Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Kigongo ne mukyala we bategeraganye

Ssentebe wa NRM Alhajji Moses Kigongo kyaddaaki ategeraganye n’eyali mukyala we Olive Kigongo okufuna omuntu anabala ensimbi eziri mu by’obuggagga byaabwe nga tebannalowooza ku kugabana Mu nteseganya ebikubiriziddwa omulamuzi Yorokamu Bamwine, ababiri bano era bategeraganye okufuna obubazi w’ebitabo okuyita mu banka gyebatereka ensimbi okuli Barclays, standard Chartered ne Bank of Baroda era ebinavaayo babyanje nga 8…

Read More

Kabuyonjo za city square ziggaddwa

Ekitongole kya Kampala capital city Authority kirangiridde nga bwekiggadde kabuyonjo zaayo ku City Square. Kino kikoleddwa okusobozesa omulimu gw’okuziddabiriza okugenda mu maaso. Amyuka atwala ebyobulamu mu KCCA Dr. Daniel Okello agamba kabuyonjo zino zaazimbibwa emyaka 40 emabega ng’abantu ssi bangi kyokka nga bazze beyongera Ono agambye nti zzo ezaggalwa edda nazo zakuggulwa akadde konna

Read More

Doola epadde n’ekaabya abantu

Abasuubuzi baakuno batandise okuloza ku bulumi bwa doola okulinya nga siringi yyo eyongera kunabuuka. Akawungeezi akayise  doola ya amerika  y’abadde egula  siringi  3,000 . Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasuubuzi bomu Kampala ekya KACITA Everest Kayondo  agamba abasuubuzi banji bandisuulawo bizinesi kubanga ebyamaguzi n’ensimbi zopupangisa babisasula mu doola. Kayondo  agamba embeera yandiyongera okwononeka mu kulonda kw’omwaka ogujja olwa gavumenti okwongera…

Read More

Abe Kyambogo batabuse- Muntu abiyingiddemu

Ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Maj. Gen. Mugisha Muntu ategezezza nga bwebagenda okulondoola embeera ku ttendekero  ly’e Kyambogo nga abayizi betegekera  okulonda omukulembeze waabwe.   Muntu agamba baagala kulaba nga okulonda kuno kubeera kwamazima.   Muntu n’omubaka w’abavubuka okuva mu bugwanjuba bw’eggwanga  Gerald Karuhanga  bebannabyabufuzi abasoose okutuuka ku poliisi ya Jinja Road nga baagala muyizi munaabwe Gilbert Mugabi eyakwatiddwa ayimbulwe…

Read More

Palamenti etabukidde bannamawulire

Palamenti eragidde emikutu gy’amawulire gyonna okusindika bannamawulire abalala abanasaka aga palamenti bagyeyo abo bonna abamazeeyo emyaka egisukka mu 5. Mu bbaluwa eyawandiikiddwa nga  9th March 2015, omuwandiisi wa palamenti Jane Kibirige agamba kino kigendereddwamu kulaba nga tewabaawo kyekubira yenna mu mawulire agasakibwa mu palamenti. Kibirige agamba bannamawulire ababadde mu palamenti okuva mu 2009 balina okuva mu palamenti…

Read More

Alipoota ku crestfoam tennaba kufuluma

Poliisi y’akukwata abakulira ekkolero ly’emifaliso erya Crest Foam ku muliro ogwakutte ekkolero lino omwafiiridde abantu 6 nga bamaze okufuna alipoota okuva eri minisitule y’ebyemirimu n’entambula ku kizimbe ekyabengeye.   Olunaku olweggulo minisita w’ebigwa tebiraze n’ebibamba Hillary Onek y’alagidde bano bakwatibwe olw’okulemererwa okutuukiriza ebirina okugobererwa mu kwewala omuliro.   Wabula omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba nti baakuyita…

Read More

Ebya Crestfoam bituuse mu palamenti

Ensonga z’omuliro ogwakutte kkampuni ya Crest Foam abantu mukaaga bamale bafe etuuse mu palamenti. Kati abakiise b’abakozi mu palamenti bagaala wabeewo okunonyereza ku muliro guno era alipoota eyanjibwe sso ssi kussibwa mu nkwaawa Ng’ayogerera mu palamenti olweggulo lwaleero, omubaka w’abakozi Arinaitwe Rwakajara agambye nti abantu omukaaga omulamba okufa tekisaanye kutwalibwa ng’eky’olusaago. Ono awagiddwa babaka banne okuli Elijah Okupa,…

Read More

Amayinja gamubisse

Omusajja ow’emyaka abiri mu etaano abikiddwa amayinja n’afiirawo Enjega eno egudde ku kyaalo Butale ekisangibwa e Masaka . Ssentebe w’ekyalo kino Herman Jagwe omugenzi amumenye nga Swaibu Ssentamu. Ono agamba nti ayitiddwa abalombe abalala abalabye amayinja nga gakulukuta Jjagwe agambye nti ekirombe kino kirabika bakisimye nnyo nga kitandise okunafuwa Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Serunjogi akakasizza amawulire gano n’ategeeza…

Read More

Abasuubuzi ewa Kisekka bawangudde

Kkooti eragidde nti abakulembeze mu katale ka Kisekka basasule abasuubuzi olw’okumenya obuyumba bwaabwe Omulamuzi wa kkooti enkulu Lydia Mugambe agambye nti bano balina okusasula obukadde 55 eri abafiirwa ebintu byaabwe n’engassi ya kkooti Omulamuzi agambye nti kkooti yali yayisa ekiragiro ekiyimiriza okusenda amaduuka ng’abakulembeze banyooma kkooti Kati ku bukadde 55, 25 zakugenda eri abasuubuzi ate 30 zigende eri…

Read More

Sikaani ezzeemu okukola e Mulago

Ekyuuma kya sikaani e Mulago kyaddaaki kizzeemu okukola oluvanyuma lw’ebbanga nga tekikola Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira agambye nti ekyuuma ekikadde kyekyaddabiriziddwa kyokka nga n’ekipya kyakussibwaamu akadde konna Omu ku bakola ku kyuuma kino Dr Sam Ochola ategeezezza nga buli kimu bwekitambula obulungi nga kati abalwadde beetaga emitwalo 12 okufuna sikaani. Ekyuuma kino kisinga kwetaagibwa abo abakubiddwa…

Read More