Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Author page: Ali Mivule amivule

Robben aluyiseeko

Ayen Robben aluyiseeko oluvanyuma lw'ekibiina kya FIFA okutegeeza nti ssiwakubonerezebwa ku by'okwesuula nga teri amukonyeeko Ono yagwa wansi ekyavaako okubawa peneti okukkakkana nga Netherlands ewangudde ne goolo 2 nga Mexico erina emu. Robben ow’emyaka 30 agamba nti teyabbye kyokka nga yetonda olw’okwesuula Omutendesi wa Mexico Miguel Herrera yeeyasooka okusonga mu Robben ng’am,ulumiriza okwesuula emirundi esatu kyokka nga tebamukonyeeko.  

Read More

Enkwanso z’abasajja tezirina njawulo

Abakyala tebasaanye kweralikirira kuzaala mu basajja bakuliridde  kubanga enkwanso zaabwe tezawukana ku bato Mu ggwanga lya Bungereza, abasajja abakuliridde beebasinga okugaba enkwaso eri abakyala abazaala mu ngeri y’ekubakubamu enkwaso kubanga nga bangi babadde bagaana enkwaso zino nga bagamba nti za basajja bakadde Abakugu ababadde bakola okunonyereza okuzuula oba kino kituufu bagamba nti tewali njawulo era ng’abaana abazaalibwa…

Read More

Omuti ogwatta omuntu gubatutte mu kkooti

Abakulembeze mu disitulikiti ye Wakiso bakubiddwa mu mbuga za mateeka Obuzibu bwonna buvudde ku muti ogwakuba omusajja eyali atambula agage n’afiirawo. Abe Wakiso babawaabye n’ab’ekitongole ekikola ku by’emiti Abawaabye beebamaka g’omugenzi Emmanuel Matovu abagaala obukadde 225 ng’ensimbi zebaakozesa okujjanjaba omuntu waabwe n’okumuziika kko n’obulumi bwebayitamu. Omuti kazaala bulwa gwali kitubulu era ng’omugenzi gwamugwiira nga 12 omwezi ogw’okusatu omwaka oguwedde Aba…

Read More

Bamusobezzaako kirindi n’afa

Poliisi eri ku muyiggo gw’abasajja kkumi abakkidde omukyala nebamusobyaako ekirindi okutuuka lw’afudde. Abasajja bano omukyala ono baamuwambye ne mukulu we ategerekese nga Jessica Ganyana nebabatwaala mu ssabo olwo nebabakolako ebivve. Bino bibadde ku lusozi lwe Kabulengwa e Nansana mu disitulikiti ye Wakiso. Abawala bano ng’omugenzi abadde muyimbi baabadde bagenze kutendeka mu kuyimba Ganyana agamba nti yye bamukubye mbooko era…

Read More

Abe Makerere bazzeemu- babanja nsako

Abakozi mu ttendekero lye Makerere bazzeemu okutabuka ku nsako yaabwe Abatwaala ettendekero lino babawadde ennaku ssatu nga babasasudde omwezi gw’okutaano n’omukaaga Bano bamaze okukuutira ab’ettendekero omukuku gw’ebbaluwa nga bagamba nti tebatawaana okuggulawo olusoma olujja nga tebannaba kubasasula nsimbi zebabanja eziweza obuwumbi 4. Omwaka oguwedde ab’ettendekero bayisa nti abakozi bonna basasulwe ensako yaabwe era nga kino kyaddirira akeediimo akamala…

Read More

Eby’okwerinda ku mizikiti

Poliisi yakwongera obukuumi ku mizikiti okulaba nti tegirumbibwa mu biseera by’ekisiibo Akulira ebikwekweto amaze okulagirwa okulaba nti buli muzikiti gukebera abantu era nga n’ebifo byebakungaaniramu okusiibulukuka okukuumibwa. Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti ne poliisi ekola ku nsonga z’obutujju eyiiriddwa ku mizikiti gyonna okwewala obutujju bw’ekika kyonna Kyo ekisiibo kiyingidde olunaku lw’okubiri ng’ennaku zino ekkumi ezisooka zakwegayirira. Disitulikiti…

Read More

Abalumbye Kyegegwa bandiba aba ADF

Poliisi mu disitulikiti ye  kyegegwa ekwataganye n’amaggye okwongera okunonyereza ku bigambibwa nti abantu abaakoze obulumbaganyi mu kitundu kino bandiba nga balina akakwate ku bayeekera ba ADF. Wiiki ewedde ekibinja ky’abavubuka nga bambalidde agajambiya n’emmundu baalumbye e kkanisa y’abalokole eya Mungumwema nebatta abantu 2 okwabadde n’omusirikale wa poliisi. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba nti okunonyereza…

Read More

Ekisiibo ky’abasiraamu kitandika ku Ssande

  Kimaze okukakasibwa nti ekisiibo ky'abasiraamu kitandika ku lunaku lwa ssande. Kiddiridde omwezi obutalabikako nga bwekibadde kisuubirwa nga kati teri kubuusabuusa kitandika ku lwa Ssande kubanga lwelunaku olusembayo mu mwezi gwa Shabaan. Akakiiko ka Saudi Arabia akalondoola omwezi keekalangiridde nti ekisiibo kyakutandika ku ssande. Abasiraamu basiiba omwezi gwa Ramathan gwonna okulaga obwetowaze eri Allah

Read More

Owa Bodaboda Yeyambulidde Abawambye Pikipiki ye

  Omuvuzi wa Bodaboda wano mu Kampala ku shoprite  yeyambuddemu engoye nga yekalakaasa oluvanyuma lwa banne okuwamba pikipiki ye lwakutikira basaabaze ku siteegi yaabwe. Omusajja ono atategerekese manya  talinze kumutwala ku poliisi olwo neyeyambula olugoye lumu kulumu olwo nakunumba bukunya. Olw’okutya okwesitazza abantu, banne bamuddizza pikipiki ye olwo embeera nedda mu nteeko oluvanyma lw’abantu okukwtirira ku kkubo okwelorela…

Read More

Omukazi Ayombedde Mu Bbaala neyesuula Mu Kidiba

  Mu disitulikiti ye  Rakai Omukazi o’wemyaka 50 yesudde mu kidiba oluvanyuma lw’oluyombo lweyafunye ne banywi banne  mu bbaala . Venerandah Nzaliraki nga mutuuze we Kyampisi asangiddwa nga omulambo gwe guseyeyeza ku mazzi amakya galeero. Beyabadde nabo bagamba nti munnaabwe ono yavudde mu bbaala eno nga tasalikako musale nga baabadde basubira nti yabadde agenze waka wabula kibabuuseko okumusanga…

Read More