Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Lwakataka akwatiddwa

Omuvuzi w’emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka akwatiddwa. Lwakataka bamukwatidde ku Industrial areamu kampala  olw’eggulo lwa leero. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti Lwakataka agenda kuggulwaako misango gyakulumya bantu n’okwetaba mu kusuubula obwenyanja obuto. Wakuvunaanibwa mu kkooti ye Kasese gyeyaddiza emisango gino

Read More

Omulambo gubbiddwa mu ntaana

Poliisi e Mityana etandise okunonyereza ku ngeri omulambo gyegwabuzeemu okuva mu ntaana Bino bibadde ku kyaalo Mubango Mityana ng’eno gyebaziika omukyala kyokka bagenze okukebera mu ntaana nga tabangamu. Aduumira poliisi ye Mityana Henry Kintu agamba nti bakakasizza nti omulambo teguliimu kyokka nga nabo basobeddwa eka ne mu kibira. Omukyala ono ategerekese nga Nantume Nakato yaziikibwa ennaku ssatu emabega.

Read More

Bannanyini masomero baddukidde mu palamenti

Ekibiina ekigatta bannanyini masomero g’obwannanyini beekubidde enduulu eri sipiika wa palamenti nga beemulugunya ku misolo egyabassibwaako mu mbalirira y’omwaka guno. Nga bakulembeddwaamu Ssentebe waabwe John Bosco Mujumba , bano bategeezezza ng’omusolo guno bwegugenda okwongera okubanyigiriza n’abazadde ate ng’era guzza emabega ebyenjigiriza Yye omu ku bannanyini masomero era nga munonyereza, Hasadi Kirabira agambye nti eggwanga libadde liseetuuse mu…

Read More

Eyatomera bba n’amutta bamulumirizza

Okuwulira omusango gw’ettemu oguvunaanibwa omukyala eyatomera bba n’amutta kutandise Jacquline Nsenga yatomera bba eyali amuggulira oluggi lw'ekikomera. Taata w’omugenzi Kananura Nsengaategeezezza kkooti nti mutabani we yalina obutakkaanya n’omukyala ono era ng’omukyala yatuuka n’okugoba Baganda b’omusajja bonna abaali ewaka Omujulizi omulala abadde Joseph Kananura muganda w’omugenzi ategeezezza nga muganda we bweyamutegeeza nga mukyala we bweyali amwettidde ate mu maka…

Read More

Ogwa Chris Mubiru guli mu nkukutu

Okuwulira omusango oguvunaanibwa eyali akulira tiimu ya SC Villa Chris Mubiru  kutandise kyokka nga kuli mu nkukutu. Omulamuzi aguli mu mitambo, Lilian Buchana alagidde bannamawulire n’abantu ba bulijjo okufuluma kkooti ng’omusango guno gutandise Mubiru avunaanibwa kusiyaga bavubuka ekitundu ekimenya amateeka ga Uganda. Oludda oluwaabi lugamba nti mu mwezi gwa December mu mwaka 2009 , Mubiru ono ng’asinziira e…

Read More

Abe Bundibuggyo bakuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye

Abantu 112 abaakwatibwa  ku bye Bundibuggyo bakuggulwaako misango gya kulya mu nsi yaabwe olukwe Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti mu bano kwekuli katikkiro w’obusinga bwa Rwenzururu ne ba minisita  abalala babiri N’ayogerako eri bannamawulire, Enanga agambye nti abantu bano bonna bagenda kuvunaanibwa mu kkooti y’amaggye kubanga baabasanga n’emmundu Katikkiro w’obusinga Noah Nzaghale akwatiddwa nkya ya leero…

Read More

Eddagala ly’ebisolo lyakukyusibwa

Ekitongole ekikola ku ddagala  mu ggwanga ekya National Drug Authority  kiteekateeka okukyuusa mu ddagala ly’ekijja ebweru okujjanjaba ebisolo. Akulira ekibiina kino Gordon Ssematiko agamba nti bafunye amawulire nti eddagala erimu ku lyebayingiza terikyakola ku ndwadde ezimu Ono agamba nti eddagala erimu nga acaricides eririna okukozesebwa okutta enkwa libadde terikyakola. Kino kikakasiddwa mu disitulikiti eziwerera ddala 14 okuli Kiruhura,Isingiro,Mbarara…

Read More

Yesazeeko obusajja

Kati waliwo abasajja abatawena. Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja eyekyaaye neyesalako obusajja ng'ali mu kirabo ky'emmere. Poliisi egezezaako okutangira omusajja ono wabula n'adduka mu bwangu neyesibira mu kiyungu olwo kamaanya n'amukwakkulako. Omu ku bakulira ekirabo ky’emmere kino  Zizzi ategezezza nga omusajja ono bwatalina kakwate konna ku kiriiro kyabwe.

Read More

Ababaka abaagobwa mu NRM baluyiseeko

Kkooti ensukkulumu ekkirizza ababaka abana abaagobwa mu kibiina kya NRM  okusigala mu palamenti. Kkooti eno esazizzaamu ekiragiro kya kkooti etaputa ssemateeka okubagoba nga kati balina kulinda musango gukolebweeko gwonna. Okusalawo kuno kukoleddwa abalamuzi 7 nga bakulembeddwamu Wilson Ssekokko nebategeeza nga okusaba kw’ababaka bano bwebakulabyemu eggumba Bano era balagidde Kakiiko k’ebyokulonda obutagezaako kutegeka kulonda kwonna kujuza bifo by’ababaka bano. Nga…

Read More

Mukomye okukusa abantu- Janat Museveni

Muko mukulembeze w’eggwanga  Janat Museveni  ayagala amaanyi gongerwe mu kulwanyisa okukukusa abantu okufuuse baana baliwo mu ggwanga. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire olwaleero Mukayala Museveni ategezezza nga ekikolwa kino bwekitali kaybugunjufu nga ate kimeya mateeka. Ono awadde eky’okulabirako eky’abaana abakukusibwa okuva e Karamoja okuletebwa ku nguudo ze Kampala okusabiriza ky’agamba nti kino kikosa obwongo bwaabwe n’okukotogera ebiseera byabwe…

Read More