa mu mutto gw’emabefa ng’erina omudumu ogufulumya ekikka okuyita mu luggi lw’emotoka.
Omukazi nakampaata kimuweddeko
Omukyala nakampaata akonkonye ng’eyali bba tamuggulira asazeewo kuyita mu mudumu ogussibwa ku kiyungu okufulumya omukka. Omukyala okuva mu California wabula tebimugendedde bulungi bw’alaalidde mu mudumu gumu. Abaziinya mooto bayitiddwa bukubirire oluvanyuma lw’okuwulira enduulu okuva mu kidumu. Omukyala ono ow’enzaalo essatu avuddeyo nga yenna atuyaanye nga […]
Empale yiino ekuuma ebintu
Waliwo kkampuni ya Amerika ekoze empale y’ekyuuma. Eno ekoleddwa kwambalwa basajja abasemberera omuliro naddala bakola mu biyungu bya wooteri Ono agamba nti empale eno ejja kuyamba abantu bano okweyambula olw’ebbugumu eringi kubanga ebikka buli kimu.