Olwali

Obumonde bubizadde

Ali Mivule

February 2nd, 2015

No comments

Mu ggwanga lya America, omusajja asudde obumonde mu kabuyonjo n’ezibikira, akubidde abaziinyamooto okumuyambako oluvanyuma lw’amazzi okubimba Omusajja asoose kuyita poliisi nga tejja kwekuyita abaziinyamooto. Abaziinyamooto bwebatuuse ku kizimbe bagobye buli omu abadde ku goloofa kw’asula kyokka yye

Omuzimu gukaabye

Ali Mivule

January 30th, 2015

No comments

Omusajja eyafa edda akimazeeko abantu bw’azze okwetaba ku lumbe lwe ng’abwakuba omulanga omuzibu Guo Liu, 45 nga nzaalwa ye China yafa emyezi esatu emabega bweyali agenze awutu ne mikwano gye Omusajja ono gw’oyinza okuyita omuzimu azze yefuuyira ka sigala era abantu nebabuna emiwabo  

Ekiyenje kibizadde

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

Ebiyenje bitawaanya bangi nga n’ababeera mu Taiwan bibalumba Kati omukazi abadde ayagala okutta ekiyenje n’akikumako muliro amalirizza effumbiro alyokyezza Omuliro guno alese gwaaka n’ateekako kakokola tondeka nyuma.

Kkapa ezuukidde

Ali Mivule

January 28th, 2015

No comments

Mu Florida kkapa eyatomerwa emmotoka n’efa amazeeko abantu eby’ewungula bw’efubutuse mu ntaana nga nnamu nnyo Ebadde amaze ennaku ttaano mu ntaana. KKapa eno emanyiddwa nga Bart yasangibwa mu kitaba ky’omusaayi wiiki emu emabega era okugituusa mu ddwaliro abasawo nebategeeza nga bweyali efydde Okulabikako, kkapa eno […]

Kkapa eraalidde

Ali Mivule

January 26th, 2015

No comments

Kubamu akafaanyi ng’olabye munne ng’alina w’alaalidde. Bangi baseka nga tebalowooza na kukyakuyamba banaabwe Tewali njawulo ku bisolo nga bwegubadde ku mbwa erabye kkapa ng’eralidde mu kikebe. KKapa eno yabadde eringiza mu kikebe olwo omutwe negulemerayo. Embwa yasoose n’efa enseko kyokka oluvanyuma yadduse n’eduukirira kkapa eno […]

Eyagenda mu geyeena asanzeeyo Gaddafi

Ali Mivule

January 23rd, 2015

No comments

Omukyala agamba nti yafa n’azuukira agamba nti yatuuseeko mu geyeena n’sangayo omuyimbi Witney Houston ne Muammar Gaddafi. Sisita Linda agambye nti yatambudde ne yeesu n’amulagira okuzza obubaka eri abo abakola Witney ne Gadhafi byebaali bakola.

Alya mmere ya mbwa

Ali Mivule

January 23rd, 2015

No comments

Waliwo omusajja eyava ku mmere y’ensi nga yye alya mmere ya mbwa. Phillip Wells kati bamukozesa kugezesa mmere ya mbwa ekoleddwa oba nungi oba nedda. Abasawo  mu America balaze okutya nti omusajja ono yandituuka natandika okweyisa ng’embwa omuli n’okuboggola.

Ono asanyusa bulala

Ali Mivule

January 20th, 2015

No comments

Omusajja ayagadde okusanyusaamu mukyala we bw’ayiye obupiira bw’abaana nebubuna enju yonna Omusajja ono apangisizza motoka namba ereese obupiira buno n’ebiyiwa ewaka Omukyala ono mu kukomawo asoose kuggula garage ng’ekubyeeko obupiira buno era oluyingidde mu nyumba kimuweddeko omupiira buno bwebutandise okumuvuga nga mutabani we ne bba […]

TV agivuubise mu sikaati

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Abantu abalimu obubbi tebalemererwa. Mu ggwanga lya Costa Rica , waliwo omukyala akwatiddwa ku katambi ng’avubiika TV mu sikaati. Omukyala ono abadde agenze mu dduka ly’ebyamasanyalaze asoose kwebuzabuuza ng’agula era ageze tebamulaba n’asitula TV n’agikuba mu sikaati. Omukyala ono amaze okukwatibwa kyokka ng’agaanye okunyonyola abapoliisi […]

Ebibe bikanze omukadde

Ali Mivule

January 16th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Germany, namukadde alengedde ebibe nga byegadangira mu nnimiro ye obutamala asazeewo kubiyingizaamu poliisi. Peter Komoll,agambye nti eky’ebibe bino okutwaala essaawa empanvu kimutiisizza era ng’alowoozezza nti oba bibadde byeremeddemu. Abapoliisi bbo nno tebatawaanya kujja era mu nseko enyingi bamusabye  akubire abakungu mu nsonga […]