
Kkooti ya City Hall eyisizza ekiwandiko ekiragira amaka omukuumirwa abaana e Naguru okuleeta omwana ow’emyaka 15 agambibwa okutta munne.
Ekiragiro kino kiyisiddwa omulamuzi w’eddaala erisooka Moses Nabende.
Omuwala ono agambibwa okutta omwana wa mulirwanwa ow’obulenzi ow’emyaka 5, abadde wakuleetebwa mu kkooti olwaleero naye tekikoleddwa ekiwalirizza omulamuzi okuyisa ekiragiro.
Wabula avunanyizibwa ku by’okutambuza abaana bano Jafar Ssebunya yewozezzaako n’ategeeza kkooti nti omwana abadde mulwadde naye omulamuzi tekimulobedde kuyisa kibaluwa kino.
Kati omulamuzi alagidde abalina obuvunanyizibwa ku maka g’abaana bano okumutwala mu kkooti nga 25 January omwaka guno asobole okutegeera okunonyereza wekutuuse.
Omwana ono omusango yaguddiza kiwaatule wano mu Kampala.