Olwali

Kkapa emukubye empi

Ali Mivule

March 10th, 2015

No comments

Mu ssaza lye Tenesse erya America, kkapa epakyizza omukyala empi lwakugezaako kujogeeza Omukyala ono abadde akozesa tekinologiya ow’omulembe okumanya olulimi lwa kkapa nga naye bw’agiddamu Mu kuddamu omukyala ono alabika anyizizza kkapa kwekumukuba

Afukidde enjuki ataawa

Ali Mivule

March 4th, 2015

No comments

Omusajja afuse ku muzinga gw’enjuki alifa tazzeemu kukikola . Enjuki zino zimutabukidde okukkakkana nga zimulumye kamaanya Ono abadde mu motoka etambula nebayimirira okufuka. Enjuki zino nno z’atankudde tezikomye ku yye naye n’okulumba abalala ababadde bakyaamye mu nsiko.   Bibadde mu Vietnam

Lwaki toyagala mukyala wo- sasula

Ali Mivule

March 3rd, 2015

No comments

Omusajja agambye mukyala we nti takyamwagala atanziddwa Kiddiridde omukyala okumuwaaba ng’agamba nti ekigambo kino kyamukubye wala era nekimuwa ebirowoozo bingi. Kkooti egambye nti kituufu omusajja yakoseza ebigambo ebikambwe ennyo ebyaleka mukyala we n’ebirowoozo kko n’okunyigirizibwa. Bino bibadde mu ggwanga lya Turkey.

beesazeeko obusajja okugenda mu ggulu

Ali Mivule

February 28th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Australia, waliwo omusajja akakasizza basajja banne abalala 400 okwesalako ebitundu by’ekyama mbu lwebanagenda mu ggulu Omusajja ayogerwaako Ram Rahim Singh alina abagoberezi obukadde 50 era ng’azannya ne firimu Omusajja ono wetwogerera nga poliisi emunoonya

Obusajja bwe bubuze

Ali Mivule

February 26th, 2015

No comments

Omusajja asanze omuwala omubalagavu mu sawuna n’amunywegeera agenze okuzuukuka ng’ebitundu bye eby’ekyama tabirabako. Kigambibwa okuba nti omuwala gw’anywegedde  abadde alina eddogo eritutte ebitundu bye ebyekyama n’abiguza abasawuzi Bino bibadde mu kibuga kya Russia ekikulu Moscow ng’omusajja ono kati asiiba akaaba

Kkapa ewuga

Ali Mivule

February 25th, 2015

No comments

Wali olabye ku kkapa ewuga Kakati mu ggwanga lya Turkey waliwo ka kkapa akatawoomeddwa kukuba dduba nga kasula katudde Ka Kkapa kano akayitibwa Ruby buli omu abadde amanyi nti kanabbira kyokka nga mu bukkakkamu kalengejjera ku ngulu nga konna bwekazibiriza obuuso mu ngei y’okunyumirwa  

Choclate azza obuto azze

Ali Mivule

February 24th, 2015

No comments

Bannasayansi mu Bungereza bakoze ka Choclate nga bw’okalya odda buto. Ka choclate kano kakutandika okutundibwa omwezi ogujja Ka choclate kano omuntu bw’akalya olususu olubadde lutandise okuyiika lujja lwekwata era nerutereera

Enviiri zibizadde

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Wandikoze ki ssinga omuntu akusala bubi enviiri oba katugambe okukusiba Kati mu ggwanga lya America, omusajja gwebasaze obubi enviiri avudde mu mbeera n’ayasayaasa saaluuno yonna mw’alaze Allan Becker tasiimye bwebamusaze nviiri mu ngeri gy’atayagala  kyokka ng’ate bamusaba ssente Ono olumaze n’atambula era poliisi egenze okutuuka […]

Ono talya mbizzi asula atudde

Ali Mivule

February 23rd, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Amerika waliwo omusajja ataddewo likodi y’okulya ebifi by’embizzi mu kaseera akatono. Matt ‘Megatoad’ Stonie alidde ebifi ebinene ddala 182 mu ddakiika  5 zokka. Omusajja ono nga afubutuka mu kibuga Florida nga era ategezezza nga bwekisalidde mu ntamu kubanga awoomerwa nyo enyama y’embizzi.

Omukazi tasaaga

Ali Mivule

February 21st, 2015

No comments

Waliwo omukyala akwatiddwa lwakugezaako kulumako bba obusajja Omusajja webamugwiriddeko abadde atamidde kyokka ng’omusajja abadde ayombesa omukyala obutaggwa kumusaba ssente. Ono wa mu America