Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Abayizi be Makerere batabuse- mutuwe ssente zaffe

Abakulembeze b’abayizi ne ssenkulu w’ettendekero ly’e Makerere besozze akafubo oluvanyuma lw’abayizi okwekalakaasa. Abayizi amakya galeero bakedde kwekalakaasa  olw’etteeka ly’okumalayo ebisale byonna  mu wiiki 6 ezisooka nga olusoma lwakatandika nga n’abasasulirwa gavumenti  bemulugunya ku nsako yabwe okulwawo okubaweebwa. Wabula amyuka ssenkulu w’ettendekero lino ategezezza nga ye bwagoberera amateeka geyasangawo nga tanatwala kifo kino. Dumba ategezezza nga ezimu ku nsimbi…

Read More

Teri Kampeyini wabweru we Makerere

Poliisi eweze abesimbyewo ku bukulu bw’abayizi ku ttendekero lye Makerere obutakuba kampeyini  wabweru w’ettendekero lino.   Kino kiddiridde abatuuze mu bitundu okuli  Wandegeya, Kikoni ,Sir Apollo Kaggwa ne  Bwaise n’awalala okwekubira enduulu ku bayizi ababononera ebintu byabwe buli wewabaawo enkungaana z’okunonya akalulu.   Aduumira poliisi ye Wandegeya Jackson Muchunguzi agamba kampeyini era tezirina kusukka ssaawa 1 eyakawungeezi olw’ebyokwerinda.   Abayizi b’ettendekero…

Read More

Besigye aboggodde ku muyambi we

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr. Kiiza Besigye atabukidde gavumenti olw’okulemererwa okuyamba omuyambi we Sam Mugumya okufuna obwenkanya oluvanyuma lw’okukwatibwa. Mugumya yakwatibwa omwaka oguwedde mu ggwanga lya Congo nga era akyaali mu mikono gy’ab’obuyinza mu ggwanga lino. Besigye agamba bukyanga Mugumya akwatibwa mu November w’omwaka oguwedde, taleetebwanga mu kkooti nga ate buvunanyizibwa bwa gavumenti okulaba nga abantu…

Read More

Seya aviiriddemu awo ku bya MTN

Eyali meeya wa Kampala Al-Nasser Ntege Sebaggala aviiriddemu awo mu musango gweyatwala mu kkooti ng’awakanya ekya MTN okukozesa eddoboozi lye Ekyewunyisa nti ate yye gwebalagidde okusasula MTN olw’ensimbi z’eyonoonye mu musango Omulamuzi wa kkooti ekola ku byobusuubuzi Christopher Madrama agobye okusaba kwa Ssebagala nti asasulwe obuwumbi 8 olwa MTN okukozesa eddoboozi lye mu bukyaamu Omulamuzi agambye nti SSebaggala…

Read More

Omubaka akwatiddwa

Omubaka akiikirira abantu be Bukholi mu bukiikaddyo akwatiddwa ku bigambibwa nti alina ky’amanyi ku bayisiraamu abazze battibwa mu Busoga Steven Dede akwatiddwa wamu ne ssente we Namayingo Dan Wanyama Bino byonna birangiridde senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura bw’abadde ayogerako eri bannamawulire .

Read More

Minisita atabukidde abanoonya

Minisita w’empisa n’obuntu bulamu Faaza Simon Lukodo nate azzeemu okutabukira ba malaaya, ababagula wamu n’abantu abatambuza ebifaananyi wamu n’obutambi bwobuseegu. Bw’abadde ayogerako eri banamawulire Father Lokodo agambye nti nga bakolerera wamu ne poliisi, bataddewo ekibinja ky’abakwasisa amateeka abagenda okukola ebikwekweto ku bantu bano. Father Lukodo era akakasizza nti abantu 49 beebakakwatibwa mu bikolwa eby’obuseegu era nga bakuumirwa…

Read More

Ekidyeri kya MV Kalangala kizzemu okukola

Ssanyu gyerere eri abatuuze n’abasuubuzi ku kizinga ky’e Kalangala oluvanyuma lw’ekidyeri kyabwe ekya MV Kalangala okuddamu okukola. Ekidyeri kino kyaali kyaafa kati omwaka ogusukka mu mulamba nga kibadde kiddabirizibwa ku mwalo gwe Mwanza mu ggwanga lya Tanzania. Omwogezi wa minisitule y’ebyentambula  Susan Kataike agamba basobodde okukikanika nga kati kikolera ddala bulungi Kataike alina esuubi nti ebyentambula byakutumbulwa nga…

Read More

Pulezidenti Museveni alabudde ab’e Bugweri obutaddamu Kulonda Katuntu

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni alabudde abalonzi okuva e Bugweri obutaddamu kulonda Abdul Katuntu ku bubaka bw’ekitundu kino mu kulonda okujja. Bino pulezidenti abyogedde ayaniriza abawagizi b’ekibiina kya FDC abasoba mu 600 abasaze eddiiro nebegatta ku NRM ku mukolo ogutegekeddwa eyali omumyuka wa ssabaminisita w’eggwanga  Kirunda Kiveidhinda ku ssomero lya Idudi Muslim primary school. Bano abalubudde nti kebaddamu…

Read More