Olwali
Omusajja asabye okuyonka Nakawere
Omukyala Nakawere abadde mu supamaketi ng’agula ebintu by’aawaka kimuweddeko omusajja bw’amutuukiridde ng’amusaba ku mata g’omu mabeere ge Ekisajja kino ekirabise nga kyonna kiwombeefu kifukamidde ku maviivi nekisaba akkirize amuyonseeko amuwe ssente. Oluvanyuma kizuuliddwa nti omusajja ono yasomye nti amata g’omubeere gazimba omubiri nga naye abadde […]
Omugole ekutte mukwate
Omusajja gwebayombesezza obutawasa tatawaanye aliko omukazi gw’akutte ku mpaka z’amutwalira bakadde be. Omusajja ono ow’emyaka 32 nga nzaalwa ye China yasoose kugenda mu bakadde be nabamuyombesa obutawasa Ono yafunye awali ekisiko n’abaka omuwala ono ng’ayitawo, n’awuwalula kutuuka waabwe nti ye mukyala we Omuwala ono byamuweddeko […]
Akaana kakoze ekigalo
Waliwo akaana akasinzidde mu lubuto lwa maama waako nekawanika ekigalo mu ngeri egamba nti byonna biri bulungi Abagalaana ababiri okuva mu Bungereza mu kibuga Manchester babadde bagenze mu ddwaliro kukebera mbeera omwana waabwe mw’ali era nebakikakasa bw’abalaze ekigalo.
Batamidde nebagwa mu kasasiro
Abafumbo abaagenze okwewaamu banywedde nebagangayira okukkakkana nga beebase mu kipipa kya kasasiro. Abakungaanya kasasiro bazze nebayoola buyoozi kasasiro okukkakkana nga bamuyiye mu kimotoka Bano wano bazuukuse nga bali wakati ku kimotoka kya kasasiro era ekyaddiridde nduulu.
Namukadde ayagala okumukwana
Namukadde w’emyaka 82 akwatiddwa lwakubba kalifuuwa ow’ebbeeyi mu dduuka ng’ayagala okusikiriza abasajja Omukyala ono enzaalwa ya America agamba nti ennaku zino abasajja babadde tebakyamukwana kwekusalawo efune yo akabayingula emeeme Omukyala ono yetondedde ab’edduuka ng’agamba nti naye abadde anoonya mukwano.
Omwana wa kilo mukaaga kitundu azaaliddwa mu America
Mu ggwanga lya America ,waliwo omukyala azadde omwana nga kilo mukaaga n’ekitundu Omwana ono atandikiddewo okulya enyo ng’ama g’anywa geeganyweebwa omwana ow’emyezi esatu Omwana yeeyakasinga okuba omuzito okuzaalibw amu America Ekyewunyisa nti omwana ono yazaaliddwa bulungi nga nyina tatungiddwa yadde wuzi emu.
Ezzike lumukubye empi
Omusajja abadde akuba ezzike ekifananyi kimupachizza empi nebimukalira ku matama Ono abadde mu ggwanga lya Rwanda ng’agenze kulambula Ezzike lino erigambibwa okuba nga linyweddemu lyongedde okutabuka okukkakkana nga limulemesezza okulikuba ekifananyi
Eyabba Pizza akomyeewo
Omusajja eyabba pizza okuva mu kifo ekiribwaamu emyaka 13 emabega agikomezzaawo Omusajja ono agambye nti pizza eno weyagibbira nga mwavu muzibu ate ng’omwana we omu gweyalina muyala Omusajja ono kati eyagaggawala agamba nti bulijjo kimulumiriza nga y’ensonga lwaki akomezzaawo pizza eno.
Omu China yetemyeeko omukono
Omuvubuka abadde akooye okubeera ku kompyuta ate nga yagimanyiira yetemyeeko omukono. Omuvubuka ono ow’emyaka 19 okuva mu China alese akabaluwa mu kisenge kye ng’agamba nti asazewo okwetemako emikono okusobola okwewala okukwata ku kompyuta Omuvubuka ono okumanya abadde akooye n’omukono gweyetemyeeko afubye ogukweka kyokka nga gumaze […]
Kkapa egabula omwenge
Waliwo omusajja enzaalwa ya Bungereza atendese embwa ya muganzi we okumuwereeza bbiya Omusajja ono amanyiddwa nga Ben yasooka kukolawo mukwano n’akabwa kano ng’ayita nako buli wamu Kati azze agiyigiriza mpola okuggulawo firiigi n’ejjayo bbiya n’emuwereeza era nga mwattu omulimu egukola bukwakku