Omusango ogwaali gwawaabwa abali b’ebisiyaga gugobeddwa mu kkooti nebalagirwa n’okusasula.
Aboogerwaako baali batudde mu Lukungaana ku resort beach Entebbe nelurinyibwaamu eggere poliisi ng’ekolera ku biragiro bya minisita akola ku mpisa n’obuntu bulamu Rev Father Simon Lokodo.
Omulamuzi Steven Musota agambye nti abawaaba tebasobola kwogera ku ddembe lyonna ng’ebikolwa byaabwe bimenya mateeka
Omulamuzi era agambye nti ssemateeka ayogera ku…
Waliwo omujaasi akwatiddwa ku bigambibwa nti yatta omuntu.
David Mulika bamulumiriza okukuba amasasi agatta omwana ow’emyaka 15 eyategerekeka ko erya Priscilla mu bitundu bye Nabbingo.
Omujaasi ono okutta omwana yali alwanyisa abazigu abaali balumbye maama w’omwana ono Agnes Nanungi
Abazigu bano baali basimye ekituli mu nju kyokka ng’omwana ono mu kudduka yakozesa kituli lino era essasi gyeryamuliira
Omwogezi wa…
Kkooti y’amaggye erina ssentebe omupya
Pulezidenti Museveni alonze Maj. Gen. Levi Karuhanga okukulira kkooti eno.
Maj. Gen. Karuhanga, nga yeeyali akulira amaggye ga Uganda e Somalia azze mu kifo kya Brig Moses Ddiba Ssentongo ng’ono ekisanja kye kyaggwaako omwezi oguwedde.
Amawulire g’okulonda ssnetebe wa kooti y’amaggye omuggya gakakasiddwa Maj. Henry Obbo ng’ono ye y’amyuka omwogezi w’amaggye.
Bannayuganda abakkakalabiza egyaabwe mu ggwanga lya South Sudan bagaala amaggye ga Uganda gongerwe mu kitundu kino.
Bano bagamba nti kino kyakulongoosa eby’entambula basobole okukola nga tebatya
Bino biggyidde mu kaseera ng’amaggye ga Uganda gakalabula ku bakwatammundu abongedde okuteega ku nguudo okunyagulula abantu
Ssentebe wa bagoba ba biroole mu ggwanga Bylon Kinene agamba nti kino kyekyokka ekijja okubayamba okufuna…
Disitulikiti ye Kasese ali mu bulabe bw’okufuna ekirwadde kya Kkolera
Kino kivudde ku mazzi aganjudde bukyanga mugga kwa Nyamwamba gubooga nga kati abaayo tebakyalina mazzi mayonjo.
Omubaka omukyala owe Kasese Winnie Kiiza sagamba nti ekibuga kye Kasese kimaze ssabbiiti kati kumpi bbiri nga tekirina mazzi mayonjo kubanga payipo zayabika.
Kiiza agamba nti era babasuubiza okukola ku mutindo lw’omugga…
Abasuubuzi mu katale ka Paakayaadi kyaddaaki bakkirizza okwewandiisi.
Abakulu bano baali bagaana nga bagamba nti tebamanyi lwaki beewandiisa
Wabula bano yadde embeera tekyuuse kuluno bakkirizza okwewandiisa
RCC wa kampala Aisha Kabanda y’akulembeddemu omulimu gw’okubasendasenda beewandiise nga y’aleese n’abawandiisa
Omuwandiisi w’akatale kano, john Bosco Serwadda Kabanda atutegeezezza nti bakooye okusika omuguwa nga y’ensonga lwaki beewandiisizza.
Wabula yye RCC Kabanda agamba nti…
Omukyaala enzaalwa ye Sudan eyali yasalirirwa akalabbaolw’okuva mu busiraamu kyaddaaki ayimbuddwa
Ekibonerezo kino kijjiddwaawo kkooti ejulirwaamu
Omukyala ono yadde yali musiraamu yafumbirwa omusajja omukulisitaayo era n’agaana okumuvaako nga kino okusinziira ku mateeka ga Sharia, ekibonerezo kalabba.
Ekibonerezo ekyaweebwa omukyala ono kyavumirirwa nnyo okwetoloola ensi yonna
Mu ggwanga lya America kkampuni ya zzaala bigisobodde n’egoba abakozi bonna
Abamu bagaanye era ky’ekoze kwekubasasula bagende
Bano baweebwa emitwaalo gya doola ebiri n’ekitundu okubivaamu.
Aba kkampuni eno bagamba nti bagaala kugoba bakozi bonna kubanga tebamanyi byebagala nga y’ensonga lwaki bonna babagobye baleete abapya.
Mu ggwanga lya Bungereza abalwanyisa obulwadde bwa sukaali bagaala wabeewo emisolo emikakali ku sukaali
Ab’ekibiina ekya Action on Sugar baliko ensonga musanvu zebalambuludde nga bagamba nti zeezivuddeko obulwadde buno obweyongera naddala ku baano
Muno mwemuli eby’okunywa kko n’emmere ebijjudde sukaali nga buli omu byetettanira
Bagaala era wabeewo n’okukoma ku birango ebitumbula emmere ejjudde ewomeerera nga bagamba nti bino…
Eyali amyuka omukulembeze w'eggwanga Prof Gilbert Bukenya wakwesimbawo mu mwaka 2016.
Kiddiriddeekibinka ky'abavubuka mu NRM okuzinda amaka ge enkya ya leero nga bagaala alangirire oba aneesimbawo oba nedda bategeere nga bukyaali
Bukenya agambye nti mwetegefu okwesimbawo ku lulwe ekibiina nebwekinaaba tekimuwadde bendera.
Ono azzeemu okuwera nga bw'atajja kulabikako mu kakiiko akakwasisa amateeka ku by'okuwagira omubaka Brenda Nabukenya e…