Omusajja atalina mikono nate nga avuga emotoka poliisi ekooye okumulabula n’ewamba emmotoka ye
Poliisi mu ggwanga lya China egamba nti ono abadde afuuse ow’obulabe eri obulamu bwe n’abakozesa oluguudo abalala
Ono bamukwatidde mu kikwekweto ekikoleddwa ku bamenya amateeka g’okunguudo
Omusajja ono abadde akozesa ekigere kye ekya ddyo okukwata ku sitelingi ate ekigere kye ekya kkono nekikola ku ggiya
Omukyala omubalagavu etambudde ku nguudo mu kibuga nga tambadde bulawuzi alese abantu basamaaliridde
Omukyala ono okubadde ng’okwambala yeesiize langi ku mubiri era ng’akyamyeeko ne ku ka baala n’anyaamu olugiraasi lwa waiyini
Duncan Kikankane Mubiru awanduse okuva mu mpaka z’emmotoka Southern Motor Club Rally.
Kikankane agambye nti kino akikoze okusobola okwetegekera empaka endala ezigenda okubeera e Rwanda okuva nga 18 omwezi guno.
Ono agambye nti ayagala kuwangula ngule esingako nga y’ensonga lwaki tayagadde kukooya mmotoka ye
Kikankane abadde ali mu kyakuna mu mpaka zino ezikulembeddwaamu Ronald Ssebuguzi
Minisitule ekola ku byobulamu mu ggwanga eyisizza okulabula abantu ku kirwadde kya Ebola ekyakatta omusawo munnayuganda.
Dr. Samuel Muhumuza yafudde obulwadde buno obwamukutte ng’akola ku balwadde mu ggwanga lya Liberia
Obulwadde buno bwakatta abantu 400 ate abasoba mu 700 babulina nga bali mu mawanga ga West Africa
Minisita w’ebyobulamu Dr. Rukahana Rugunda agamba nti yadde obulwadde buno tebunnatuuka…
Nga wakayita olunaku lumu lwokka ng’abamasimu bategeezezza nga bwebagenda okwongeza ebisale bya mobayilo mane, bbo ab’amafuta tebalinze era bagongezza
Emu ku kkampuni ggaggadde eya amafuta eya VIVO energy oba giyite shell eyongezza shs 50 ku mafuta nga kati ga shs 3750 ku masundiro gaayo
Akulira kkampuni ya Vivo, Hans Paulsen agambye nti kino bakikoze kubanga…
Agambibwa okukuba omusirikale wa KCCA asindikiddwa Luzira.
Anderson Kalibbala asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende omusango n’agwegaana.
Kigambibwa nti nga 15 omwezi oguwedde, omukulu ono yakkakkana ku Sam Mugabi n’amukuba n’ayuza n’essaati ye ng’amulanga kumuwambako buddole bw’abaana bweyali atembeeya.
Omusango yaguddiza ku mukwano arcade mu kibuga kampala.
Kalibbala wakudda mu kooti nga 25 omwezi guno
Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bongedde okutabuka ku basirikale abakyusiddwa okuva ku palamenti olw’okubeera embuto
Bano bagamba nti ensonga eno bakujanja mu palamenti ebeere ng’enonyerezebwaako
Abakyala bano abakulembeddwaamu omubaka Betty Amongi bagamba nti ekyakoleddwa kimenya mateeka kubanga kirinyirira eddembe ly’abakyala.
Amongi bagamba nti kyebeetaga kwekulaba ng’abakyala bano bazze ku mirimu
Wabula yadde ng’abakyala bagamba bati, poliisi egamba nti abakyala…
Enteekateka z’okusabira omwoyo gw’omusawo eyafiridde mu ggwanga lya Liberia ekirwadde kya Ebola zitandise nga era wakusabirwa olunaku olwenkya.
Dr. Samuel Muhumuza, nga ava Kasese abadde akolera kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna mu ggwanga lya Liberia okumala emyaka 3 era’ yafudde lunaku lwakubiri mu ddwaliro lya John Kennedy medical centre gyeyaddusiddwa nga ali bubi.
Ettendekero ly’e Kyambogo lifunye ekiwandiiko okuva mu kkooti ekiyimiriza okutunda ettaka ly’ettendekero lino.
Kino kiddiridde ekiwandiiko ekyafulumizibwa omulamuzi Irene Akakwasa oluvanyuma lw’abaali abakozi b’ettendekero ly’abasomesa erye Kyambogo nga bakulembeddwamu ategerekese nga Nambirige n’abalala 53 okukwanga kkooti ekiwandiiko nga baagala kuliyirirwa obuwumbi 3.5.
Kino kyawaliriza Kkooti okulagira ettendekero lino litunde erimu ku ttaka lyalyo lisasule abakozi bano.
Abakozi bano…
Kyaddaaki ekikwekweto ky’ebyokwerinda ekikoleddwa amagye n’apoliisi okwetolola ekibuga Kampala kikomekerezeddwa.
Ebyasoose byalaze nga bwekikoleddwa olw’abatujju abaatisizza okulumba ekibuga ,ate okuvaako mu nsonda z’amagye netukitegera nti kuno kubadde kukebera kwabulijjo okwongera okunyweza eby’okwerinda mu kibuga.
Amagye ne poliisi erwanyisa obutujju bakedde kufuuza kumpi mu buli kizimbe nga abasinga bwebatunula okulaba ekigenda maaso.
Nga basimbye enyiriri basokedde ku Namirembe Road…