Skip to content Skip to footer

Abatembeeyi bagobeddwa awanabeera paapa

Gavumenti eweze abatembeeyi mu bifo paapa gy’agenda okuyita bw’anaaba akyadde mu Yugana ku nkomerero y’omwezi guno

Okusinziira ku nteekateeka efulumiziddwa, ebimu ku bifo paapa mw’agenda okuyita kwekuli  Munyonyo, e Namugongo ne Nalukolongo.

Minisita akola ku guno na guli Tarsis Kabwegyere agambye nti basazeewo okuwera abatembeeyi mu bifo bino olw’ensonga z’eby’okwerinda

Kabwegyere agambye nti tewali mutembeeyi yonna agenda okukkirizibwa mu bifo bino yadde okubiriraana.

Ono era agambye nti okuyoyoota ebifo bino kugenda mu maaso era ng’ebulayo ssabiiti emu paapa atuuke, buli kimu kijja kuba kiwedde

Leave a comment

0.0/5