Olwali

Enfudu eyabula etuuse

Ali Mivule

April 20th, 2015

No comments

Enfudu eyabula okuva ku mukama waayo kyaddaaki emutuseeko. Enfudu eno ey’emyaka 109 emaze omwaka mulamba ng’enoonya mukama waayo Nanyini nfudu eno  Wendy Stokes ow’emyaka 74 agambye nti enfudu eno yamubulako nga bali mu nnimiro kyokka nga musanyufu nti ekomyeewo nga teriiko buvune

Kasuku yetabulidde chai

Ali Mivule

April 17th, 2015

No comments

Ekinyonyi kya Kasuku ekyamanyiira okunywa ka chai ka kaawa kata kikole akabenje oluvanyuma lw’okugezaako okumwetabulira Kasuku eno ekutte ekikopo kya mukama waayo mg’agenda mu maaso n’okuvuga era omukyala ono mu kutya atadde sitelingi emotoka n’eva ku kkubo kyokka nga tewali akoseddwa Bibadde mu kibuga Pennsylvania.

KKapa eguumye omuceere

Ali Mivule

April 10th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya Japan ka kkapa akawoomerwa omuceere okira emmese kasizza abantu enseko. Ka kkapa kano kakeera kuguuma ku kyuuma ekifumba omuceere nga kati tekyakyazannya Kano nno omuceere gakuliirako nakati

Ka semufu kamusse

Ali Mivule

April 6th, 2015

No comments

Mu ggwanga lya argentina, omusajja eyelippye ku ka ssemufu n’awaya nako akaboozi k’ekikulu agudde eri n’afa Ka semufu kano asoose ku kakola n’akasiiga ne lipstick ku mimwa kko n’okukambaza wiivu era neyekola ekigenyi Kigambibwa okuba nti ka semufu kano kabaddemu empiso mu bigoye ebyakakoze era […]

Alidde bbi mu bantu

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Omusajja avunaanibwa okubba banka akimazeeko omulamuzi bw’ajjeemu empale neyeyambira mu kkooti n’oluvanyuma obubi bwe n’abulya Mu kutya omulamuzi ayimirizza kkooti okumala akabanga. Bino bibadde mu ggwanga lya California ng’omusajja omunaanibwa agambibwa okubaamu Katwe wungu.

Azaaliddwa ne namba 12 mu kyenyi

Ali Mivule

March 27th, 2015

No comments

Waliwo omwana azaaliddwa ne nnamba 12 ng’emwetimbye mu kyenyi Omwana ayogerwaako azaalidwa mu ggwanga lya South Africa mu kibuga Johanesburg nga n’abasawo tebannaba kutegeera kivuddeko mbeera eno Ekyewunyisa nti omwana ono ali bulungi ddala nga talina yadde bulwadde

Bamukyaaye lwa bifananyi

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

  Omu ku bannabyabufuzi mu ggwanga lya Ukraine akyaaye mukyala we lwa bifananyi by’amuwerezza okumusikiriza Karen yekubisizza ebifananyi nga yeemolera ku motoka ye era n’ebimu n’abissa ku kitimba Omusajja ono ensonga azituusizza mu kkooti ng’ayagala babawuule nga mukyala we amulanga kumuswaza

Gwebakubye empiso okufuna akabina afudde

Ali Mivule

March 24th, 2015

No comments

Omukyala agenze okumukuba empiso egezza akabina omulundi ogw’okuna afudde bufi Reid ow’emyaka 34 ng’abadde mutuuze mu Dallas Texas agenze mu saluuni bulijjo mw’alaga okwongera ku kabina ke Bannyini saluuni eno olulabye nga bitabuse nebadduka kyokka nga babbye essimu ye ne wallet ye.

Bamusibidde mu keesi

Ali Mivule

March 18th, 2015

No comments

Kakati abantu abagaala abantu baabwe bbo bakyaliwo Waliwo omusajja enzaalwa ya bufaransa agezezzaako okukusa mukyala we okumuyingiza amawanga ga bulaaya. Omusajja ono nga mukyala we nzaalwa ye Russia, amupakidde mu keesi n’akunnumba Abasirikale abalengedde amagulu g’omukyala nga galingiza beebamuyimirizza era okuggulawo, omukyala n’abuukamu

Beeyambudde kutunda kkampuni

Ali Mivule

March 12th, 2015

No comments

Mu kibuga Newyork, kkampuni ebadde ekyuusa erinnya esazeewo kukikola ng’abagikulira bonna beyambula nebasigala buswa olwo nebasimab enkalala okutunda erinnya eppya Bano banoonyezza engeri gyebayinza okutunda erinnya eppya nga tebagiraba kwekusalawo owkeyambula Wabula tebibadde byangu, anti abakozi bamaze ebbanga nga bakola exercise okusobola okulabika obulungi nga […]