Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

KCCA etendewaliddwa ku Typhoid

Omuwendo gw’abantu abagenda mu ddwaliro ly’omu Kisenyi n’obubonero bw’omusujja gw’omu byenda bongera kulinnya Abasoba mu 2000 mu kadde kano beebali mu kufuna obujjanjabi ekirese abasawo nga batendewaliddwa Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti keekadde gavumenti ebazimbire amalwaliro amalala okukola ku bantu ng’ebibamba nga bino biguddewo Ng’akyaddeko ku ddwlairo ly’omu Kisenyi, Musisi agambye nti abasawo batendewaliddwa kyokka…

Read More

Ebya Nebanda bibigudde

Omusawo omukugu mu kwekebejja ebisigalira by’abantu Dr. Sylvester Onzivua addukidde mu kkooti ng’ayagala kusasulwa lwa gavumenti kumuggulako misango mu bukyaamu Bino byekuusa ku kufa kw’eyali omubaka we Butalejja Cerina Nebanda Dr. Onzivua agamba nti gavumenti yakola nsobi okumukata n’okumuggalira okwo kw’ossa n’okumuggulako emisango olw’okutambuza ebisigalira bya Nebanda mu mwaka 2012 Agamba nti omulimu guno gwaali gumuwereddwa sipiika wa…

Read More

Abe Makerere bagaanye okukkaanya

Ab’ettendekero lye Makerere balemereddwa okutuuka kukukkaanya n’abayizi ku ky’okujjawo ensako y’abayizi abasasulirwa gavumenti Ensimbi zino ziweebwa abayizi okweyimirizaawo nga batwala mu maaso emisomo gyaabwe Omukungu atwala ebyensimbi mu ttendekero lino Prof Barnabas Nawangwe agamba nti ensimbi zino zajjibwaawo mu mwaka gwa 2010 neziddizibwa mu kugula ebikozesebwa ku ttendekero okuli ebyuuma n’ebitabo era nga tebasobola kukyusaamu Nawangwe agamba nti…

Read More

Essomero lya Victorious lyandisengulwa

Essomero lya Victorious erisangibwa e Bakuli lyandisengulwa Kiddiridde omukyala ategerekese nga Afisa  Namukasa Bikaaku okuddukira mu kkooti ng’agamba nti ye nanyini ttaka okuli essomero lino ku luguudo lwe Namirembe e Bakuli Namukasa agamba nti yenanyini ttaka lino kyokka nga yalibwaamu olukwe banyina okuli Siraj Wasswa ne Mansoor Mukasa abagenda mu maaso n’okujingirira omukono gwe nebawaayo ettaka lino…

Read More

Aba FDC bawera

Ab’ekibiina kya FDC ssibakulekera awo kuvumirira nteekateeka za gavumenti ez’okwetoloola mu kuwereeza abantu Ng’ayanjula enteekateeka ya FDC eri bannayuganda ng’ekibiina kyetegekera okulonda, Akulira ekibiina kino Gen Mugisha Muntu agambye nti essira bakulissa mu mbeera za bantu omuli n’okussaawo banka enayamba okusakirira abalimi Ono agambye nti abalimi bangi beetaga ensimbi okwongera mu byebalima kyokka nga batya okwewola olw’amagoba…

Read More

Enkuba ejja- ab’entebereeza y’obudde boogedde

Ettaka lyakuddamu okubumbulukuka ku nsozi za Elgon ate abe Kasese nabo bakulumbibwa amataba Bino bivudde mu kitongole kya gavumenti ekikola ku ntebereza y’obudde ng’eno etunuulidde ku bbanga ly’okuva kati okutuuka mu gw’okutaano. Okusinziira ku kitongole kino, ebitundu ebiriraanye enyanja Nalubaale byakufuna enkuba eyabulijjo era nga bwekijja okuba n’eri abo abava mu buvanjuba ne bukiikakkono. Wabula ekitongole kyekimu kiraga…

Read More

Amasomero gaggaddwa

Amasomero 2 e Pallisa gagaddwa lwabutatukagana namutindo. Gano kuliko  King Fahad Islamic ne  Greenland schools mu tawuni kanso ya Pallisa. Avunanyizibwa okulondoola amassomero mu disitulikiti eno  Hellen Rose Asio agamba amassomero gano gasangiddwa nga ebizimbe bikutte mu mbinabina nga byabulabe eri obulamu bw’abayizi. Ebizimbe bino era bisangiddwa tebirina kabuyonjo sso nga tebalina basomesa batendeke nga bwekyetagisa. Asio agamba baakugenda…

Read More

Batabukidde omutemu-Bamugobye ku kyaalo

Poliisi mu disitulikiti ye  Sembabule etandise okunonyereza ku bbiina ly’abantu abaasanyizzaawo amaka ga mutuuze munaabwe nga bamulumiriza okubeera omutemu. Abantu bano ababadde batasalikako musale basoose kuwuttula  Damiano Bizimungu olwo amakage nebagakoona nga bamulumiriza okubaako nekyamanyi ku kutibwa kwa  Clement Musoke. Kigambibwa nti  Bizimungu yasemba okulabibwa n’omugenzi nga mu bbaala emu nga bayomba oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya. Bano era basaze…

Read More

Besigye ne banne betaagibwa mu kkooti

Omulamuzi wa kkooti ye Kabale  Godfrey Kaweesa ayisizza ebibaluwa Bibakuntumye eri eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr  Kizza Besigye ne banne abalala. Besigye yetaagibwa n’omubaka wa  Rukungiri Roland Mugume Kaginda, akulira abakyala mu FDC  Ingrid Turinawe, Loodi meeya wa Kampala  Erias Lukwago, meeya we Kawempe Mubaraka Munyagwa n’abalala. Bano betagibwa mu kkooti nga 23 April ku musango…

Read More

Bbomu ebaluse

Poliisi eri mu kunonyereza ku bantu 2 abatiddwa  bbomu ezaalekebwa mu ttaka ku kyalo Kamusenene mu disitulikiti ye Nakaseke.   Abagenzi bategerekese nga  Dan Ssemakadde ne  Simeo Mukwaya Kabaya sso nga waliwo omulala alumiziddwa ategerekese nga Abdul Kasakya,omutuuze mu disitulikiti ye Kayunga.   Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savanah  Lameck Kigozi agamba bbomu zino zandiba nga zalekebwayo mu…

Read More