Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Eyabulwaako essimu mu America agijje Japan

Omusajja omulimi mu ggwanga  lya America eyabulwaako essimu attidde omuntu bw’amukubidde essimu ng’agironze Japan. Omulimu ono essimu yagipakirira mu birime byeyali atunda mu butanwa era nga yali yagivaako dda. Kevin Whitney agamba nti essimu yabulako mu mwezi gw’ekkumi omwaka oguwedde era nga yali yagivaako dda Omusajja ono amaze okufuna essimu ye oluvanyuma lw’okusindikibwa kuva mu japan okutuuka mu…

Read More

Bbomu mu Tanzania asse munaana

Abantu munaana beebalumiziddwa mu bbomu etegeddwa mu kirabo ky’emmere mu kibuga Arusha Tanzania. Poliisi egambye nti abateze bbomu eno baagikasuse okuyita mu ddirisa . Ekirabo kino kisinga kubaamu bagwiira era nga abasinga babeera balambuzi Ssabbiiti ewedde bbomue ndala yakasukibwa mu nju y’omu ku bayisiraamu abamaanyi mu ggwanga lino.

Read More

Ebisale by’emmotoka birinnye

Abatunda amafuta bagamba nti tebakyasobola kwebeera kugongeza Kiddiridde silingi okwongera okunafuwa  okusinziira ku doola ate nga bakozesa doola okusubuula Mu kadde kano amafuta ga petulooli gali ku shs 3800 okuva ku shillings 3700 ate nga diesel ali ku shs 3350 okuva ku 3250. Kino kivuddeko ba dereeva okwongeza ebisale ate nga era abalina ezaabwe kaseera ka kukekkereza

Read More

Gavumenti tennapowa ku China

Minisita akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kuteesa agamba nti gavumenti ekyayogereza ginaayo eye China okukomyaawo bannayuganda abali ku kalabba e China. Ng’ayogerako eri bannawulire, Kuteesa agambye nti tebakkiririza mu kukus anjaga kyokka nga tebakkiririza mu ngeri bannayuganda gyebavunaanibwaamu. Kuteesa agamba nti kyebaagala kwekulaba nti bannayuganda bano wakiri baggalirwe wano ku butaka Bino bizze nga bannayuganda babiri kyebajje…

Read More

Ettofaali- ezisoba mu bukadde 200 zeezisondebwa

Ensimbi ezisoba mu bukadde 200 zeezakasondebwa Katikiro mu division ye Rubaga mu nkola ey’okusonda ettafaali. Katikiro wa Buganda atalaze ebitundu ebiwerako omuli ekitebe kya division ye Rubaga, abasubuzi b’embaawo e Kibuye, Bamakanika, ekitebe  kya FDC e Najjanankubi wamu n’ebifo ebirala. Kitikiro asinzidde wano n’asaba abavuvuka okwetanira okukola kubanga Buganda ey’omulembe omujja teyegaaga baavu. Mayiga agambye nti abavubuka balina…

Read More

Abantu batandise okudduka e Bundibuggyo

Ebikumi n’ebikumi by’abantu batandise okudduka e Bundibuggyo nga beesega ekibambulira. Abasinze okusenguka be ba Bamba ababeera mu nsozi ze Lwengo. Abantu bano kati bakungaanidde mu nkambi emanyiddwa nga Bukwanga ng’eno yesudde kilomita nga 7 okuva mu kibuga kye Bundibuggyo. Wabula ggo amaggye gagamba nti tegannategeera ku mawulire gano. Omwogezi w’ekibinja ky’amaggye eky’okubiri, Major Ronald Kakurungu agamba nti baayongedde amaggye…

Read More

Okukebera abawutta obwongo

Bannasayansi okuva mu Bungereza basemberedde okutuuka kun kola entangaavu enabayamba okukebera abantu obulwadde bw’okuwutta Okunonyereza okukoleddwa ku bantu abasoba mu kikumi kulaga nti abasawo basobola okumanya oba omuntu atandise okuwutta nga batunuulira ekirungo kya Protein ky’alina mu mubiri gwe Ebizuuliddwa abasawo bagamba nti byakubayamba okumanya engeri y’okukwatamu abantu abalina ekizibu kino nandiki n’engeri y’okukyewalamu Wabula abakugu bano bagamba…

Read More

Siriimu avuluuja e Kalangala

Omubaka akiikirira abantu be Bujumba mu disitulikiti ye Kalangala Fred Badda alaze obwenyamivu olw’obulwadde bwa mukenenya obukyaali waggulu mu kitundu kye Omubaka okwenyamira akulaze akyaddeko ku kalwaliro ka Health center 4 e Kalangala gy’alaze okugaba bulangiti  n’ebikozesebwa abasawo ebirala Badda agamba nti yadde abasawo ne bannakyeewa bakoze ekimala okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu obulwadde buno, abantu kirabika…

Read More