Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Ba ma seeka basabye okweyimirirwa

Bana ku bantu 18 abaakwatibwa nga bavunaanibwa okubeera emabega w’okutemula abasiraamu basabye okweyimirirwa Bano nga baluganda kuliko Sheikh Ssiraje Kawooya, Sheikh Rashid Jjingo, Sheikh Abdu Salam Ssekayanja, ne Sheikh Twaha Ssekitto Nga bayita bannamateeka baabwe aba Sserwadda and Company Advocates bagamba nti ddembe lyaabwe okweyimirirwa era nga tebazzangako musango gwonna okuleka okukyalira munaabwe Bano nno bavunanibwa wamu n’akulira…

Read More

Mufti asattizza Masaka

E Masaka, bunkenke ng’abaayo betegekera okukyala kwa Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje Mufti wakulemberamu okusaala Juma ku muzikiti omukulu ng’akabonero akalaga obumu. Wabula abakulembeze b’abasiraamu baweze nga bwebatajja kwetaba mu kusaala kuno kubanga kandiba akakodyo okubanyakulako omuzikiti gwaabwe Disitulikiti Khadi we Masaka Sheik Swaibu Ndugga agambye nti era kyannaku okuba nti Mubajje agenda kukyaala waabwe naye…

Read More

Bi Tuleera bitomeraganye

Bi tuleera bina bikonaganye nebireka omuntu omu nga mukalu wajjo Akabenje kano kabaddi Namataba ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja Akabenje kano kigambibwa okuba nga kavudde ku dereeva wa ki tuleera abadde akyuusa omupiira gwe mu kkubo okukoonwa ki tuleera ekirala Atwala poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka e Namataba Andrew Iwumbwe omugenzi ategerekese nga Joseph Mukasa…

Read More

Eyabadde ayekeera Omukama agguddwaako omusango

Omulangira eyabadde ayagala okuwamba entebe y’omukama we Tooro agguddwaako emisango gy’okukuma mu bantu omuliro David Kijanangoma owe Tooro yakwatiddwa olunaku lwajjo ne Baganda be okuli Jubilee Kamara ne Allan Kawaya Kagoro Kijanangoma yaleese akasattiro mu bukama bwe Tooro bweyerangiridde ku bukulu ng’alanga omukama Oyo Nyimba obutakola mirimu bulungi. Atwala disitulikiti ye Kabarole Geoffrey Kaheebwa agambye nti omulangira ono…

Read More

Otunnu siwakuddamu kukulira UPC

Akulira ekibiina kya UPC Dr Olara Otunnu alangiridde nga bw’atagenda kuddamu kwesimbawo ku bwa pulezidenti bwa UPC Ono bino abirangiridde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina Kino kijjidde mu kaseera ng’ebula myezi mitono okulonda mu ggwanga kubeewo Otunnu bukyanga alya bukulu abadde ali mu ntalo ne banna UPC Otunnu agambye nti amaanyi kati wakugassa ku kawefube asinga ow’okusigukuluula pulezidenti…

Read More

Senyiga ajja lumu mu myaka etaano

Kizuuliddwa nti abantu abakulu bafuna ssenyiga omulundi gumu mu buli myaka etaano. Bino byesigamiziddwa ku kunonyereza okukoleddwa mu ggwanga lya China Bannasayansi bano bagambye nti yadde abantu bawulira ng’abalina ssenyiga emirundi mingi, aba asobola okugenda omuntu nebwa’atamira ddagala Bano batunuulidde abantu 151 abali wakati w’emyaka 7 ne 81 Kati bannasayansi mu mawanga amalala batandise okunonyereza okulaba oba bikola ne…

Read More

Typhoid- amazzi g’obwereere gazze

Minisitule y’ebyobulamu ng’eri wamu n’aba mazzi  yakussaawo amazzi g’obwereere eri bannakibuga bonna Taapu ezisoba mu 40 zeezigenda okussibwaawo ng’ate teziggalwa kale ng’abantu bakusena amazzi nga bwebagaala Kamisona akola ku by’okulondoola endwadde ebigwaawo Dr.Monica Musenero agambye nti kino bakikoze nga bali wamu n’aba mazzi okuyamba abantu okufuna amazzi amayonjo Taapu zino zakussibwa mu katale ke Nakasero, mu paaka enkadde…

Read More

Abe Mulago bassizzaamu ebyuma

Ab’eddwaliro lye Mulago batandise okussa ebyuma by’omulembe mu ddwaliro Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira agambye nti bafunye ekyuuma kya sikaani ekibadde kibafuukidde ensonga nga kati kikola n’ebyuma ebirala. Ensimbi ezikozeseddwa okugula ebyuuma zeezimu ku bukadde 40 eza doola ezeewolebwa okuddabiriza eddwaliro lino. Kusaasira agambye nti bbyo eby’okuddabiriza eddwaliro bitambula bulungi nga bali kumpi okumala ebizimbe ebibiri byebasookerako Ono…

Read More

Omuliro gukutte ekizimbe kya Eugene

Omuliro gukutte ekizimbe kya Eugene House wano mu Kampala. Kigambibwa nti omuliro gutandikidde ku mwaliriro ogwokubiri olwo negusaasaana . Omu ku bakuliddemu abalwanyisa omuliro guno Okobo Godfrey ategezezza nga bwewatali muntu yenna akyakwamidde mu kizimbe kino. Agamu ku maduuka agakoseddwa kuliko erya Bata nga lino litunda ngatto nga era twogeddeko n’abamu ku basuubuzi.

Read More

Abavubuka batabuse ku bagaala okuvuunika Oyo

Abakulembeze b’abavubuka mu bukama bw’ e Tooro besamulidde ddala eby’okwagala okujja obwesige mu mukama waabwe Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV. Abavubuka mu kibiina kyabwe ekya  “amacumu n'ebitara” bagamba  Oyo ye Mukama we Tooro omutuufu. Kino kiddiridde omulangira  Kijjanangoma  okutegeeza nga Oyo emirimu bwegimulemye era neyerengirira ku bukama bwe Tooro. Ssentebe w’abavubuka bano  Kasaija Edward agamba basaanye kwemalira…

Read More