Kkooti enkulu mu kampala ewadde abe Mulago omukisa ogusembayo okuteesa n’abazadde ababulwaako omwana waabwe.
Bano balina okukola kino obutasukka nga 29 omwezi guno nga ssinga bagaana omusango gwakutandika okuwulirwa mu kkooti.
Kigambibwa nti Jennifer Musimenta ne bba Michael Mubangizi babulwaako omwana waabwe mu ddwaliro e Mulago mu ngeri etategerekeka
Bano bagamba nti bazaala abaana nga balongo nebabagamba nti…
Ba naasi okuva mu ddwaliro e Mulago beekubidde enduulu eri palamenti nga bawakanya eky’okugobwa mu mayumba g’abasawo
Nga bakulembeddwamu Rose Naafa, ba naasi bano bagamba nti kikyaamu okubagoba okuva mu mayumba gano nga tebabawadde na webadda
Abasawo bano nno basonze mu bakulu ku ddwaliro e Mulago beebagamba nti abayumba gaabwe bagaala kugassaamu kifo awasula abayiga obusawo kubanga…
Gavumenti etaddewo obuwumbi 30 ez’okuyamba okwongera ku muwendo gw’abasawo mu malwaliro gaayo.
Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agamba nti minisitule ekola ku by’ensimbi yamaze dda okuyisaamu ensimbi zino.
Lukwago agamba nti abakozi abalala 600 wansi w’ensawo ya Global Fund beebagenda era okuyambako .
Ono agamba nti era mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja, bakuzimba amayumba g’abasawo okulaba…
Bannanyini buyumba omutundibwa ebintu ku kkubo wali e Lugala ku kidda ku luguudo lwa Northern Bypass bakeeredde mu miranga oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA okumenya obuyumba bwaabwe.
Aba KCCA bamenye obuyumba bwonna obuli okumpi n’ekubo lino okusinga obwobubaawo n’ebibaati nga era obukunukkiriza mu 20 busigadde ku ttaka.
Bbo bananyini bwo bakaaba kimu, tulagawa?
Essiga eddamuzi likoze enkyukakyuka mu balamuzi ba kkooti ento n'abawandiisi.
Abawerera ddala 27 beebakyusiddwa
Okusinziira ku amyuka omwogezi w’essiga eddamuzi Araali Muhiirwe, enkyukakyuka zino zikoleddwa omuwandiisi wa Kkooti ow'okuntikko Paul Gadenya okwongera okutambuza bulungi emirimu.
Gadenya awadde bonna abakyusiddwa amagezi okwanguya ku mirimu gyebabadde bakyakolako olwo beyanjula gyebawerezeddwa nga 4 mu gw'omunaana.
Mu bakyusiddwa kuliko abadde omulamuzi omukulu mu…
Emirambo gy’abamu ku bagambibwa okukola obulumbaganyi e Bundibugyo 67 giziikiddwa mu kirindi .
Kino kiddiridde ab'enganda zaabwe okugaana okugiddukira olw’okutya okukwatibwa.
Omwogezi w'amaggye g'eggwanga mu bitundu bye Rwenzori Ninsiima Rwemizuma agamba nti balinze abantu okukima emirambo gyaabwe nga tebajja nabo kwekusalawo okubaziika ku ttaka lya gavumenti e Bundibuggyo.
Ebyo bibadde bikyali bityo omujaasi w’amagye ga UPDF n'asangibwa nga…
Pulezidenti Museveni akakasizza eggwanga nti abaakoze obulumbaganyi e Bundibuggyo bakukolebwaako ng'amateeka bwegalagira.
Pulezidenti agambye nti ebitongole ebikuuma ddembe bikola kyonna ekisoboka okulaba nti abantu bano bazuula gyebaddukidde.
Bino omukulembeze w'eggwanga abyogedde asisinkanye ababaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NRM b'asisinkanidde mu maka ge.
Owmogezi w'akabondo kano David Bahati agambye nti gavumenti era yakusigala ng'erondoola embeera okwewala ebikolwa…
Ba ma seeka omuva e Kawempe batabukidde meeya Mubaraka Munyagwa nga bagala yetonde olw'edduwa embi gyeyasomera gavumenti.
Bano bagamba nti tebayingiridde byabufuzi wabula Munyagwa yeeyayingiridde eddini .
Bino olugudde Munyagwa mu matu n'ata akaka n'ategeeza nga Muzaata bw'atumye ba ma seeka bano ng'ate y'asabye bamwetondere
Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka nga mu ggwanga lya Ghana waliwo omumerika agambibwa okuba ng’afunye obulwadde buno
Omusajja ono assiddwa mu nkambi yekka nga bwebakyagenda n’okumwekebejja
Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu 460 bukyanga bubalukawo mu ggwanga lya Guinea nebutandika okubuna okutuuka mu Liberia ne Sierraleone.
Obulwadde bwa luno bwebwakasinga okutta abantu ate nga tebuliiko ddagala.
Poliisi esabye abo bonna abategeka okulaga empaka z’ekikopo ky’ensi yonna okubategeeza nga bukyaali basobole okubawa obukuumi
Empaka z’akamalirizo ez’ekikopo kino za nga 13 ye ssande eno era nga olunaku luno lwelumu mu mwaka 2010 abatujju lwebattirako bannayuganda abatalina musango.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nto mu kadde kano, ekisaawe kye namboole kyokka kyebakakkiriza…