Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Atomedde abantu ayise ku lugwaayu

Abatuuze be Masajja mu gombolola ye Makindye  baliko omusajja gwebakubye emiggo egyibuzeeko akatono okutta,oluvanyuma lw’okutomera abantu 3. Omusajja ono atanategerekeka mannya abadde avuga emotoka y’ekika kya Mark 2, kigambibwa nti abantu bano abatomeredde ku luguudo lye Salaama, n’agezaako okudduka kyokka ng’aba aba boda boda nebamusimbako. Omu kubabaddewo Lawrence Nakabaale agambye nti omusajja ono atomedde ne taxi bbiri…

Read More

Abantu akakadde kalamba banywa sigala

Kikakasiddwa nga bana Uganda 1.3 bwebafuweeta oba okukozesa taaba. Alippota empya eraga nti bana Uganda 8 ku 10 bakozesa ebintu ebiva mu taaba. Okunonyereza kuno okwakolebwa mu mwezi gwa November era nti abasajja 11%  banywa taaba ate abakyala 4.6% nabo bakozeza taaba. Akulira okunonyereza mu kitongole kya Uganda Bureau of statistic eyafulumiza okunonyereza kuno Steven Baryahirwa agambye nti…

Read More

Abakwatiddwa ku Forest mall tebabadde batujju

Poliisi egamba nti abantu ababiri abakwatiddwa okuva ku Forest Mall tebaabadde batujju. Kigambibwa nti abakwatiddwa abadde mukyala ne mutabani we nga bagenze kukolebwaako. Meheleti  Beheran  65 ne mutabani we poliisi egamba nti nzaalwa ze Eritrea. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga atugambye nti nga bamaze okwekeneenya ababiri bano bakizudde nti tebalina bulabe bwonna bwebabadde bateekateeka kukola ku Uganda. Enanga agamba…

Read More

Adam Kalungi ayimbuddwa- Talina musango

Eyali muganzi w’omubaka omugenzi Cerina Nebanda ayimbuddwa. Kkooti enkulu mu kampala ng’ekubirizibwa Lameck Mukasa ejjeeko Kalungi emisango egyaali gimusingisiddwa era n’ayimbulwa Omulamuzi agambye nti Kalungi ssi musawo nti yeeyalina okujjanjaba Nebanda ate ng’era yakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe naye nebigaana Mukasa agamba nti akalwaliro awasooka okutwalibwa Nebanda keekakola ensobi okuwa Nebanda eddagala ekyaamu Kalungi yasooka kusingisibwa omusango gw’okutta…

Read More

Ebyokwerinda Binywezeddwa ku Kisaawe Kyenyonyi Entebbe

    Eby’okwerinda Byongedde okuywezebwa ku kisaawe ky’enyonyi Entebbe oluvanyuma lw’abatujju okutiisatiisa okulumba eggwanga olunaku olw’eggulo. Buli ayingira n’afuluma ekisaawe kati ayazibwa buli kantu nga n’ebifo ewayazibwa abantu kumpi n’ekisaawe kino byongeddwako. Ye  omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba nti abantu tebasanye kutya kubanga ekisaawe poliisi ekikuuma butiribiri nga bwebagenda maaso n’ebikwekweto by’okwerinda okwewala obulumbaganyi bwonna. Amawulire g’abatujju…

Read More

Uganda Cranes Kati Yakuzanya Mauritania-Equatorial Guinea Egobeddwa

Eggwanga lya Equatorial Guinea ligobeddwa mu kusunsulamu abanetaba mu mpaka za Africa  eza 2015 lwakuzanyisa muzanyi atali munansi. Bano baawandulamu eggwanga lya  Mauritania ku mugatte gwa ggoolo 3-1 mu luzanya olwayita wabula nebabawawabira lwakuzanyisa Thierry Fidjeu Tazemeta enzalwa ya Cameroon. Kati kino kitegeeza Uganda yakuzanya Mauritania ku luzanya oluddako nga 19 July wano mu Kampala  mu mupiira…

Read More

Uganda erumbibwa akadde konna- America

Poliisi ekalize eby’okwerinda ku kisaawe Entebbe oluvanyuma lwa America okulabula Uganda nti egenda kulumbibwa mu kiro kya leero Ekiwandiiko ekivudde mu America kiraze nti abatujju bano obulumbaganyi bagenda kubukola ku kisaawe Entebbe America era yalabudde abantu baabwe okwewala ekisaawe kino ng’egamba nti abatujju bategese kulumba wakati w’essaawa 3 ne 5 mu kiro Kino era kyekyaviiriddeko ne poliisi ng’eri…

Read More