Omukyala eyakebaka n’abasajja abasoba mu mutwalo omulamba asazeewo okubakubamu akatabo
Mu katabo kano omukyala ono ayogera ku birungi n’ebibi by’alabye mu basajja era ng’abalojja
Omukyala ono abadde akuba obwamalaaya okumala emyaka 15 era nga buli gweyasisisnkana amwogerako bibye
Mu katabo ke agamba nti abasajja abafunyeemu bingi omuli engoye, emmotoka kyokka ng’akkirizza nti bino byonna yabikolanga akozesa enjaga nomwenge.
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga esabiddwa okuyingira mu lutalo ku nvunza mu disitulikiti ye Namutumba.
Kigambibwa okuba ng’abantu abasoba mu 10 beebatwalibwa mu ddwaliro lye Nsinze health center 4 ng’obuzibu nvunza.
Omubaka omukyala owe Namutumba Florence Mutyabule agamba nti abasinze okukosebwa baana okuva mu maka amaavu ow’obujama
Mutyabule agamba nti beetaaga kawefube agendereddwaamu okusomesa abantu ku ngeri…
Abasuubuzi mu katale ke Nakasero bagaala gavumenti ekome okuwa lisinsi ebibiina by’obwegassi abantu byebamanyi nga Sacco.
Kiddiridde ekibiina ekimanyiddwa nga Asalam SACCO okudduka n’obukadde bwaabwe ataano bwebabadde bakaterekawo.
Abasuubuzi bano bagamba nti buli omu yasasula emitwala etaano okuggulawo akawunti era nga babadde kati bawezezze wakati w’emitwalo 20 na 50 buli omu.
Abasawo b’ekinnansi wansi w’ekibiina ekibagatta bagaala palamenti ebage etteeka erinalambika emirimu gyaabwe
Ng’alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu,akulira abasawo bano nga bakulembeddwaamu Maama Fiina bagambye nti tebakkiririza mu ddogo.
Maama Fiina agamba nti etteeka eribakwatako lijja kuyamba okubawuula ku balogo kubanga ogwaabwe gwakujjanjabisa nkola ya kinnansi sso ssi kuloga
Bbo ababaka mu palamenti baagala ebibonerezo…
Omusajja eyakoona abayizi b’essomero lya Kololo Secondary School ku lw’okutaano asibiddwa emyaka esatu
Kiddiridde omusajja ono okulemererwa okusasula obukadde 14 eza fayini.
Omusajja onoa manyiddwa nga Imaam Isaac nga mutuuze we Kasubi teyegaanye misango gyakuvugisa kimama n’okuvuga nga talina biwandiiko bweyalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Erias Kakooza
Omusajja ono yeeyali mu mmotoka kika kya Rav 4 eyatta abantu 2…
Poliisi esambazze ebigambibwa nti ewummuzizza abakyala bana okua ku palamenti gyebabadde bakuuma lwakubeera mbuto.
Abakyala bano okuli Peace Mary, Namubiru Alaisa, Mirembe Rosette ne Christian Nakirya Christian bakyusiddwa awatali kunyonyola kwonna
Ababaka mu palamenti basabye dda akulira poliisi Gen Kale Kaihura okunyonyola ku nsonga eno nga bagamba nti olubuto ssi bulwadde era tekiyinza kuwummuzisa Muntu
Wabula amyuka omwogezi…
Ensi eyolekedde obuzibu bw’okwesanga nti kumpi eddagala ly’ebiwuka lyonna lyandikoma okukola ku bantu
Katikkiro wa Bungereza david Cameron agamba nti eddagala lya antibiotics oba ery’ebiwuka lingi terikola ku bantu abamu naddala ssinga balikozesa okumala ebbanga.
Ono agamba nti bbo nga Bungereza kati batandise okwetegereza eddagala lino okuzuula lwaki kino bwekiri
Ekibinja ky’abakugu kimaze okuyimbulwa okwetunuula mu nsonga eno…
Akakiiko k’ebyempuliziganya kakkirizza nga bwekatalina busobozi kulondoola abasawo b’ekinansi abeeranga ku mikutu gy’amawulire.
Bw'abadde alabiseko mu maaso g’akakiiko ka palamenti akakola ku kikula ky’abantu , akola nga akulira akakiiko kano Jonas Muhoozi agambye nti bafuna okwemulugunya kungi okuva eri abantu ne poliisi wabula nga mpaawo kya manyi kyebayinza kukola.
Muhoozi agamba emikutu gya leediyo mu ggwanga giyitiridde…
Abakulira ettendekero lye Makerere bevumbye akafubo n’abasomesa ku nsako yaabwe ey’ebitundu 70% ezirina okuva mu yunivasite eno wabula nga babadde tebanazifuna.
Olukiiko luno lukubiriziddwa amyuka ssenkulu avunanyizibwa ku byenjigiriza Dr. Okello Ogwang n’akulira eby'ensimbi ku ttendekero Prof. Barnabas Niwangwa.
Abasomesa b’ettendekero lino nga bayita mu kibiina kyabwe ekibataba, baawadde abakulira ettendekero lino okutuusa ku lw'okutaano luno nga…
Ba minister b’ebyobulamu okuva mu mawanga 11 basisinkanye mu kibuga kya Ghana ekikulu Accra okutema empenda ez’okuziyizaamu obulwadde bwa Ebola okwongera okutirimbula abantu.
Obulwadde buno buli mubugwanjuba bwa Africa nga bwakatta abantu 468 ate ng’abali mu lusanvu nabo bali ku bitanda.
Obulwadde buno buli mu mawanga ga Guinea, Sierraleone ne Liberia.
Abakulu by’ebyobulamu abasisinkanye bavudde mu mawanag gano…