Agava e Kasese gooleka nga Katikiro w’obusinga bwe’Rwenzululu bwakwatiddwa.
Noah Nzagale y’akwatiddwa ku byekuusa ku bulumbaganyi obwakoleddwa e Kasese obwalese abasoba mu 100 nga bafudde.
Omu ku balangira mu businga bwe Rwenzululu christpher Kibanzanga akakasiza kino wabula natawa nsonga evudde kukwatibwa kwa Katikiro ono.
Bino webijidde nga abantu 12 kyebajje bakwatibwe mu disitulikiti ye Ntoroko nga bano basangiddwa…
Oluyimba lw’eggwanga ssirwakukyusibwa
Ssabaminista Amama Mbabazi y’akakasizza ababaka mu palamenti ensonga eno bw’ereeteddwa mu palamenti.
Kino kikontana n’ebyayogerwa minister akola ku byobulamu Maria Mutagamba agamba nti gavumenti etaddewo obukadde 187 okukola ku kwongera eggono mu luyimba luno.
Ensonga eno ereeteddwa omubaka we Bulamogi Kenneth Lubogo abadde asaba nti gavumenti etangaaze ku kituufu ekigenda okukolebwa ku luyimba luno.
Mbabazi agambye…
Abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe kyaddaaki bafunye ekyaapa ky’akatale okuva mu kakiiko akakola ku by’ettaka
Kiddiridde kkooti enkulu okuwa aba KCCA ennaku 14 okuwa abasuubuzi ekyapa kyebaludde nga babanja.
Omwogezi w’abasuubuzi bano Wilberforce Mubiru agamba nti kati batunuulidde kutandika kuzimba katale ak’omulembe nga beetaga obukadde bwa doola 200 okugenda mu maaso.
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bassizza gavumenti ku ninga okunyonyola ku bigenda mu maaso e Bundibuggyo ne Kasese.
Abantu abasoba mu kikumi beebakafiira mu bulumbaganyi buno obwakoleddwa nga buva ku njawukana mu mawanga.
Omubaka we Kasese omukyala Winnie Kiiza ne minisita akola ku by’okwerinda mu gavumenti y’ekisikirize Kaps Fungaroo beebuzizza lwaki gavumenti esirise yadde okubaako by’etegeeza…
Ssabawaabi wa gavumenti assizzaayo okujulira eky’okuyimbula Adam Sulaiman Kalungi
Ssabawaabi awakanya ensalawo y’omulamuzi Lameck Mukasa eyajjako Kalungi emisango gy’okutta omuntu mu butanwa
Omulamuzi yagamba nti Kalungi yasingisibwa omusango mu bukyaamu kubanga tewaaliwo bujulizi bwonna bulaga nti yeeyatta omubaka Cerinah Nebanda
Ssabawaabi wakwanja ensonga kw’asinziira okuwakanya ebyasalibwaawo kkooti enkulu mu ggwanga.
Abavubuka abakwaatibwa n'embizzi ku palamenti bazzeemu okukwatibwa
Norman Tumuhimbise ne Robert Mayanja bakwatiddwa boogerako eri bannamawulire ku ofiisi z'ekibiina kya FDC mu kampala.
Akulira abavubuka mu FDC Francis Mwijuikye agamba nti ababiri bano babadde banyonyola bannamawulire lwaki baalumba palamenti
Wabula omwogezi wa poliisi kampala nemiriraano Patrick Onyango agamba nti bano bakwatiddwa oluvanyuma lw'okukitegeerako nti babadde bategese okwekalakaasa.
Onyango agamba…
Poliisi esengudde ba nansi okuva mu mayumba gaabwe mu ddwaliro e Mulago.
Kiddiridde abasawo bano okugaana okuva mu mayumba gano , abasoma obusawo basobole okugasulamu
Olunaku lwajjo, abasawo bano baddukidde mu palamenti nga bagamba nti abaddukanya eddwaliro bagaala kubagoba ate nga tebalina gyebadda
Wabula yye akulira abasawo Dr Baterana Byaruhanga agamba nti banansi bano amayumba bagamazeemu emyaka egisoba…
Nga giwera emyaka 4 wiiki eno bukyanga bbomu zitta abantu wano mu kampala, n’okutusa kati abakosebwa n’abafiirwa abaabwe tebanafuna bwenkanya mu mbuga z’amateeka.
Abantu abasoba mu 70 bafiira mu bulumbaganyi buno ku Kyadondo rugby grounds ne Ethiopian village wano e Kabalagala abatujju ba Al-Shabab bwebatega bomu mu bawagizi b’omupiira abaali balaba fayinolo z’ekikopo ky’ensi yonna ekyomupiira…
Amaggye gamalirizza okusunsula abakwatiddwa ku by’obulumbaganyi obwakoleddwa mu disitulikiti okuli Bundibugyo, Kasese ne Ntoroko obwalese nga abasoba mu 100 nga batiddwa.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri Maj. Ronald Kakurungu agamba kati basigazza abakwate 65 kwabo 84 abakwatiddwa e Bundibugyo ne Ntoroko nga era baasobodde n’okuzuula emmundu 3.
Yo poliisi ye Kasese nayo eriko omuwendo gw’abantu abatanategerekeka muwendo gwebali…
Omuntu omu yafiiridde mu kabenje akaagudde wali e Lukaya mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero.
Okusinziira ku poliisi, akabenje kano kavudde ku baasi ya Global Coach okutomeragana bwenyi ne loole ebadde eva e Kampala ng'edda Mbarara.
Adumira poliisi ye Kalungu Martin okoya agamba omukyala yafiiriddewo sso nga 3 bbo babuuse n’ebisago ebyamanyi.
Agamba okunonyereza ku kiviriddeko akabenje kano kukyagenda…