Waliwo olugero olugamba nti kyenkola bannange sagaala bakinkole ng’omubbi bamubbye
Kati nno n’omu poliisi abadde avuga endiima ng’ate bw’ayogerera ku ssimu kimutuuseeko omugoba wa kiroole bw’amuyimirizza
Dereeva wa kiroole ono alumirizza omupoliisi ng’obwedda bw’amulondoola era nga kibadde kizibu okwegaana
Ofiisa gyebigweredde ng’akkirizza omusango bw’awaabiddwa mu bekikwatako
Kati abantu abamu ensonyi baazinaba ku maaso.
Mu ggwanga lya Bungereza waliwo omusajja akoze ekitasuubirwa bw'ayingidde banka ya Barclays neyeyambira okumpi n’abantu webasimba okufuna ssente buli omu ng'atunula.
Omusajja ono alabise nga mukkakamu ekyetaago kye alabika abadde akooye okukimalira mu kabuyonjo kko ye kalumbe banka.
Omusajja ono azze ayambadde bulungi wabula yewunyisizza ababadde mu banka eno bwagyemu empale…
Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi agaddewo omwoleso gw'ebyobulambuzi mu lubiri e Mengo, n'obubaka eri Obuganda okukolagana ne gavumenti yawakati okukulakulanya eby'obulambuzi mu Uganda.
Bw’abadde ayogerako eri obuganda, ssabasajja Kabaka asiimye abaana bamasomero olw'okujjumbira omwoleso,n’agamba nti kigenda kuyamba emiti emito okumanya by'obuwangawa kko n'ennono .
Ng’ayogerera ku mukolo gwegumu , Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agambye nti…
Omukulembeze we gwanga Yoweri Kaguta Museveni atageezeza nga Uganda kko ne n'amawanga ga Africa gonna okutwalira awamu bwegateetaga buyambi bwabazungu okusobola okukulakulana
Pulezidenti okwogera bino abadde mu lukungaana olwetabiddwaamu enzikiriza ez'enjawulo e Munyonyo, nga n'abalwetabyeemu bavudde mu nsi yonna
Kakati ono agamba nti Africa erina eby’obugagga bingi ebigimala,kale nga ekyetaagisa ye mwana w’omuddugavu okunyikiira okukola enyo okusobola…
Ababadde bakukusa bannayuganda okubatwaala ebweru okukuba ekyeeyo ate nebabazza mu birala poliisi ebawenja
Bano bategerekese nga Yunusu SSemakula n’omulala ategerekeseeko erya Katongole nga baliko omuwala gwebatwaala mu United Arab Emirates nebamusuula eyo era n’atulugunyizibwa bya nsusso
Omuwala ono yasobola okudduka gyebaali bamutulugunyiza era bweyatuuse kwekuwaaba
Omuwala ono attotola byeyayitamu ebitaali byangu.
Bino bibadde biri biti ate nezireeta amawulire g’abawala…
Bannayuganda babiri bawanikiddwa ku kalabba mu ggwanga lya China.
Kiddiridde ababiri bano okusingisibwa omusango gw'okukusa enjaga.
Omar Ddamulira ne Ham Andrew Ngobi.
Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Fred Opolot agamba nti bannayuganda basaanye okwewala ebikolwa nga bino okwewala okugwa mu butego nga buno.
Aba China kyebatayiiye nga tekiriiyo
Bano kati wetwogerera nga bayiiyizza empale enkole mu watermelon
Watermelon eno bagikalakatamu ebimyuufu nga bagisazeemu omulundi gumu n’evaamu ekibakuli
Ekibakuli kino kwebassa amagulu era nga bagamba nti kino kyakuyamba nnyo abaana mu biseera by’omusana kubanga ekikuta ky’ennannansi tekiyitamu musana
Abazade abakakozesa ku mpale zino bagamba nti abaana baabwe bayagadde empale zino
Katikiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga asinzidde ku masiro gaba ssekabaka e Kasubi n’akubiriza Kampuni ekola omulimo gw’okuzimba amasiro gano okugwanguya ku mirimu gisobole okugweera mu budde.
Kino kiddiridde Nalinya w’amasiro gano Namikka okuvaayo neyemulugunya ku ngeri y’akasoobo emirimu gyegibadde gitambulamu.
Katikiro ategezezza nga obuganda bwebulina ebintu ebirala eby’okukolako gamba ng'okuddabiriza amasiro ge Nabweru n’ebirala.
Kinajjukirwa nti Kampuni…
Embwa kyekimu ku bisolo ebigezi ennyo era ebifaayo ennyo
Ku mukutu gwa Youtube, ekifananyi ky’embwa eyigiriza omwana okwavuula bangi kibalese bakuamukiridde
Embwa eno obwedda yekuluula nga n’omwana bw’agoberera
Mu lutambi, omwana asooka n’atunula nga tabitegeera era nga yetegereza embwa kyokka oluvanyuma lw’akabanga omwana ono atandika okwegomba embwa era naye neyekulula
Nnanyini mbwa eno agamba nti musanyufu n’embwa ye era…
Olutambi lw’omusajja abadde ayambala empale nga tagikutteeko lufuuse ekyelolerwa
Omusajja ono enzaalwa ye China yefunya mpola okuyingiza empale mu magulu era ng’agituusa bulungi mu kiwato nga tagikutteeko
Omusajja ono takomye awo n’asiba n’omusipi