Akakiiko ka palamenti akanonyereza ku nsonag z’eggaali y’omukka kakuddamu emirimu olunaku lw’enkya
Akakiiko kano akakulirwa omubaka Eng Kafeero Sekitoleko kakusisinkana abakugu okuva mu kkampuni ya bugirimaani eya Gauff consultants Uganda Ltd.
Eng Sekitoleko agamba nti bano beebasooka okwetegereza omulimu guno nga byebazuula zijja kubayamba nnyo
Akakiiko kano kaamaze dda okusaba nto kongerweeyo wiiki ssatu okumaliriza omulimu gw’okuzuula emivuyo…
Amaggye g’eggwanga aga UPDF gawaddeyo abasawo 50 okuyambako mu kulwanyisa obulwadde bwa Typhoid
Aduumira amaggye g’eggwanga General Katumba Wamala agamba nti abasawo bano bakuyambako mu kukukola ku muwendo gw’abalwadde omunene gwebafuna
Yye akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti obuzibu bwa Typhoid bukyaali bw amaanyi n’asaba nti buli asobola abayambeko
Mu ssaza lye Tenesse erya America, kkapa epakyizza omukyala empi lwakugezaako kujogeeza
Omukyala ono abadde akozesa tekinologiya ow’omulembe okumanya olulimi lwa kkapa nga naye bw’agiddamu
Mu kuddamu omukyala ono alabika anyizizza kkapa kwekumukuba
Eyali mukomukulembeze w’eggwanga lya Ivory Coast Simone Gbagbo asibiddwa emyaka 20.
Nakyaala ono avunanibwa kwetaba mu butabanguko obwali mu ggwanga lino oluvanyuma lw’okulonda kwa 2010.
Mukyala Gbagbo abadde avunanibwa gwa kunyomoola byakwerinda bya ggwanga lino.
Ono nga bw’atandika okumanyiira embeera y’ekkomera, yye bba era eyali pmukulembeze w’eggwanga lino Laurent Gbagbo alindirira kuvunanibwa kkooti y’ensi yonna oluvanyuma lw’okugaana okuwaayo…
Okuwulira omusango gw’ababaka ba palamenti 4 abaagobwa mu kibiina kya NRM kugudde butaka olw’omu kubalamuzi Christine Kitumba okuba nga mukosefukosefu.
Abana bano bawakanya ekya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba mu palamenti oluvanyuma lw’ekibiina kyabwe okubanabira mu maaso.
Bano kuliko Theodore Sekikubo (Lwemiyaga), Muhammed Nsereko (Kampala Central), Wilfred Niwagaba (Ndorwa East) ne Barnabas Tinkasimire (Buyaga County).
Omwaka oguwedde kkooti eno…
Ab’ekibiina Kya DP balangiridde olukungaana lw’abakakiiko akafuzi olw’okubeerawo okuva ku lwokuna okutuusa olwomukaaga lwa ssabbiiti eno.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Matthias Nsubuga agamba baakuteesa ku birina okugobererwa nga betegekera okulonda kwa 2016 oluvanyuma bikakasibwe.
Mu nsisinkano eno , baakuteesa ku ngeri gyebagenda okutegekamu akamyufu k’ekibiina era basuubirwa okukola enongosereza mu ssemateeka w’ekibiina olwenkyukakyuka mu by’obufuzi by’eggwanga.
Ebyo nga bikyali…
Embeera ekyaali ya bunkenke ku ttendekero ly’e Kyambogo oluvanyuma lw’abamu ku bayizi okukeera okwekalakaasa.
Akawungeezi akayise waliwo omuyizi eyafumitiddwa ekiso oluvanyuma lw’okulwanagana wakati w’abawagizi ba munna FDC Julius Nsubuga ne Ian Kafoko owa NRM nga bano besimbye ku ky’obukulembeze bw’abayizi.
Abayizi balumbye ekizimbe okutuula abatwala ettendekero lino nga baagala abaabadde emabega w’obulumbaganyi buno bakwatibwe.
Kino kiwalirizza poliisi okubiyingiramu…
Ebintu byongedde okwononekera abakulira ekkolero ly’emifaliso erya Crest Foam
Minisita w’ebigwa tebiraze n’ebibamba Hillary Onek alagidde abalikulira bonna bakwatibwe olw’omuliro ogwakutte nemufiiramu abantu 6.
Kino akisazeewo nga alambula ekkolero lino oluvanyuma lw’okukizuula nti ekkolero tekuli makubo gayitwamu nga omuliro gukutte sso nga era babadde bookyera n’ebyuuma munda mu kkolero lino ekimenya amateeka.
Nga enkuba bwetamanya nyumba mbi, minisitule…
Poliisi kyadaaki amalirizza okuzikiza omuliro ogwaakutte kkampuni y’emifaliso eya Crestfoam nga bigenze okuggwa ng’abantu mukaaga kikakasiddwa nti bafudde
Emirambo gy’abantu bano gibadde giyidde nnyo nga kizibu okubategeera
Akulira poliisi enziinya mooto , Joseph Mugisa agamba nti kati emirambo gya bano gigenda kwekebejjebwa okusobola okugiwa ab’enganda zaabwe
Ekiri ku kkampuni eno miranga ng’abakozi n’abenganda bagenda mu maaso n’okulajaanira abaabwe
Bbo…
Omukulembeze w’eggwanga lya Zambia Edgar Lungu wakulongoosebwa edokooli.
Lungu eyalondebwa mu January w’omwaka guno yazirise bweyabadde ayogerako ,eri abantu ku mikolo gy’abakyala olunaku lwajjo mu kibuga ekikulu Lusaka
Omukulu ono aludde nga yegaana nga bw’atali mulwadde yadde ng’amawulire gaali gafulumye
Lungu ow’emyaka 58 yeeyadda mu bigere bya Michael Sata eyafa omwaka oguwedde.