Eby’okwerinda binywezeddwa ku muzikiti gwe Kitenga mu disistulikiti ye Masaka nga abaayo balindirira Mufti Wa Uganda Shaikh Shaban Ramadhan Mubajje okusaalirayo Juma.
Okusooka kyategezebwa nga Mufti bweyali ow’okusaalira ku muzikiti omukulu e Masaka wabula Disitulikiti Khadhi w’e Masaka sheik Swaib Nduga n’abakulembeze abalala nebamugoba nga bagamba aba supreme baagala kweddiza muzikiti gwabwe.
Omubaka wa pulezidenti e Masaka …
E Lwengo abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Abagenzi bategerekese nga Wasswa Mubiru ne Steven Ziwa bonna nga batuuze bomu tawuni ya Kingo mu disitulikiti ye Lwengo.
Akabenje kano kavudde ku ttipa y’omusenyu namba UAK 224L okwabika omupiira n’eremerera omugoba waayo n’esaabala Mubiru ne Ziwa ababadde ku bodaboda namba …
Kampuni y’amassimu eya MTN ssi mativu n’ekyakakiiko akakola ku by’empuliziganya wano mu ggwanga okubakuba engassi ky by’obutagondera mateeka gabyampuliziganya.
MTN y’alagiddwa okusasula obuwumbi 5 nga akakiiko kajilumiriza okunyoomola ebiragiro byako enfunda eziwera.
Akakiiko kano kagamba nti bano baalabulwa dda okulongoosa mu network yaabwe,engeri gyabagereka ebisale byabwe eri bakasitooma wabula nga tebakyuusa.
Akulira abakozi mu kampuni eno Brian Gouadie…
Eby’ensoma bikyankalanye ku ssomero lya Mutanywana SS mu disitulikiti ye Kasese oluvanyuma lw’omu ku bayizi okwetugira mu kisulo.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori sub region Bashir Bakari Muga omugenzi amumenye nga Sanairi Thembo owa siniya 4.
Bakari agamba omulambo gw’olenzi guangiddwa nga gulengejjera ku mulabba oluvanyuma lw’okweyimbamu ogwakbugu.
Omu ku babadde basoma n’omugenzi , Joward Masereka…
E Masaka ekibinja ky’abayisiraamu ekiwagira Mufti Sheikh Shaban Mubajje kipondoose nekikyuusa omuzikiti webagenda okumukyaliza ku Juma y’enkya oluvanyuma lw’abalala okuwera okutaataganya enteekateeka eno.
Omubaka wa pulezidenti e Masaka Linos Ngompek ategezezza nga bwebatuuse ku nzikiriziganya wakati w’ekiwayi ky’e Kibuli ekikulemberwa Supreme Mufti Sheikh Zubai Kayongo n’aba Old Kampala Mufti Mubajje aleme kusaalira ku muzikiti omukulu e…
Okuwulira omusango gwa loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago nga awakanya omulamuzi omu okumugoba mu ofiisi kugudde butaka.
Kino kiddiridde munnamateeka wa Lukwago Medard Lubega Segona okufuna ebbaluwa eyawandiikibwa nga 3rd March okulaga nti omu ku balamuzi taliiwo.
Segona agamba kano kakodyo ka gavumenti kukandaliriza okuwulira omusango guno n’okulemesa Lukwago okudda mu ofiisi.
kkooti ensukulumu y’agaana okusaba kwa…
Omulamuzi Bart Magunda Katurebe ye ssabalamuzi w’eggwanga omujja.
Alondeddwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni amakya galeero nga era wakumyukibwa abadde akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma .
Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo akakasizza kino n'ategeeza ng'emannya ga bano kati bwegagenda okusindikibwa mu palamenti okukakasibwa
Okulondebwa kwa Katureebe mawulire gassanyu eri essiga eddamuzi oluvanyuma lw’ebbanga nga esiga eddamuzi terilina alikulira.
Omwogezi w’essiga…
Omusajja afuse ku muzinga gw’enjuki alifa tazzeemu kukikola .
Enjuki zino zimutabukidde okukkakkana nga zimulumye kamaanya
Ono abadde mu motoka etambula nebayimirira okufuka.
Enjuki zino nno z’atankudde tezikomye ku yye naye n’okulumba abalala ababadde bakyaamye mu nsiko.
Bibadde mu Vietnam
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayega avumiridde ebikolwa by’okugulirira abalonzi wano mu ggwanga mu biseera by’obululu.
Ono ategezezza nti ebikolwa bino biviira ddala wansi mu baana nga kyetaagisa abasomesa okubatendeka obulungi bakule nga bakimanyi nti okugula abalonzi kibi era tekitwala nsi yattu mu maaso.
Katikkiro okwogera bino abadde Kyewambogo ku ssomero lya St Johns SS e Mukono…
Ab’ekitongole ky’enguudo ekya UNRA batandise enteekateek y’okusasula abo bonna abagenda okukosebwa okugaziya oluguudo lwa Northern Bypass
Abo bonna abagenda okukosebwa bakungaanidde ku ssomero lya Cleveland e Kyebando ng’eno okuwandiisa gyekubadde
Omu ku babadde mu lukiiko luno ye Williams Kafeero agambye nti akikoze kubanga abo abaagana olwasooka tebasasulwa kale nga tayagadde kuviiramu awo.
Omwogezi wa UNRA Dan Alinange agambye…