Abantu 3 bebakafa oluvanyuma lw’akabenje akagudde ku luguudo lwa Lugogo By-pass.
Akabenje kano kavudde ku mmotoka ekika kya RAV 4 UAH 762w ebadde eva e Jinja okusabala ababadde ku gaabwe.
Adumira poliisi ya kiira road Denis wanyama ategezezza nga bbo 7 bwebabuuse n’ebisago ebyamanyi nga kubano kubaddeko abakuumi ba kampuni y’obwananyini enkuumi eya Tight Security.
Wanyama agamba akabenje…
Oluvanyuma lw agavumenti okutegeeza nga bw’egenda okukyuusa mu luyimba lw’eggwanga, ab’amaka g’eyayiiya oluyimba luno bagenda mu kkooti George William kakoma yeeyayiiya oluyimba luno kyokka nga weyafiira ng’akyabanja Kati namwandu we Tereza Kakoma agamba nti beebalina obuyinza ku luyimba luno era nga tebannaba kubebuuzaako nga bagenda okukyuusa mu luyimba luno Mukyala Kakoma agamba nti agenda mu…
Poliisi yeebulungudde Banka ya DFCU ku kitebe kyaayo ekikulu ku luguudo lwa Jjinja road.
Emirimu gisanyaladde nga tekinnaba kutegerekeka kiki ekireese poliisi.
Obuzibu buvudde ku kasitoma omu ategerekese nga Geoffrey Amasha eyawaaba banka eno ng'agamba nti yeewola ssente obukadde 82 era n'azisasula.
Wabula banka eno yagenda mu maaso n'okutwaala enyumba ye esangibwa mu Adjumani.
Omusajja ono yaddukira mu kkooti…
Gavumenti n’ebibiina by’obwanakyewa bisanye okukolaganira awamu okusobola okuletawo enkulakulana mu ggwanga..
Minisita omubeezi alondoola ebynfuna by’eggwanga Henry Banyenzaki agamba nti ebibiina bino bikola omulimu munene nyo okulondoola enteekateka za gavumenti ekireesewo embalirira enungi eri gavumenti ku pulogulamu zaayo.
Bino Banyenzaki abyogeredde ku mwoleso gw’ebibiina by’obwanakyewa oguguwawo olunaku olwaleero ku Hotel Africana.
Omwoleso guno gutambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti…
Akediimo k’abakozi ba kampuni y’eggaali y’omukka abasoba mu 700 kakyagenda maaso nga bemulugunya olwabanaabwe 3 abagobeddwa mungeri etamatiza.
Abakozi bano bagamba kaluma nywera yenna ava ku ndagaano ezabawebwa kampuni eno eya Rift valley railways oluvanyuma lw’okugula ekitongole ky’eggali y’omukka ekya Uganda railways corporation.
Nga bayita mu kibiina kyabwe ekibataba abakozi bano balumiriza abakulira kampuni eno obutateka mu…
Bannasayansi bayiiyiza ka robot akasoma amawulire nga kano kassaamu n’ebinonoggo
Ka robot kano katandikidde mu ggwanga lya Japan era nga kasomyeeko amawulire agakwata ku Musisi eyise mu kitundu kino.
Abakoze ka dole kano bagamba nti bagaala bafune kati n’akasoma amawulire ga TV
Ka dole kano kasinze kunyiiza bannamawulire abagasoma nga boolekedde okufiirwa emirimu
Tewali mulimu mwangu mu nsi eno.
Mu ggwanga lya Bungereza, Embwa ya poliisi enkozi y’olusu ebadde egoba ekisolo egobye okutuuka lw’ebuze
Embwa eno emaze ennaku nga telabikako era ng’omuyiggo ogwassiddwaawo poliisi n’abatuuze ku byaalo ebitali bimu kyekiyambye okuzuula embwa eno.
Embwa eno ensangiddwa nga teriiko buzibu bwonna kyokka ng’olw’obukoowu, omukka ng’ebaka mubake
Gavumenti ya Ghana ewerezza obukadde bwa doola busatu eri tiimu yaayo e Brazil mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna.
Amyuka minisita akola ku by'emizannyo Joseph Yamin ategeezezza ng’abazannyi bwebabasabye okubawereeza ensimbi enkalu nga y'ensonga lwaki bawerezza ssente zino ku nyonyi
Tiimu ya Ghana ezannya nkya nga yeetaga buwanguzi okuyitawo .
Kyokka era kino, kisinziira ku mipiira gya America ne…
Endabika y’essimu eraga omutindo gw’obuyonjo bwe
Bannasayansi okuva mu Amerika bagamba nti ebitundu 80 ku kikumi eby’obuwuka obukwata abantu buva ku ngalo ate zetukozesa okukwata amasimu.
Kigambibwa okuba ng’omuntu omu akwata ku ssimu ye emirundi 150 olunaku kale ng’omuntu ssinga afuba okukuuma obuyonjo n’obutamala gassa ssimu buli wantu kiyamba okukendeeza ku buwuka
Okutuuka ku bino abanonyereza kano batunuulidde…
Omwoleso gwa Buganda ogw'eby'obulambuzi gugguddwaawo mu butongole.
Abasuubuzi abenjawulo abantu ebintu omuli ebyokulya, ebyobuwangwa,ebisolo eby’omusiko byebigenda okwolesebwa okutuuka ng’enaku z’omwezi 1 omwezi ogujja.
Omwoleso guno gutandise n’okukumba okuva ku masiro e Kasubi okukulembeddwamu minister wa Buganda ow’ebyobulambuzi Ritah Namyalo.
Bo abolesa mu mwoleso guno balina essubi nti omwoleso gwakubayamba okumanyisa eggwanga eby’amaguzi byabwe.
Ssabasajja Kabaka yasiimye dda okulabikako eri…